Essuula 5
1 Kale nno mwe abagagga, mukaabe mulire olw'ennaku ezijja ku mmwe.
2 Obugagga bwammwe buvunze, n'ebyambalo byammwe biriiriddwa ennyenje.
3 Ezaabu yammwe ne ffeeza zitalazze; n'obutalagge bwazo buliba mujulirwa gye muli, bulirya omubiri gwammwe ng'omuliro. Mwakuŋŋaanyiza ebintu mu nnaku ez'enkomerero.
4 Laba, empeera y'abakozi abaakungula ennimiro zammwe, gye mulyazaamaanya, ekaaba: n'ebiwoobe by'abo abakungula byayingira mu matu ga Mukama Ow'eggye.
5 Mwesanyusa ku nsi, ne muwoomerwa ebinyumu; mwegezzezza mu mitima gyammwe nga ku lunaku olw'okubaaga ebya ssava.
6 Mwasala omusango okusinga omutuukirivu, ne mumutta; naye tabawakanya.
7 Kale, ab'oluganda, mugumiikirizenga okutuusa okujja kwa Mukama waffe. Laba, omulimi alindirira ebibala eby'ensi eby'omuwendo omungi, abigumiikiriza, okutuusa enkuba eya ddumbi n'eya ttoggo.
8 Era nammwe mugumiikirizenga; munywezenga emitima gyammwe: kubanga okujja kwa Mukama waffe kuli kumpi.
9 Temwemulugunyanga, ab'oluganda, mwekka na mwekka, muleme okusalirwa omusango: laba, omusazi w'emisango ayimiridde ku luggi.
10 Mutwale ekyokulabirako, ab'oluganda, eky'okubonyaabonyezebwa n'okugumiikiriza, bannabbi abaayogeranga mu linnya lya Mukama.
11 Laba, tubayita ba mukisa abaagumiikirizanga: mwawulira okugumiikiriza kwa Yobu, era mwalaba Mukama ku nkomerero bw'akola nga Mukama wa kisa kingi n'okusaasira.
12 Naye okusinga byonna, baganda bange temulayiranga newakubadde eggulu, newakubadde ensi, newakubadde ekirayiro ekirala kyonna naye ekigambo kyammwe weewaawo kibeerenga weewaawo, n'ekigambo kyammwe si weewaawo kibeerenga si weewaawo; muleme okugwa mu musango.
13 Waliwo mu mmwe omuntu ali obubi? asabenga. Waliwo asanyuka? ayimbenga eby'okutendereza Katonda.
14 Waliwo mu mmwe omuntu alwadde? ayitenga abakadde b'ekkanisa; bamusabirenga, nga bamusiigako amafuta mu linnya lya Mukama waffe:
15 n'okusaba kw'okukkiriza kulirokola omulwadde, ne Mukama waffe alimuyimusa: era oba nga yakola ebibi birimuggibwako.
16 Kale mwatuliraganenga ebibi byammwe mwekka na mwekka, musabiraganenga, mulyoke muwone. Okusaba kw'omuntu omutuukirivu kuyinza nnyo mu kukola kwakwo.
17 Eriya yali muntu eyakwatibwa byonna nga ffe, n'asaba nnyo enkuba ereme okutonnya; enkuba n'etatonnya ku nsi emyaka esatu n'emyezi mukaaga.
18 N'asaba nate; eggulu ne litonnyesa enkuba, ensi n'emeza ebibala byayo.
19 Baganda bange, omuntu yenna mu mmwe bw'akyamanga okuva mu mazima, omuntu n'amala amukyusa,
20 ategeerenga ng'akyusa alina ebibi mu bukyamu obw'ekkubo lye alirokola obulamu mu kufa, era alibikka ku bibi bingi.