Chapter 3
1 Awo Eriyasibu kabona asinga obukulu n'agolokoka wamu ne baganda be bakabona, ne bazimba omulyango ogw'endiga; ne bagutukuza, ne basimba enzigi zaagwo; okutuuka ku kigo kya Kammeya kwe baakoma okugutukuza, okutuuka ku kigo kya Kananeri.
2 Era abasajja ab'e Yeriko be baamuddirira okuzimba. Era Zakkuli mutabani wa Imuli ye yabaddirira okuzimba.
3 N'omulyango ogw'ebyennyanja batabani ba Kassenaa be baaguzimba; baateekawo emiti gyagwo, ne basimba enzigi zaagwo, ebisiba byagwo n'ebyuma byagwo.
4 Era Meremoosi mutabani wa Uliya mutabani wa Kakkozi ye yabaddirira okuddaabiriza. Era Mesullamu mutabani wa Berekiya mutabani wa Mesezaberi ye yabaddirira okuddaabiriza. Era Zadoki mutabani wa Baana ye yabaddirira okuddaabiriza.
5 Era Abatekowa be baabaddirira okuddaabiriza; naye abakungu baabwe tebassaawo nsingo ku mulimu gwa mukama waabwe.
6 N'omulyango ogw'edda Yoyada mutabani wa Paseya ne Mesullamu mutabani wa Besodeya be baaguddaabiriza; baateekawo emiti gyagwo, ne basimba enzigi zaagwo n'ebisiba byagwo n'ebyuma byagwo.
7 Era Meratiya Omugibyoni ne Yadoni Omumeronoosi, abasajja ab'e Gibyoni, n'ab'e Mizupa, eky'omu ssaza ly'omukulu w'emitala w'omugga, be baabaddirira okuddaabiriza.
8 Wuziyeeri mutabani wa Kalukaya, abaweesi ba zaabu, be baamuddirira okuddaabiriza. Era Kananiya omu ku bafumba kalifuwa ye yamuddirira okuddaabiriza, ne banyweza Yerusaalemi, okutuuka ku bbugwe omugazi.
9 Era Lefaya mutabani wa Kuuli omukulu w'ekitundu ky'essaza lya Yerusaalemi ye yabaddirira okuddaabiriza.
10 Era Yedaya mutabani wa Kalumafu ye yabaddirira okuddaabiriza okwolekera ennyumba ye ye. Era Kattusi mutabani wa Kasabuneya ye yamuddirira okuddaabiriza.
11 Malukiya mutabani wa Kalimu ne Kassubu mutabani wa Pakasumowaabu ne baddaabiriza ekituli ekirala n'ekigo eky'ebikoomi.
12 Era Sallumu mutabani wa Kallokesi omukulu w'ekitundu ky'essaza lya Yerusaalemi, ye ne bawala be, ye yamuddirira okuddaabiriza.
13 Omulyango ogw'omu kiwonvu Kanuni n'abaali mu Zanowa be baaguddaabiriza; ne baguzimba ne basimba enzigi zaagwo, ebisiba byagwo n'ebyuma byagwo, n'ekituli eky'oku bbugwe eky'emikono olukumi okutuuka ku mulyango ogw'obusa.
14 N'omulyango ogw'obusa Malukiya mutabani wa Lekabu omukulu w'essaza ly'e Besukakkeremu ye yaguddaabiriza; oyo ye yaguzimba n'asimba enzigi zaagwo, ebisiba byagwo n'ebyuma byagwo.
15 N'omulyango ogw'oluzzi Salluni mutabani wa Kolukoze omukulu w'essaza ly'e Mizupa ye yaguddaabiriza; oyo ye yaguzimba n'agubikkako n'asimba enzigi zaagwo, ebisiba byagwo n'ebyuma byagwo, ne bbugwe ow'oku kidiba kya Sera ekiriraanye olusuku lwa kabaka okutuuka ku madaala agaserengeta okuva mu kibuga kya Dawudi.
