Chapter 1
1 Bino bye bigambo Musa bye yabuulira Isiraeri yenna emitala wa Yoludaani mu ddungu, mu Alaba awoolekera Sufu, wakati We Palani ne Toferi ne Labani ne Kazerosi ne Dizakabu.
2 Lwe lugendo olw'ennaku ekkumi n'olumu okuva e Kolebu okuyita awali olusozi Seyiri okutuuka e Kadesubanea.
3 Awo olwatuuka mu mwaka ogw'amakumi ana, mu mwezi ogw'ekkumi n'ogumu, ku lunaku olw'omwezi ogw'olubereberye, Musa n'ayogera n'abaana ba Isiraeri, nga byonna bwe byali Mukama bye yamulagira okubabuulira;
4 bwe yamala okutta Sikoni kabaka w'Abamoli, eyatuulanga mu Kesuboni, ne Ogi kabaka We Basani, eyatuulanga mu Asutaloosi, mu Ederei:
5 emitala wa Yoludaani, mu nsi ya Mowaabu, Musa gye yatanulira okulangira amateeka gano,
6 ng'ayogera nti Mukama Katonda waffe yayogerera naffe ku Kolebu, ng'ayogera nti Mwaludde okutuula ku lusozi luno:
7 mukyuke, mutambule, mugende mu nsi ey'ensozi ey'Abamoli, ne mu bifo byonna ebiriraanyeewo, mu Alaba, mu nsi ey'ensozi, ey'olusenyi, ne mu Bukiika obwa ddyo, ne ku ttale ly'ennyanja, ensi y’Abakanani, ne Lebanooni, okutuuka ku mugga omunene, omugga Fulaati.
8 Laba, ensi ngitadde mu maaso gammwe: muyingire, mulye ensi Mukama gye yalayirira bajjajja bammwe, Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo, okubawa bo n'ezzadde lyabwe eririddawo.
9 Nange nnayogera nammwe mu biro ebyo, nga ŋŋamba nti Nze siyinza kubasitula nzekka:
10 Mukama Katonda wammwe abongedde, era, laba, leero muli ng’emmunyeenye ez’omu ggullu okuba obungi.
11 Mukama, Katonda wa bajjajja bammwe, abongere emirundi lukumi okusinga nga bwe muli, era abawe omukisa, nga bwe yabasuubiza!
12 Nze nnyinza ntya nzekka okusitula okutegana kwammwe n'omugugu gwammwe n'okuyomba kwammwe?
13 Mwetwalire abasajja ab'amagezi era abategeevu era ab'amaanyi, ng'ebika byammwe bwe biri, nange ndibafuula abakulu bammwe.
14 Nammwe ne muddamu ne mwogera nti Ekigambo ky'oyogedde kirungi ffe okukikola.
15 Kale ne ntwala abakulu b'ebika byammwe, abasajja ab'amagezi, era ab'amaanyi, ne mbafuula abakulu bammwe, abaami b'enkumi, era abaami b'ebikumi, era abaami b'ataano, era abaami b'amakumi, era abamyuka, ng'ebika byammwe bwe biri.
16 Era nnakuutira abalamuzi bammwe mu biro ebyo, nga njogera nti Muwulirenga ensonga za baganda bammwe, musalirenga emisango egy'ensonga omuntu ne muganda we ne munnaggwanga ali awamu naye.
17 Temusalirizanga bwe munaasalanga emisango; munaawuliranga abato n'abakulu okubenkanyankanya; temutyanga maaso ga muntu; kubanga omusango gwa Katonda: era ensonga eneebalemanga mugireetanga gye ndi, nange naagiwuliranga.
18 Era nabalagira mu biro ebyo byonna eby'abagwanira okukola.
19 Awo ne tutambula okuva e Kolebu, ne tuyita mu ddungu liri lyonna eddene ery'entiisa lye mwalaba mu kkubo eriyita mu nsi ey’ensozi ey’Abamoli, nga Mukama Katonda waffe bwe yatulagira; ne tutuuka e Kadesubanea.
20 Ne mbagamba nti Mutuuse mu nsi ey’ensozi ey’Abamoli, Mukama Katonda waffe gy’atuwa.
21 Laba, Mukama Katonda wo attadde ensi mu maaso go: yambuka olye nga Mukama Katonda wa bajjajja bo bwe yakugamba; totya so tokankana.
22 Ne musemberera buli muntu ku mmwe, ne mwogera nti Tutume abantu abanatukulembera, batume abantu abaatukulembera, batukulemberere ensi, bakomewo batubuulire ekkubo bwe liri lye tuba twambukiramu, n’ebibuga bwe biri mwe tulituuka.
