Chapter 28
1 Awo olunaatuukanga, bw'onoonyiikiranga okuwulira eddoboozi lya Mukama Katonda wo, okukwata ebiragiro bye byonna bye nkulagira leero, okubikolanga, Mukama Katonda wo anaakugulumizanga okusinga amawanga gonna agali ku nsi:
2 n'emikisa gino gyonna ginaakujjiranga ginaakutuukangako, bw'onoowuliranga eddoboozi lya Mukama Katonda wo.
3 Onoobanga n'omukisa mu kibuga, era onoobanga n'omukisa mu kyalo.
4 Ekibala ky'omubiri gwo kinaabanga n'omukisa, n'ekibala ky'ettaka lyo, n'ekibala ky'ekisibo kyo, ezzadde ly'ente zo n'abaana b'embuzi zo.
5 Ekibbo kyo kinaabanga n'omukisa n'olutiba lwo olw'okugoyeramu.
6 Onoobanga n'omukisa bw'onooyingiranga, era onoobanga n'omukisa bw'onoofulumanga:
7 Mukama anaakubiranga mu maaso go abalabe bo abakugolokokerako: banaafulumanga okukutabaala mu kkubo limu, ne baddukanga mu maaso go mu makubo musanvu.
8 Mukama anaalagiranga omukisa okuba ku ggwe mu mawanika go, ne mu byonna by'oteekako omukono gwo; era anaakuweeranga omukisa mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa.
9 Mukama anaakunywezanga okuba eggwanga ettukuvu eri ye, nga bwe yakulayirira; bw'onookwatanga ebiragiro bya Mukama Katonda wo n'otambuliraaga mu makubo ge.
10 Awo amawanga gonna ag'oku nsi ganaalabanga ng'otuumiddwa erinnya lya Mukama; ne gakutyanga:
11 Era Mukama anaakugaggawazanga olw'ebirungi, mu bibala by'omubiri gwo ne mu bibala by'ensolo zo ne mu bibala by'ettaka lyo; mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajja bo okukuwa.
12 Mukama anaakuggulirangawo etterekero lye eddungi eggulu okugaba enkuba y'ensi yo mu budde bwayo, n'okuwa omukisa omulimu gwonna ogw'omukono gwo: era onoowolanga amawanga mangi; so teweewolanga.
13 Era Mukama anaakufuulanga omutwe so si mukira; era onoobanga waggulu wokka so si wansi; bw'oti onowuliranga ebiragiro bya Mukama Katonda wo; bye nkukuutira leero, okubikwatanga n'okubikolanga;
14 n'olema okukyamanga; okuva mu kigambo kyonna ku ebyo bye mbalagira leero, okugenda ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono, okugoberera bakatonda abalala okubaweereza:
15 Naye olulituuka, bw'otoliwulira ddoboozi lya Mukama Katonda wo, okukwata ebiragiro bye byonna n'amateeka ge bye nkulagira leero okubikola; ebikolimo bino byonna birikujjira, birikutuukako.
16 Olikolimirwa mu kibuga, era olikolimirwa mu kyalo.
17 Ekibbo kyo kirikolimirwa n'olutiba lwo olw'okugoyeramu.
18 Ebibala by'omubiri gwo birikolimirwa, n'ebibala by'ettaka lyo, ezzadde ly'ente zo, n'abaana b'embuzi zo.
19 Onookolimirwanga bw'onooyingiranga era onookolimirwanga bw'onoofulumanga.
20 Mukama anaakusindikangako okukolimirwa n'okulemwa n'okunenyezebwa; mu byonna by'oteekako omukono gwo okukola, okutuusa lw'olizikirizibwa, n'okutuusa lw'olifaafaagana amangu; olw'obubi bw'ebikolwa byo ebyakunsengusa.
21 Mukama anaakulwazanga kawumpuli yeegattenga naawe okutuusa lw'alikumalawo okuva ku nsi, gy'oyingiramu okugirya.
22 Mukama anaakukubanga akakono, n'omusujja, n'okuzimba, n'okwokya okungi, n'ekitala, n'okwonooneka, n'okugengewala; era binaakugobereranga okutuusa lw'olizikirira.
23 N'eggulu lyo eriri waggulu ku mutwe gwo linaabanga kikomo, n'ettaka eriri wansi wo linaabanga kyuma.
24 Mukama anaafuulanga enkuba ey'ensi yo okuba effufugge n'enfuufu: mu ggulu mw'enaavanga okukka ku ggwe, okutuusa lw'olizikirizibwa.
