Chapter 1
1 Ebigambo bya Nekkemiya mutabani wa Kakaliya. Awo olwatuuka mu mwezi Kisulevu mu mwaka ogw'amakumi abiri, bwe nnali nga ndi mu Susani olubiri,
2 Kanani omu ku baganda bange n'ajja, ye n'abasajja abamu abaava mu Yuda; ne mbabuuza ebigambo by'Abayudaaya abaawona, abaali basigadde mu busibe, n'ebigambo by'e Yerusaalemi.
3 Ne baŋŋamba nti Ekitundu ekifisseewo abasigadde mu busibe eyo mu ssaza balabye ennaku nnyingi n'okuvumibwa: era bbugwe wa Yerusaalemi amenyesemenyese, n'emiryango gyakyo gyokeddwa omuliro.
4 Awo olwatuuka bwe nnawulira ebigambo ebyo ne ntuula ne nkaaba amaziga, ne nnakuwalira ennaku ezimu; ne nsiiba ne nsaba mu maaso ga Katonda w'eggulu,
5 ne njogera nti Nkwegayiridde, ai Mukama Katonda w'eggulu, Katonda omukulu ow'entiisa, akwata endagaano n'okusaasira eri abo abamwagala ne bakwata ebiragiro bye:
6 okutu kwo kuwulire nno, n'amaaso go gazibuke, owulire okusaba kw'omuddu wo kwe nsaba mu maaso go mu biro bino emisana n'ekiro, olw'abaana ba Isiraeri abaddu bo, nga njatula ebibi eby'abaana ba Isiraeri bye twakwonoona: weewaawo, nze n'ennyumba ya kitange twayonoona.
7 Twakola eby'obukyamu ennyo gy'oli, so tetwakwata biragiro newakubadde amateeka newakubadde emisango bye walagira omuddu wo Musa.
8 Nkwegayiridde, jjukira ekigambo kye walagira omuddu wo Musa ng'oyogera nti Bwe munaasobyanga, naabasaasaanyizanga ddala mu mawanga:
9 naye bwe munaakomangawo gye ndi ne mukwatanga ebiragiro byange ne mubikolanga, newakubadde ng'abammwe abaagobebwa nga banaabanga ku nkomerero y'eggulu, naye naabakuŋŋaanyanga okubaggyayo, ne mbaleetanga mu kifo kye nneeroboza okutuuza omwo erinnya lyange.
10 Kale bano be baddu bo era be bantu bo be wanunula n'obuyinza bwo obungi n'omukono gwo ogw'amaanyi.
11 Ai Mukama, nkwegayiidde okutu kwo kuwulire nno okusaba kw’omuddu wo n’okw’abaddu bo abasanyukira okutya erinnya lyo: owe omuddu wo omukisa leero, omuwe okusaasirwa mu maaso g'omusajja ono. (Era nali ndi musenero wa kabaka.)