-
1 N'abagamba nti Mazima mbagamba nti Ku bano abayimiridde wano waliwo abamu abatalirega ku kufa n'akatono; okutuusa lwe baliraba obwakabaka bwa Katonda nga bujja n'amaanyi.
2 Awo ennaku omukaaga bwe zaayitawo Yesu n'atwala Peetero ne Yakobo ne Yokaana, n'agenda nabo ku lusozi oluwanvu bokka mu kyama: n'afuusibwa mu maaso gaabwe.
3 Engoye ze ne zaakaayakana ne zitukula nnyo; so nga tewali mwozi ku nsi ayinza okuzitukuza bw'atyo.
4 Awo Eriya ne Musa ne babalabikira; era baali boogera ne Yesu.
5 Peetero n'addamu, n'agamba Yesu nti Labbi, kye kirungi ffe okubeera wano; kale tusiisire ensiisira ssatu; emu yiyo, n'emu ya Musa, n'emu ya Eriya.
6 Kubanga yali tamanyi ky'anaddamu; kubanga baali batidde nnyo.
7 Awo ekire ne kijja ne kibasiikiriza; eddoboozi ne lifuluma mu kire nti Ono ye Mwana wange omwagalwa: mumuwulire.
8 Bwe baakebuka amangu ago, ne batalaba muntu nate wabula Yesu yekka nabo.
9 Awo bwe baali bakka ku lusozi, n'abakuutira baleme okubuulirako omuntu bye balabye, okutuusa Omwana w'omuntu lw'alizuukira mu bafu.
10 Ne bakyekuuma ekigambo ekyo nga beebuuzaganya bokka nti Okuzuukira mu bafu kuliba kutya?
11 Ne bamubuuza nga bagamba nti Abawandiisi boogera nti kigwana Eriya okusooka okujja.
12 N'abagamba nti Eriya y'asooka okujja, n'alongoosa byonna: era kyawandiikirwa kitya Omwana w'omuntu okubonyaabonyezebwa ebingi n'okunyoomebwa?
13 Naye mbagamba nti Eriya yamala okujja, era baamukola buli kye baayagala, nga bwe kyamuwandiikirwa.
14 Awo bwe baatuuka eri abayigirizwa be, ne balaba ekibiina kinene nga kibeetoolodde, n'abawandiisi nga babasokaasoka.
15 Amangu ago ekibiina kyonna bwe kyamulaba, ne beewuunya nnyo, ne baddukana gy'ali ne bamulamusa.
16 N'ababuuza nti Mubasokaasoka lwaki?
17 Omu mu kibiina n'amuddamu nti Omuyigiriza, nkuleetedde omwana wange, aliko dayimooni atayogera;
18 buli gy'amutwala, amukuba ebigwo; abimba ejjovu, aluma amannyo, akonvuba: ŋŋambye abayigirizwa bo bamugobe; ne batayinza.
19 N'abaddamu, n'agamba nti Mmwe ab'emirembe egitakkiriza, ndituusa wa okubeera nammwe? ndituusa wa okubagumiikiriza? mumundeetere.
20 Ne bamuleeta gy'ali: awo bwe yamulaba, amangu ago dayimooni n'amutaagulataagula nnyo; n'agwa wansi, ne yeekulungula, ng'abimba ejjovu.
21 N'abuuza kitaawe nti Obulwadde buno kasookedde bumukwata bbanga ki? N'agamba nti Bwa mu buto.
22 Emirundi mingi ng'amusuula mu muliro ne mu mazzi okumutta: naye oba ng'oyinza, tusaasire, otubeere.
23 Yesu n'amugamba nti Oba ng'oyinza! byonna biyinzika eri akkiriza.
24 Amangu ago kitaawe w'omwana n'ayogerera waggulu, n'agamba nti Nzikirizza: saasira obutakkiriza bwange.
25 Awo Yesu bwe yalaba ng'ekibiina kikuŋŋaana mbiro, n'aboggolera dayimooni, n'amugamba nti Ggwe dayimooni atayogera, era omuggavu w'amatu, nze nkulagira, muveeko, tomuddiranga nate n'akatono.
