Nekkemiya

Essuula: 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13


Chapter 9

1 Awo ku lunaku olw'abiri mu nnya olw'omwezi guno abaana ba Isirieri baali bakuŋŋaanye nga basiiba era nga bambadde ebibukutu era nga basaabye ettaka.
2 Awo ezzadde lya Isiraeri ne beeyawula mu bannaggwanga bonna, ne bayimirira ne baatula ebibi byabwe n'obutali butuukirivu bwa bajjajjaabwe.
3 Ne bayimirira mu kifo kyabwe ne basoma mu kitabo eky'amateeka ga Mukama Katonda waabwe ne bamala ekitundu ky'olunaku eky'okuna; n'ekitundu eky'okuna ekirala ne baatula, ne basinza Mukama Katonda waabwe.
4 Awo ne wayimirira ku madaala g'Abaleevi Yesuwa ne Baani ne Kadumyeri ne Sebaniya ne Bunni ne Serebiya ne Baani ne Kenani, ne bakaabira Mukama Katonda waabwe n'eddoboozi ddene.
5 Awo Abaleevi, Yesuwa ne Kadumyeri ne Baani ne Kasabuneya ne Serebiya ne Kodiya ne Sebaniya ne Pesakiya ne boogera nti Muyimirire mwebaze Mukama Katonda wammwe okuva emirembe gyonna n'okutuusa emirembe gyonna: era erinnya lyo ery'ekitiibwa lyebazibwe erigulumizibwa okusinga okwebaza kwonna n'okutendereza.
6 Ggwe Mukama, ggwe wekka; ggwe wakola eggulu, eggulu erya waggulu, n'eggye lyalyo lyonna, ensi n'ebintu byonna ebiri okwo, ennyanja ne byonna ebiri omwo, era ggwe obikuuma byonna; n'eggye ery'omu ggulu likusinza.
7 Ggwe Mukama Katonda yennyini, eyalonda Ibulayimu n'omuggya mu Uli ey'Abakaludaaya, n'omuwa erinnya Ibulayimu;
8 n'olaba omutima gwe nga mwesigwa mu maaso go, n'olagaana naye endagaano okuwa ensi ey'Omukanani n'Omukiiti n'Omwamoli n'Omuperizi n'Omuyebusi n'Omugirugaasi, okugiwa ezzadde lye, era otuukirizza ebigambo byo kubanga ggwe mutuukirivu.
9 Era walaba okubonaabona kwa bajjajjaaffe mu Misiri n'owulira okukaaba kwabwe ku ttale ly'Ennyanja Emmyufu;
10 n'olaga obubonero n'eby'amagero ku Falaawo n'abaddu be bonna n'abantu bonna ab'omu nsi ye; kubanga wamanya nga baabakola eby'amalala; ne weefunira erinnya nga bwe kiri leero.
11 Era wayawula mu nnyanja mu maaso gaabwe n'okuyita ne bayita wakati mu nnyanja ku lukalu; n'abo abaabagoberera n'obakasuka mu buziba ng'ejjinja bwe likasukibwa mu mazzi ag'amaanyi.
12 Era nate n'obaluŋŋamya ng'oyima mu mpagi ey'ekire emisana; era ng'oyima mu mpagi ey'omuliro ekiro, okubamulisiza mu kkubo lye baba bayitamu.
13 Era wakka ku lusozi Sinaayi, n'oyogera nabo ng'oyima mu ggulu; n'obawa ensala entuufu n'amateeka ag’amazima, ebyakuutirwa ebirungi n'ebiragiro:
14 n'obamanyisa ssabbiiti yo entukuvu, n'obalagira ebiragiro n'amateeka ne tawuleeti mu mukono gwa Musa omuddu wo:
15 n'obawanga emmere eyava mu ggulu olw'enjala yaabwe, n'obaggira amazzi mu lwazi olw'ennyonta yaabwe, n'obalagira bayingire okulya ensi gye wayimusiza omukono gwo okubawa.
16 Naye bo ne bajjajjaaffe ne bakola eby'amalala, ne bakakanyaza ensingo yaabwe, ne batawulira biragiro byo,
17 ne bagaana okugonda so tebajjukira bya magero byo bye wakola mu bo; naye ne bakakanyaza ensingo yaabwe, ne bassaawo omwami nga bajeemye okuddayo mu buddu bwabwe: naye ggwe Katonda eyeeteeseteese okusonyiwa, ow'ekisa era ajjudde okusaasira, alwawo okusunguwala, era akwatirwa ennyo ekisa, n'otobaleka.
18 Weewaawo, bwe baakola ennyana ensaanuuse, ne boogera nti Ono ye Katonda wo eyakuggya mu Misiri, era nga bakoze ebinyiiza ennyo;
19 naye ggwe olw'okusaasira kwo okutali kumu n'otobaleka mu ddungu: empagi ey'ekire teyabavangako emisana okubaluŋŋamiza mu kkubo; newakubadde empagi ey'omuliro ekiro okubamulisiza n'okubalaga ekkubo lye baba bayitamu.
20 Era wawa omwoyo gwo omulungi okubayigiriza, so tewabammanga manu yo mu kamwa kaabwe, n'obawa amazzi olw'ennyonta yaabwe.
