Nekkemiya

Essuula: 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13


Chapter 13

1 Ku lunaku olwo ne basoma mu kitabo kya Musa mu matu g'abantu; ne basanga nga kyawandiikibwa omwo Omwamoni n'Omumowaabu obutayingiranga mu kkuŋŋaaniro lya Katonda emirembe gyonna;
2 kubanga tebaasisinkana baana ba Isiraeri nga balina emmere n'amazzi, naye ne bagulirira Balaamu eri bo okubakolimira: era naye Katonda waffe n'afuula ekikolimo okuba omukisa.
3 Awo olwatuuka bwe baawulira amateeka, ne balyoka baawula mu Isiraeri ekibiina kyonna eky'abannaggwanga.
4 Era ebyo nga tebinnabaawo Eriyasibu kabona eyalondebwa okuba omukulu w'ebisenge eby'omu nnyumba ya Katonda waffe, bwe yali mukoddomi wa Tobiya,
5 Yali amutegekedde ekisenge ekinene, gye baateekeranga edda ebiweebwayo eby'obutta, n'omugavu, n'ebintu, n'ebitundu eby'ekkumi eby'eŋŋaano n'omwenge n'amafuta, Abaleevi bye baaweebwanga olw'ekiragiro n'abayimbi n'abaggazi n'ebiweebwayo ebisitulibwa ebya bakabona.
6 Naye mu biro ebyo byonna nze nga siri Yerusaalemi: kubanga mu mwaka ogw'amakumi asatu mu ebiri ogwa Alutagizerugizi kabaka w’e Babulooni ne ŋŋenda eri kabaka, awo nga wayiseewo ennaku, ne ndaga kabaka:
7 ne njija e Yerusaalemi ne ntegeera obubi Eriyasibu bwe yali akoze olwa Tobiya, ng'amutegekera ekisenge mu mpya ez'ennyumba ya Katonda.
8 Ne kinnakuwaza nnyo: kyennava nkasuka ebweru ebintu byonna eby'omu nnyumba ebya Tobiya okubiggya mu kisenge.
9 Awo ne ndagira ne balongoosa ebisenge: ne nzizaayo eyo ebintu eby'omu nnyumba ya Katonda n'ebiweebwayo eby'obutta n'omugavu.
10 Ne ntegeera nga Abaleevi baali tebannaweebwa migabo gyabwe; awo Abaleevi n'abayimbi abaakolanga omulimu nga baddukidde buli muntu mu kyalo kye.
11 Awo ne mpakanya abakulu ne njogera nti Kiki ekiresezza ennyumba ya Katonda? Ne mbakuŋŋaanya ne mbateeka mu kifo kyabwe.
12 Awo Abayuda bonna ne baleeta ekitundu eky'ekkumi eky'eŋŋaano n'omwenge n'amafuta eri amawanika.
13 Ne nzisaawo abawanika ku mawanika, Seremiya kabona ne Zadoki omuwandiisi, ne ku Baleevi, Pedaya: ne Kanani ye yabaddirira mutabani wa Zakkuli mutabani wa Mattaniya kubanga baalowoozebwa okuba abeesigwa, n'omulimu gwabwe kugabiranga baganda baabwe.
14 Onjijukiranga, ai Katonda wange, olw'ekigambo ekyo, so tosangula bikolwa byange ebirungi bye nnakolera ennyumba ya Katonda wange n'olw'ebyo ebikwatirwa omwo.
15 Mu biro ebyo ne ndaba mu Yuda abantu nga basambira ku ssabbiiti amasogolero, era nga bayingiza ebinywa, era nga babiteeka ku ndogoyi zaabwe; era n'omwenge n'ezabbibu n'ettiini n'emigugu egy'engeri zonna gye bayingiza mu Yerusaalemi ku lunaku olwa ssabbiiti: ne mba omujulirwa eri bo ku lunaku kwe baatundira ebyokulya.
16 Era mwabeeramu abasajja ab’e Ttuulo abaayingizanga ebyennyanja n'ebintu eby'engeri zonna, ne babaguliza ku ssabbiiti abaana ba Yuda ne mu Yerusaalemi.
17 Awo ne ndyoka mpakanya abakungu ba Yuda ne mbagamba nti Kibi ki kino kye mukola ne mwonoona olunaku olwa ssabbiiti?
18 Bajjajjammwe si bwe baakolanga bwe batyo, era Katonda waffe teyatuleetako bubi buno bwonna ne ku kibuga kino? era naye mmwe mweyongera okuleeta obusungu ku Isiraeri nga mwonoona ssabbiiti.
19 Awo olwatuuka ekizikiza bwe kyasooka okukwata enzigi ez'e Yerusaalemi ssabbiiti ng'eneebaako enkya, ne ndagira okuggalawo enzigi, ne ndagira obutaziggulawo okutuusa ssabbiiti lw'eriggwaako: ne nteeka abamu ku baddu bange ku nzigi, baleme okuyingiza omugugu gwonna ku lunaku olwa ssabbiiti.
20 Awo abasuubuzi n'abatunzi b'ebintu eby'engeri zonna ne basula ebweru wa Yerusaalemi omulundi gumu oba ebiri.
21 Ne ndyoka mbeera omujulirwa eri bo ne mbagamba nti Kiki ekibasuza okwetooloola bbugwe? bwe mulikola bwe mutyo nate, ndibakwata. Awo okuva ku lunaku olwo ne batajjira nate ku ssabbiiti.
22 Awo ne ndagira Abaleevi okwerongoosa, era okujja okukuuma enzigi okutukuza olunaku olwa ssabbiiti. Onjijukiriranga, ai Katonda wange, na kino, onsonyiwe ng'okusaasira kwo bwe kwenkana obungi.
23 Mu biro ebyo era ne ndaba Abayudaaya abaali bawasizza abakazi ba Asudodi n'aba Amoni n'aba Mowaabu:
24 n'abaana baabwe baayogeranga ekitundu lulimi lwa Asudodi so tebaayinza kwogera lulimi lwa Bayudaaya, naye ng'olulimi olwa buli ggwanga bwe lwali.
25 Awo ne mbawakanya ne mbakolimira ne nkubako abamu ne nkuunyuula enviiri zaabwe ne mbalayiza Katonda nti Temuwanga batabani baabwe bawala bammwe, so temutwaliranga batabani bammwe bawala baabwe, newakubadde mmwe bennyini.
26 Sulemaani kabaka wa Isiraeri teyayonoonanga mu ebyo? naye mu mawanga mangi temwali kabaka amwenkana, era yayagalibwa Katonda we, era Katonda n'amufuula kabaka wa Isiraeri yenna: era nate n'oyo abakazi ab'amawanga ne bamwonoonyesa.
27 Kale tunaabawulira mmwe okukolanga obubi obwenkanidde awo okusobya Katonda waffe nga tuwasa abakazi ab'amawanga?
28 Era omu ku batabani ba Yoyada mutabani wa Eriyasibu kabona omukulu, yali mukoddomi wa Sanubalaati Omukoloni: kyennava mmugoba gye ndi.
29 Obajjukiranga, ai Katonda wange, kubanga baayonoona obwakabona n'endagaano ey'obwakabona n'ey'Abaleevi.
30 Bwe ntyo bwe nnabalongoosa eri bannaggwanga bonna, ne nteekawo ebisanja bya bakabona n'eby'Abaleevi, buli muntu mu mulimu gwe;
31 n'olwekiweebwayo eky'enku mu biro ebyateekebwawo; n'olw'ebibala ebibereberye. Onjijukiranga, ai Katonda wange, okunkola obulungi.