16 Nekkemiya mutabani wa Azubuki omukulu w'ekitundu ky'essaza ly'e Besuzuli ye yamuddirira okuddaabiriza okutuuka ku kifo ekyolekera amalaalo ga Dawudi nokutuuka ku kidiba ekyasimibwa n'okutuuka ku nnyumba y'abasajja ab'amaanyi.
17 Abaleevi, Lekumu mutabani wa Baani, be baamuddirira okuddaabiriza. Kasabiya omukulu w'ekitundu ky'essaza ly'e Keyira ye yamuddirira okuddaabiriza olw'essaza lye.
18 Baganda baabwe, Bawayi mutabani wa Kenadadi omukulu w'ekitundu ky'essaza ly'e Keyira, be baamuddirira okuddaabiriza.
19 Ne Ezeri mutabani wa Yesuwa omukulu w’e Mizupa ye yamuddirira okuddaabiriza ekituli ekirala ekyolekera awalinnyirwa mu ggwanika ery'ebyokulwanyisa (bbugwe) w'awetera.
20 Baluki mutabani wa Zabbayi ye yamuddirira okuddaabiriza ekituli ekirala ng'anyiikira nnyo, okuva bbugwe w'awetera okutuuka ku luggi lw'ennyumba ya Eriyasibu kabona asinga obukulu.
21 Meremoosi mutabani wa Uliya mutabani wa Kakkozi ye yamuddirira okuddaabiriza ekituli ekirala okuva ku luggi lw'ennyumba ya Eriyasibu okutuuka ku nkomerero y'ennyumba ya Eriyasibu.
22 Ne bakabona abasajja ab'omu lusenyi be baamuddirira okuddaabiriza.
23 Benyamini ne Kassubu be baabaddirira okuddaabiriza okwolekera ennyumba yaabwe. Azaliya mutabani wa Maaseya mutabani wa Ananiya ye yabaddirira okuddaabiriza ku mabbali g'ennyumba ye ye.
24 Binnuyi mutabani wa Kenadadi ye yamuddirira okuddaabiriza ekituli ekirala okuva ku nnyumba ya Azaliya okutuuka bbugwe w'awetera ne ku nsonda.
25 Palali mutabani wa Uzayi ye yaddaabiriza okwolekera bbugwe w'awetera n'ekigo ekyazimbibwa ku nnyumba ey'engulu eya kabaka eriraanye oluggya olw'abambowa. Pedaya mutabani wa Palosi ye yamuddirira okuddaabiriza.
26 (Era Abanesinimu baabanga mu Oferi okutuuka ku kifo ekyolekera omulyango ogw'amazzi ebuvanjuba n'ekigo ekyazimbibwako.)
27 Abatekowa be baamuddirira okuddaabiriza ekituli ekirala ekyolekera ekigo ekinene ekyazimbibwako n'okutuuka ku bbugwe w’e Oferi.
28 Engulu w'omulyango ogw'embalaasi bakabona we baddaabiriza, buli muntu okwolekera ennyumba ye ye.
29 Zadoki mutabani wa Immeri ye yabaddirira okuddaabiriza, okwolekera ennyumba ye ye. Ne Semaaya mutabani wa Sekaniya omuggazi w'omulyango ogw'ebuvanjuba ye yamuddirira okuddaabiriza.
30 Kananiya mutabani wa Seremiya ne Kanuni omwana ow'omukaaga owa Zalafu be bamuddirira okuddaabiriza ekituli ekirala. Mesullamu mutabani wa Berekiya ye yamuddirira okuddaabiriza okwolekera ekisenge kye.
31 Malukiya omu ku baweesi ba zaabu ye yamuddirira okuddaabiriza okutuusa ku nnyumba ey'Abanesinimu n'ey'abasuubuzi okwolekera omulyango gwa Kammifukaadi n'okutuusa awalinnyirwa ku nsonda.
32 Era wakati w'awalinnyirwa ku nsonda n'omulyango ogw'endiga abaweesi ba zaabu n'abasuubuzi we baddaabiriza.