Chapter 31
1 Awo Musa n'agenda n'abuulira Isiraeri yenna ebigambo ebyo.
2 N'abagamba nti Leero naakamaze emyaka kikumi mu abiri; sikyayinza kufuluma na kuyingira: era Mukama yaŋŋamba nti Tojja kusomoka Yoludaani ono.
3 Mukama Katonda wo y'alikukulembera okusomoka; ye alizikiriza amawanga gano mu maaso go, naawe oligalya: era Yoswa y'alikukulembera okusomoka, nga Mukama bwe yayogera.
4 Era Mukama alibakola nga bwe yakola Sikoni ne Ogi, bakabaka b'Abamoli, n'ensi yaabwe; be yazikiriza.
5 Era Mukama alibagabula mu maaso gammwe, nammwe mulibakola ng'ekiragiro kyonna bwe kiri kye mbalagidde.
6 Beera n'amaanyi, guma omwoyo, totya so tobatekemukira kubanga Mukama Katonda wo ye wuuyo agenda naawe; taakulekenga so taakwabulirenga.
7 Awo Musa n'ayita Yoswa n’amugamba mu maaso ga Isiraeri yenna nti Beera n'amaanyi, guma omwoyo: kubanga oligenda n'abantu bano mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajja baabwe okubawa; era oligibasisa.
8 Mukama ye wuuyo abakulembera; anaabeeranga naawe, taakulekenga so taakwabulirenga: totya so totekemuka.
9 Awo Musa n'awandiika amateeka gano n'agawa bakabona abaana ba Leevi, abaasitulanga essanduuko ey'endagaano ya Mukama, n'abakadde bonna aba Isiraeri.
10 Awo Musa n'abalagira ng'ayogera nti Buli myaka musanvu bwe ginaggwangako, mu kiseera ekyateekebwawo eky'omwaka ogw'okusumululiramu, mu mbaga ey'ensiisira.
11 Isiraeri yenna nga bazze okulabikira mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo ky'alyeroboza, onoosomeranga amateeka gano mu maaso ga Isiraeri yenna mu matu gaabwe.
12 Okuŋŋaanyanga abantu; abasajja n'abakazi n'abaana abato, ne munnaggwanga wo ali munda w'enzigi zo, bawulire, era bayige, era batye Mukama Katonda wammwe, era bakwatenga ebigambo byonna eby'amateeka gano okubikola;
13 era abaana baabwe; abatannamanya, bawulire era bayige okutyanga Mukama Katonda wammwe, ennaku zonna nga mukyatuula mu nsi gye musomokera Yoludaani okugirya.
14 Mukama n'agamba Musa nti Laba, ennaku zo ziri kumpi kikugwanire okufa: yita Yoswa, mweyanjule mu weema ey'okusisinkanirangamu, ndyoke mmulagire. Awo Musa ne Yoswa ne bagenda ne beeyanjula mu weema ey'okusisinkanirangamu.
15 Awo Mukama n'alabikira mu weema mu mpagi y'ekire: empagi y'ekire n'eyimirira waggulu w'oluggi lw'eweema.
16 Mukama n'agamba Musa nti Laba, olyebaka ne bajjajja bo; n'abantu bano baligolokoka ne bagenda nga bayenda okugoberera bakatonda abalala ab'omu nsi, gye bagenda okubeeranga mu bo wakati, era balindeka ne bamenya endagaano yange gye nnalagaana nabo.
17 Obusungu bwange ne bulyoka bubuubuuka ku bo ku lunaku luli, nange ndibaleka, era ndibakisa amaaso gange, era baliriibwa, n'obubi n'ennaku ennyingi biribajjira; n'okwogera ne boogera ku lunaku luli nti Obubi buno si kye buvudde butujjira kubanga Katonda waffe tali mu ffe?
18 Era sirirema kukisa maaso gange ku lunaku luli olw'obubi bwonna bwe baliba nga bakoze, kubanga bakyukidde bakatonda abalala.
19 Kale nno kaakano mwewandiikire oluyimba luno, era oluyigirize abaana ba Isiraeri: oluteeke mu bumwa bwabwe, oluyimba luno lubeerenga omujulirwa wange eri abaana ba Isiraeri.
20 Kubanga bwe ndiba nga mbayingizizza mu nsi gye nnalayirira bajjajja baabwe, ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki; era bwe baliba nga balidde ne bakkuta, ne bagejja; ne balyoka bakyukira bakatonda abalala, ne babaweereza, ne banyooma nze, ne bamenya endagaano yange.
21 Awo olulituuka, obubi bungi n'ennaku bwe biriba nga bibajjidde, oluyimba luno lulitegeeza mu maaso gaabwe ng'omujulirwa; kubanga terulyerabirwa okuva mu bumwa bw'ezzadde lyabwe: kubanga mmanyi okulowooza kwabwe kwe bagoberera, ne kaakano, nga sinnabayingiza mu nsi gye nnalayirira.
22 Awo Musa n’awandiika oluyimba luno ku lunaku olwo, n'aluyigiriza abaana ba Isiraeri.
23 N'alagira Yoswa omwana wa Nuni, n'ayogera nti Beera n'amaanyi, guma omwoyo: kubanga oliyingiza abaana ba Isiraeri mu nsi gye nnabalayirira: nange n'abeeranga wamu naawe.
24 Awo olwatuuka, Musa bwe yamalira ddala okuwandiika ebigambo eby'amateeka gano mu kitabo, okutuusa lwe byaggwa,
25 Musa n'alagira Abaleevi, abaasitulanga essanduuko y'endagaano ya Mukama ng'ayogera nti
26 Muddire ekitabo kino eky'amateeka; mukiteeke ku mabbali g'essanduuko y'endagaano ya Mukama Katonda wammwe, kibeerenga eyo okuba omujulirwa gy'oli.
27 Kubanga mmanyi obujeemu bwo n'ensingo yo enkakanyavu: laba, nga nkyali mulamu nga nkyali wamu nammwe leero, mwabanga mwagala okujeemera Mukama; temulyeyongera nnyo nga mmaze okufa?
28 Mukuŋŋaanyize gye ndi abakadde bonna ab'ebika byammwe, n'abaami bammwe, ndyoke njogerere ebigambo bino mu matu gaabwe, era mpite eggulu: n'ensi okuba abajulirwa gye bali.
29 Kubanga mmanyi nga mulyeyonoonera ddala nga mmaze okufa, era mulikyama okuva mu kkubo lye nnabalagira; era obubi bulibabaako mu nnaku ez'enkomerero; kubanga mulikola ekiri mu maaso ga Mukama ekibi, okumusunguwaza olw'omulimu gw'emikono gyammwe.
30 Era Musa n'ayogerera mu matu g'ekibiina kyonna ekya Isiraeri ebigambo eby'oluyimba luno, okutuusa lwe byaggwa.