21 Weewaawo, wabaliisiza emyaka amakumi ana mu ddungu, ne batabulwanga kintu; ebyambalo byabwe tebyakaddiwanga n'ebigere byabwe tebyazimbanga.
22 Era wabawa obwakabaka n'amawanga ge wagaba ng'emigabo gyabwe bwe gyali: kale ne balya ensi ya Sikoni, ensi ya kabaka w’e Kesuboni, n'ensi ya Ogi kabaka w’e Basani.
23 Era n'abaana baabwe wabaaza ng'emmunyeenye ez'omu ggulu, n'obayingiza mu nsi gye wagambako bajjajjaabwe nga baligiyingira okugirya.
24 Kale abaana ne bayingira ne balya ensi, n'owangula abaali mu nsi mu maaso gaabwe, Abakanani, n'obawaayo mu mikono gyabwe, ne bakabaka baabwe n'amawanga ag'omu nsi, babakole nga bwe bayagala.
25 Ne bamenya ebibuga ebyaliko enkomera, n'ensi engimu, ne balya ennyumba ezajjula ebirungi byonna, ebidiba ebyabajjibwa, ensuku ez'e emizabbibu, n'ez'emizeyituuni, n'emiti egibala ebibala mingi nnyo: awo ne balya ne bakkuta, ne bagejja ne basanyukiranga obulungi bwo obungi.
26 Era naye ne batagondanga ne bakujeemeranga ne basuulanga amateeka go ennyuma w'amabega gaabwe, ne battanga bannabbi bo abaabanga abajulirwa eri bo okubakyusa nate gy'oli, ne bakolanga ebinyiiza ennyo.
27 Kyewava obagabulanga mu mukono gw'abalabe baabwe abaabeeraliikirizanga: kale mu kiseera mwe baalabira ennaku bwe baakukaabiranga, n'obawuliranga ng'oyima mu ggulu; era ng'okusaasira kwo okutali kumu bwe kwali n'obawanga abalokozi abaabalokolanga mu mukono gw'abalabe baabwe.
28 Naye bwe baamalanga okuwummula, ne beeyongeranga okukola obubi mu maaso go: kyewava obalekanga mu mukono gw'abalabe baabwe n'okufuga ne babafuga: naye bwe baakomangawo ne bakukaabira, n'owulira, ng'oyima mu ggulu; n'obawonyanga emirundi mingi ng'okusaasira kwo bwe kwali;
29 n'obanga mujulirwa eri bo olyoke obakomyengawo eri amateeka go: naye ne bakolanga eby'amalala ne batawuliranga mateeka go, naye ne basobyanga emisango gyo, (egyo omuntu bw'agikola, anaabanga mulamu mu gyo,) ne baggyangawo ekibegabega, ne bakakanyazanga ensingo yaabwe, ne batayagalanga kuwulira.
30 Naye n'obagumiikiririzanga emyaka mingi, n'obanga mujulirwa eri bo n'omwoyo gwo mu bannabbi bo: naye ne batayagalanga kutega kutu: kyewava obagabulanga mu mukono gw'amawanga ag'omunsi.
31 Naye olw'okusaasira kwo okutali kumu n'otobamalirangawo ddala, so tewabalekanga; kubanga ggwe oli Katonda wa kisa era ow'okusaasira.
32 Kale nno, Katonda waffe, Katonda omukulu, ow'amaanyi, ow'entiisa, akwata endagaano n'okusaasira, okutegana kwonna kuleme okufaanana okutono mu maaso go, okwatubangako, ku bassekabaka baffe, ku bakungu baffe, ne ku bakabona baffe, ne ku bannabbi baffe, ne ku bajjajjaffe, ne ku bantu bo bonna, okuva ku mirembe gya bakabaka b'e Bwasuli na buli kati.
33 Naye ggwe mutuukirivu mu byonna ebyatubangako kubanga wakolanga eby'amazima, naye ffetwakolanga obubi:
34 so ne bassekabaka baffe n'abakungu baffe ne bakabona baffe ne bajjajjaffe tebaakwatanga mateeka go so tebaawuliranga biragiro byo n'emisango gyo bye wategeeza eri bo.
35 Kubanga tebaakuweerezanga mu bwakabaka bwabwe, ne mu bulungi bwo obungi bwe wabawa, ne mu nsi ennene engimu gye wawa mu maaso gaabwe, so tebaakyukanga okuleka ebikolwa byabwe ebibi.
36 Laba, tuli baddu leero, n'ensi gye wawa bajjajjaffe, okulyanga ebibala byamu n'obulungi bwamu, laba, tuli baddu omwo.
37 Era ewa amagoba mangi bakabaka be wassaawo okutufuga olw'okwonoona kwaffe: era balina obuyinza ku mibiri gyaffe, n'ebisibo byaffe, nga bwe basiima, naffe tulabye ennaku nnyingi.
38 Era naye ebyo byonna newakubadde nga bibaddewo tulagaana endagaano ey'enkalakkalira, ne tugiwandiika; abakungu baffe n'Abaleevi baffe ne bakabona baffe ne bagissaako akabonero.