25 Mukama anaakukubanga mu maaso g'abalabe bo: onoofulumanga okubatabaala mu kkubo limu, era onoddukanga mu makubo musanvu mu maaso gaabwe: era onooyuuganyizibwanga eruuyi n'eruuyi mu bwakabaka bwonna obw'ensi:
26 N'omulambo gwo gunaabanga kya kulya kya nnyonyi zonna ez'omu bbanga, era kya nsolo ez'oku nsi, so tewaabengawo aliziguŋŋumula.
27 Mukama anaakuleetangako ejjute ery'e Misiri, n'amabwa, n'olukonvuba n'obuwere ebitakuwonyezekako:
28 Mukama anaakuleetangako eddalu n'obuzibe bw'amsaso n'okusamaalirira kw'omutima:
29 era onoowammantanga mu ttuntu, ng'omuzibe w'amaaso bw'awammantira mu kizikiza; so toolabenga mukisa mu makubo go: era onoojoogebwanga bujoogebwa era onoonyagibwanga ennaku zonna, so tewaabengawo anaakulokola.
30 Onooyogerezanga omukazi, n'omulala anaasulanga naye: onoozimbanga ennyumba, so toobeerenga omwo: onoosimbanga olusuku lw'emizabbibu, so toolyenga bibala byalwo.
31 Ente yo enettirwanga mu maaso go, so toogiryengako: endogoyi yo eneenyagibwanga lwa maanyi mu maaso go, so teekuddizibwenga: endiga zo zinaagabirwanga abalabe bo, so toobengako anaakulokolanga.
32 Batabani bo ne bawala bo banaagabirwanga eggwanga eddala, era amaaso go ganaatunulanga ganaazibanga olw'okubeegomba okuzibya obudde: so tewaabengawo kintu ekinaabanga mu buyinza bw'omukono gwo.
33 Ebibala by'ettaka lyo, n'emirimu gyo gyonna, eggwanga ly'otomanyi liribirya; era onoojoogebwanga bujoogebwa era onoobetentebwanga ennaku zonna:
34 n'okulaluka n'olaluka olw'okulaba kw'amaaso go kw'onoolabanga.
35 Mukama anaakulwazanga amaviivi n'amagulu ejjute ebbi, ly'otowonyezeka, okuva munda w'ekigere kyo okutuusa ku bwezinge bw'omutwe gwo.
36 Mukama anaakuleetanga ggwe ne kabaka gw'oliyimusa okukufuga, eri eggwanga ly'otomanyanga ggwe newakubadde bajjajja bo; era onooweererezanga eyo bakatonda abalala, emiti n'amayinja.
37 Era onoofuukanga ekyewuunyo, olugero, n'ekigambo eky'obuwemu mu mawanga gonna Mukama gy’anaakutwalanga.
38 Onoofulumyanga mu animiro ensigo nnyingi, onooyingizanga ntono; kubanga enzige eneegiryanga:
39 Onoosimbanga ensuku z'emizabbibu n'ozirima, naye toonywenga ku nvinnyo yaamu newakubadde okukungula; kubanga akawuka kanaagiryanga.
40 Onoobanga n'emizeyituuni mu nsalo zo zonna, naye toosaabenga mafuta gaagyo; kubanga omuzeyituuni gwo gunaakunkumulanga ebibala byagwo.
41 Olizaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala, naye tebaabenga babo; kubanga balitwalibwa mu busibe:
42 Emiti gyo gyonna n'ebibala by'ettaka lyo enzige eneebiryanga.
43 Munnaggwanga ali wakati mu ggwe aneeyongerayongeranga okulinnya waggulu okukusinga; naawe oneeyongerayongeranga okukka wansi.
44 Anaakuwolanga; naawe toomuwolenga: anaabanga mutwe, naawe onoobanga mukira.
45 Era ebikolimo ebyo byonna binaakujjiranga binaakugobereranga binaakutuukangako okutuusa lw'olizikirizibwa; kubanga tewawulira ddoboozi lya Mukama Katonda wo, okukwata ebiragiro bye n'amateeka ge bye yakulagira:
46 era binaabanga ku ggwe okuba akabonero n'ekyewuunyo, ne ku zzadde lyo ennaku zonna:
47 kubanga tewaweereza Mukama Katonda wo n'essanyu era n'omutima ogujaguza, olw'ebintu byonna okuba ebingi:
48 kyonoovanga oweereza abalabe bo Mukama b'anaasindikanga okukulumba, ng'olumwa enjala n'ennyonta, era ng'oli bwereere, era ng'obulwa ebintu byonna: era anaateekanga ekikoligo eky'ekyuma ku nkoto yo, okutuusa lw'alimala okukuzikiriza.
