Chapter 30
1 Awo olunaatuukanga, ebyo byonna bwe birimala okukujjira, omukisa n'ekikolimo, bye ntadde mu maaso go, naawe bw'onoobijjukiranga mu mawanga gonna Mukama Katonda wo gy'akugobedde,
2 n'okomawo eri Mukama Katonda wo, n'ogondera eddoboozi lye nga byonna bwe biri bye nkulagira leero, ggwe n'abaana bo, n'omutima gwo gwonna, era n'emmeeme yo yonna;
3 Mukama Katonda wo n'alyoka akyusa okunyagibwa kwo; n'akusaasira, n'akomawo n'akukuŋŋaanya ng'akuggya mu mawanga gonna, Mukama Katonda wo gye yakusaasaanyiza.
4 Omuntu yenna ku babo abaagobebwa bw'aba ng'ali mu nsonda z'eggulu, Mukama Katonda wo anaakuggyanga eyo okukukuŋŋaanya, era anaakukimanga eyo:
5 era Mukama Katonda wo anaakuyingizanga mu nsi bajjajja bo gye baalya, naawe oligirya; era alikukola bulungi, alikwaza okusinga bajjajja bo.
6 Era Mukama Katonda wo alikukomola omutima, n'omutima gw'ezzadde lyo, okwagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'emmeeme yo yonna, olyoke obe omulamu.
7 Era Mukama Katonda wo aliteeka ebikolimo ebyo byonna ku balabe bo, ne ku abo abaakukyawa, abaakuyigganyanga.
8 Era olikomawo n'ogondera eddoboozi lya Mukama, n'okola ebiragiro bye byonna, bye nkulagira leero.
9 Era Mukama Katonda wo alikwaza mu mulimu gwonna ogw'omukono gwo, mu bibala by'omubiri gwo, ne mu bibala by'ekisibo kyo, ne mu bibala by'ettaka lyo, olw'obulungi: kubanga Mukama alikusanyukirako nate olw'obulungi, nga bwe yasanyukira ku bajjajja bo:
10 oba ng'oligondera eddoboozi lya Mukama Katonda wo, okwekuumanga ebiragiro bye n'amateeka ge ebiwandiikiddwa mu kitabo kino eky'amateeka; oba ng'olikyukira Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna n'emmeeme yo yonna.
11 Kubanga ekiragiro kino kye nkulagira leero tekiiyinze kukukaluubirira, so tekiri wala.
12 Tekiri mu ggulu n'okwogera n'oyogera nti Ani anaatulinnyira mu ggulu, akituleetere, akituwulize, tulyoke tukikole?
13 So tekiri mitala w'ennyanja n'okwogera n'oyogera nti Ani alituwungukira ennyanja; akituleetere, akituwulize, tulyoke tukikole?
14 Naye ekigambo kikuli kumpi nnyo, mu kamwa ko ne mu mutima gwo olyoke okikolenga.
15 Laba, leero ntadde mu maaso go obulamu n'obulungi, n'okufa n’obubi;
16 kubanga nkulagira leero okwagalanga Mukama Katonda wo, okutambuliranga mu makubo ge, n'okwekuumanga ebiragiro bye n'amateeka ge n'emisango gye, olyoke obenga omulamu oyalenga era Mukama Katonda wo alyoke akuwenga omukisa mu nsi gy'oyingira okugirya.
17 Naye omutima gwo bwe gunaakyamanga n'ogaana okuwulira, naye n'osendebwasendebwanga n'osinzanga bakatonda abalala n'obaweerezanga;
18 mbategeereza ddala leero nga temulirema kuzikirira; temulimala nnaku zammwe nnyingi ku nsi gy'osomokera Yoludaani okuyingira okugirya.
19 Mpita eggulu n'ensi okuba abajulirwa gye muli leero, nga ntadde mu maaso go obulamu n'okufa, omukisa n'okukolimirwa: kale weeroboze obulamu, olyoke obenga omulamu, ggwe n'ezzadde lyo:
20 okwagalanga Mukama Katonda wo, okugonderanga eddoboozi lye, n'okwegattanga naye: kubanga oyo bwe bulamu bwo, era kwe kuwangaala ennaku zo: olyoke otuulenga mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajja bo, Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo, okubawa.