23 Ekigambo ekyo ne kinsanyusa nnyo: ne nnonda ku mmwe abantu kkumi na babiri, buli kika omuntu omu:
24 ne bakyuka ne balinnya ku lusozi, ne batuuka mu kiwonvu kya Esukoli, ne bakiketta.
25 Ne batwala ku bibala by'ensi mu ngalo zaabwe, ne babireeta gye tuli, ne batubuulira ne boogera nti Ensi eyo nnungi Mukama Katonda waffe gy'atuwa.
26 Naye mmwe ne mutakkiriza kwambuka, naye ne mujeemera ekiragiro kya Mukama Katonda wammwe:
27 ne mwemulugunyiza mu weema zammwe, ne mwogera nti Kubanga Mukama yatukyawa, kyeyava atuggya mu nsi y'e Misiri, okutugabula mu mikono gy'Abamoli, okutuzikiriza.
28 Twambuka wa? baganda baffe batusaanuusizza emitima gyaffe, nga boogera nti Abantu banene bawanvu okusinga ffe; ebibuga binene, byazimbibwako ebigo okutuuka mu ggulu; era twalabayo abaana ba Abanaki.
29 Awo ne ndyoka mbagamba nti Temubatya, so temubatekemukira.
30 Mukama Katonda wammwe abakulembera ye anaabalwaniriranga, nga byonna bwe byali bye yabakolera mu Misiri mu maaso gammwe;
31 ne mu ddungu, mwe walabira Mukama Katonda wo bwe yakusitula ng'omusajja bw'asitula omwana we, mu kkubo lyonna lye mwayitamu, okutuusa lwe mwatuuka mu kifo kino.
32 Naye mu kigambo ekyo temwakkiriza Mukama Katonda wammwe,
33 eyabakulemberanga mu kkubo, okubanoonyezanga ekifo eky'okukubiramu eweema zammwe, ng'ayima mu muliro ekiro, okubalaganga ekkubo lye munaayitamu, ne mu kire emisana.
34 Awo Mukama n'awulira eddoboozi ly'ebigambo byammwe, n'asunguwala, n'alayira ng'ayogera nti
35 Mazima tewalibawo n'omu ku bantu bano ab'emirembe gino emibi aliraba ensi ennungi, gye nnalayirira okuwa bajjajja bammwe,
36 wabula Kalebu omwana wa Yefune, oyo y'aligiraba; era oyo ndimuwa ensi gye yalinnyako n'abaana be: kubanga yagoberera Mukama mu byonna:
37 Mukama n'ansunguwalira nze ku bwammwe, ng'ayogera nti Naawe toliyingira omwo:
38 Yoswa omwana wa Nuni, ayimirira mu maaso go, oyo aliyingira omwo: mugumye omwoyo; kubanga ye aligisisa Isiraeri.
39 Era n'abaana bammwe abato, be mwayogera nga bagenda okuba omwandu, n'abaana bammwe, abatamanyi leero birungi newakubadde ebibi, bo baliyingira omwo, era ndigibawa bo, era baligirya.
40 Naye mmwe mukyuke mutambule mu ddungu mu kkubo eriyita mu Nnyanja Emmyufu.
41 Ne mulyoka muddamu ne muŋŋamba nti Tusobezza ku Mukama; tunaayambuka ne tulwana, nga byonna bwe biri Mukama Katonda waffe bye yatulagira. Ne mwesiba buli muntu ebibye eby'okulwanyisa, ne mwanguwa okulinnya ku lusozi.
42 Awo Mukama n'aŋŋamba nti Bagambe nti Temulinnya so temulwana; kubanga nze siri mu mmwe; muleme okugobebwa mu maaso g'abalabe bammwe:
43 Awo ne njogera nammwe, ne mutawulira; naye ne mujeemera ekiragiro kya Mukama ne mukwatibwa amalala, ne mulinnya ku lusozi.
44 Awo Abamoli abaatuulanga ku lusozi olwo, ne bafuluma okubalumba ne babagoba, ng'enjuki bwe zikola, ne babakubirakubira ku Seyiri okutuusa ku Koluma.
45 Ne muddayo ne mukaaba amaziga mu maaso ga Mukama; naye Mukama n'atawulira ddoboozi lyammwe, so n'atabategera kutu.
46 Awo ne mutuulira mu Kadesi ennaku nnyingi, ng'ennaku bwe ziri ze mwamalayo.