26 Awo n'akaaba, n'amutaagula nnyo, n'amuvaako; n'afaanana ng'afudde; n'okugamba abalala bangi ne bagamba nti Afudde.
27 Naye Yesu n'amukwata ku mukono, n'amuyimusa; n'ayimirira.
28 Awo bwe yayingira mu nnyumba, abayigirizwa be ne bamubuuza mu kyama nti Ffe tetwayinzizza kumugoba.
29 N'abagamba nti Engeri eno teyinzika kuvaako lwa kigambo wabula olw'okusaba.
30 Ne bavaayo, ne bayita mu Ggaliraaya, n'atayagala muntu yenna kutegeera.
31 Kubanga yayigiriza abayigirizwa be n'abagamba nti Omwana w'omuntu aweebwayo mu mikono gy'abantu, balimutta; kale bw'alimala okuttibwa, era waliyita ennaku ssatu n'azuukira.
32 Naye tebaategeera kigambo ekyo, ne batya okumubuuza.
33 Ne batuuka e Kaperunawumu: awo bwe yali ng'ali mu nnyumba n'ababuuza nti Mubadde muwakana ki mu kkubo?
34 Naye ne basirika: kubanga baali bawakana bokka na bokka mu kkubo nti ani omukulu.
35 N'atuula, n'ayita ekkumi n'ababiri, n'abagamba nti Omuntu bw'ayagala okuba ow'olubereberye, anaabanga ku nkomerero ya bonna, era muweereza wa bonna.
36 N'addira omwana omuto, n'amuyimiriza wakati mu bo: awo n'amuwambaatira n'abagamba nti
37 Buli anakkirizanga omu ku baana abato abaliŋŋanga ono, mu linnya lyange, ng'akkirizza nze: na buli muntu yenna anzikiriza nze, takkiriza nze, wabula oli eyantuma.
38 Awo Yokaana n'amugamba nti Omuyigiriza, twalaba omuntu ng'agoba dayimooni mu linnya lyo; ne tumugaana, kubanga teyayita naffe.
39 Naye Yesu n'agamba nti Temumugaananga: kubanga tewali muntu anaakolanga eky'amagero mu linnya lyange ate amangu ago n'anvuma.
40 Kubanga atali mulabe waffe ng'ali ku lwaffe.
41 Kubanga buli muntu anaabanywesanga mmwe ekikompe ky'amazzi kubanga muli ba Kristo, mazima mbagamba nti talibulwa mpeera ye n'akatono.
42 Na buli muntu aneesittazanga omu ku abo abato abanzikiriza, waakiri oyo okusibibwa olubengo olunene mu bulago bwe asuulibwe mu nnyanja.
43 Omukono gwo bwe gukwesittazanga, ogutemangako; waakiri ggwe okuyingira mu bulamu, ng'obuliddwako ekitundu, okusinga okugenda mu Ggeyeena ng'olina emikono gyombi, mu muliro ogutazikira;
44 envunyu yaabwe gye tefiira so n'omuliro teguzikira.
45 N'okugulu kwo bwe kukwesittazanga, okutemangako: waakiri ggwe okuyingira mu bulamu ng'obuliddwako okugulu, okusinga okusuulibwa mu Ggeyeena, ng'olina amagulu gombi;
46 envunyu yaabwe gye tefiira so n'omuliro teguzikira.
47 N'eriiso lyo bwe likwesittazanga, oliggyangamu; waakiri ggwe okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda ng'oli wa ttulu, okusinga okusuulibwa mu Ggeyeena, ng'olina amaaso gombi;
48 envunyu yaabwe gye tefiira, so n'omuliro teguzikira.
49 Kubanga buli muntu alirungibwamu omuliro.
50 Omunnyo mulungi: naye omunnyo bwe guggwaamu ensa mulizzaamu ki? Mmwe mubeere n'omunnyo munda wammwe, mutabagane mwekka na mwekka.