49 Mukama alikuleetako eggwanga ng'aliggya wala mu nkomerero y'ensi, ng'empungu bw'ebuuka; eggwanga ly'otolitegeera lulimi lwalyo;
50 eggwanga ery'obwenyi obukambwe, eritalitya maaso ga bakadde, so teririsaasira bato:
51 anaalyanga ebibala by'ensolo zo, n'ebibala by'ettaka lyo, okutuusa lw'olizikirizibwa: era eritalikulekera ŋŋaano, newakubadde envinnyo, newakubadde amafuta, ezzadde ly'ente zo, newakubadde abaana b'embuzi zo, okutuusa lw'alikuzikiriza:
52 Era anaakuzingizanga mu miryango gyo gyonna, okutuusa enkomera zo empaavu eziriko ebigo ze weesiga lwe zirigwa mu nsi yo yonna: era alikuzingiza mu miryango gyo gyonna wmu nsi yo yonna, Mukama Katonda wo gy'akuwadde:
53 Era onoolyanga ebibala by'omubiri gwo ggwe, ennyama y'abaana bo ab'obulenzi n'ab'obuwala Mukama Katonda wo b'akuwadde; mu kuzingizibwa ne mu kuziyizibwa abalabe bo kwe banaakuziyizanga;
54 Omusajja omugonvu mu mmwe era omwenaanyi ennyo, eriiso lye linaabanga bbi eri muganda we n'eri omukazi ow'omu kifuba kye, n'eri abaana be abasigadde abakyaliwo:
55 n'obutawa n'atawa muntu yenna ku bo ku nnyama y'abaana be b'anaalyanga nga taliiko ekimusigalidde; mu kuzingizibwa ne mu kuziyizibwa omulabe wo kw'anaakuziyizanga mu miryango gyo gyonna.
56 Omukazi omugonvu mu mmwe era omwenaanyi, ataganya kulinnyisa ku ttaka kigere kye olw'okwenaanya n'obugonvu, eriiso lye linaabanga bbi eri bba ow'omu kifuba kye, n'eri mutabani we, n'eri muwala we;
57 n'eri omwana we omuto afuluma wakati w'ebigere bye, n'eri abaana be b'alizaala; kubanga anaabalyanga nkiso olw'okubulwa ebintu byonna: mu kuzingizibwa ne mu kuziyizibwa omulabe wo kw'anaakuziyizanga mu miryango gyo.
58 Bw'otookwatenga bigambo byonna eby'omu mateeka gano ebiwandiikiddwa mu kitabo kino okubikolanga, olyoke otyenga erinnya lino ery'ekitiibwa era ery'entiisa, Mukama Katonda wo;
59 awo Mukama anaafuulanga ebibonyoobonyo eby'ekitalo, n'ebibonyoobonyo by'ezzadde lyo, ebibonyoobonyo ebinene era ebirwawo ennyo, era endwadde enkambwe era ezirwawo ennyo.
60 Era anaakuleetangako nate endwadde zonna ez'e Misiri ze watyanga; era zineegattanga naawe.
61 Era na buli ndwadde na buli kibonyoobonyo ekitawandiikiddwa mu kitabo eky'amateeka gano, ebyo Mukama anaabikuleetangako, okutuusa lw'olizikirizibwa.
62 Era mulisigalawo omuwendo gwammwe nga mutono, newakubadde nga mwali ng'emmunyeenye ez'omu ggulu olw'obungi; kubanga tewawulira ddoboozi lya Mukama Katonda wo.
63 Awo olunaatuukanga Mukama nga bwe yabasanyukirako okubakola obulungi n'okubaaza; bw'atyo Mukama anaabasanyukirangako okubazikiriza n’okubafaafaaganya; era munaggibwangako okuva ku nsi gy'oyingira okugirya.
64 Era Mukama anaakusaasaanyanga mu mawanga gonna; okuva ku nkomerero y'ensi okutuusa ku nkomerero y'ensi; era onooweererezanga eyo bakatonda abalala b'otomanyanga ggwe newakubadde bajjajja bo, emiti n’amayinja.
65 Era mu mawanga ago toliraba kwesiima kwonna, so n'ekigere kyo tekiibengako we kirinnya okuwummula: naye Mukama anaakuwanga omutima ogukankana, n'amaaso agaziba, n'emmeeme ekoozimba,
66 n'obulamu bwo bunaabuusibwabuusibwanga mu maaso go; era onootyanga emisana n'ekiro, so toobengako kw'otegeerera obulamu bwo bwe bunaaba:
67 enkya onooyogeranga nti Singa buwungedde! era akawungeezi onooyogeranga nti Singa bukedde! olw'okutya kw'omutima gwo kw'onootyanga, n'olw'okulaba kw'amaaso go kw'onoolabanga.
68 Era Mukama alikuzza mu Misiri nate n'amaato, mu kkubo lye nnakugambako nti Toliriraba nate mulundi gwa kubiri: era eyo mulyetunda eri abalabe bammwe okuba abaddu n'abazaana, so tewaabengawo muntu anaabagulanga.