Chapter 25
1 Bwe wabangawo empaka n'abantu, ne bajja okusalirwa omusango, ne bagubasalira; banaasaliranga omutuukirivu okugusinga, n’omubi okusingibwa;
2 awo olunaatuukanga, omubi bw'abanga azzizza ogunaamukubya, omulamuzi anaamugalamizanga, anaamukubiranga mu maaso ge, ng'obubi bwe bwe buli, emiggo emibale.
3 Ayinza okumusalira emiggo ana, tasussangawo: muganda wo alemenga okufaanana atali wa muwendo gy'oli, bw'abanga asussizzaawo ng'amukubye emiggo mingi okusinga egyo.
4 Togisibanga kamwa ente ng'ewuula.
5 Ab'oluganda bwe banaabeeranga awamu, omu ku bo n’afa, nga talina mutabani, omukazi w'oyo afudde tafumbirwanga walala atali wa luganda: muganda wa bba ayingire gy'ali, amuwase, amukolere ebigwanira muganda wa bba
6 Awo olunaatuukanga, omubereberye gw'alizaala y'anaasikiranga erinnya lya muganda we eyafa, erinnya lye liremenga okusangalibwa okuva mu Isiraeri.
7 Era omusajja bw'abanga tayagala kuwasa mukazi wa muganda we, mukazi wa muganda we ayambukenga mu mulyango eri abakadde, ayogere nti Muganda wa baze agaana okuyimusiza muganda we erinnya mu Isiraeri, tayagala kunkolera ebigwanira muganda wa baze.
8 Kale abakadde b'omu kibuga kyabwe bamuyitenga, bamugambe; kale bw'anaayimiriranga n'ayogera nti Saagala kumuwasa;
9 kale mukazi wa muganda we ajjenga gy'ali mu maaso g'abakadde, anaanule engatto mu kigere kye, awande amalusu mu maaso ge; addemu ayogere nti Bwe kityo bwe kinaakolerwanga,omusajja atazimba nnyumba ya muganda we.
10 Era erinnya lye liyitibwenga mu Isiraeri nti Nnyumba y'oyo eyanaanulirwa engatto.
11 Abasajja bwe babanga balwana bokka na bokka, mukazi w'omu n'asembera okulokola bba mu mukono gw'oyo amukuba, n'agolola omukono gwe, n'amukwata wamberi:
12 omutemangako omukono, eriiso lyo terisaasiranga.
13 Tobanga na bya kupima ebitali bimu, ekinene n'ekitono, mu nsawo yo.
14 Tobanga na bigero ebitali bimu, ekinene n'ekitono; mu nnyumba yo.
15 Obenga n'eky'okupima ekituukirivu ekitasoba; obenga n'ekigero ekituukirivu ekitasoba: ennaku zo zibenga nnyingi mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa.
16 Kubanga bonna abakola ebiri ng'ebyo, bonna abakola ebitali bya butuukirivu, muzizo eri Mukama Katonda wo.
17 Jjukira Amaleki bwe yakukolera mu kkubo bwe mwali nga muva mu Misiri;
18 bwe yakusanga mu kkubo, n'atta abasembi ennyuma wo, abanafu bonna ab'ennyuma, bwe wazirika era ng'okooye; n'atatya Katonda.
19 Awo olulituuka, Mukama Katonda wo bw'aliba ng'akuwadde okuwummula eri abalabe bo bonna enjuyi zonna, mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa okuba obusika okugirya; kyoliva osangula okujjukizibwa kwa Amaleki wansi w'eggulu: teweerabiranga.