Essuula 2
1 Baganda bange, temubanga na kukkiriza kwa Mukama waffe Yesu Kristo ate ne muba n'okusosolanga mu bantu.
2 Kubanga bw'ayingira mu kkuŋŋaaniro lyammwe omuntu alina empeta eya zaabu ayambadde eby'obuyonjo, era n'omwavu ayambadde enziina n'ayingira,
3 nammwe ne mwaniriza ayambadde ebyambalo eby'obuyonjo, ne mwogera nti Ggwe tuula wano awalungi era ne mugamba omwavu nti Ggwe yimirira eri, oba tuula wansi awali akatebe k'ebigere byange;
4 nga temwawukanye mu mmwe mwekka, ne mufuuka abasazi b'ensonga ab'ebirowoozo ebibi?
5 Muwulire, baganda bange abaagalwa; Katonda teyalonda abalina obwavu bw'omu nsi okubeeranga n'obugagga obw'okukkiriza, n'okusikira obwakabaka bwe yasuubiza abamwagala?
6 Naye mmwe mwanyooma omwavu. Abagagga si be babajooga ne babawalula bennyini awasalirwa emisango?
7 Singa bavuma erinnya eddungi lye muyitibwa?
8 Naye bwe muba mutuukiriza etteeka lino eriri nga kabaka w'amateeka, nga bwe kyawandiikibwa nti Oyagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wekka, mukola bulungi.
9 Naye bwe munaasosolanga mu bantu, nga mukoze kibi, ne musingibwa amateeka ng’abonoonyi
10 Kubanga omuntu yenna bw'aba akwata amateeka gonna, naye n'asobya mu limu, ng'azzizza omusango gwa gonna.
11 Kubanga oyo eyayogera nti Toyendanga, ate yayogera nti Tottanga. Kale bw'otoyenda naye n'otta, ng'ofuuse mwonoonyi w'amateeka.
12 Mwogerenga era mukolenga bwe mutyo ng'abagenda okusalirwa omusango n'amateeka ag'eddembe.
13 Kubanga omusango tegubaako kusaasirwa eri atasaasira: okusaasira kujaguliza ku musango.
14 Kigasa kitya, baganda bange, omuntu bw'ayogera ng'alina okukkiriza, naye n'ataba na bikolwa? Okukkiriza okwo kuyinza okumulokola?
15 Bwe wabaawo ow'oluganda omusajja oba mukazi nga bali bwereere, ng'emmere eya buli lunaku tebamala,
16 era omu ku mmwe bw'abagamba nti Mugende n'emirembe mubugume, mukkute, naye ne mutabawa omubiri bye gwetaaga; kigasa kitya?
17 Era n'okukkiriza bwe kutyo, bwe kutabaako bikolwa, kwokka nga kufudde.
18 Naye omuntu alyogera nti Ggwe olina okukkiriza, nange nnina ebikolwa: ndaga okukkiriza kwo awatali bikolwa byo, nange olw'ebikolwa byange ndikulaga okukkiriza kwange.
19 Okkiriza nga Katonda ali omu; okola bulungi: era ne bassetaani bakkiriza, ne bakankana.
20 Naye oyagala okutegeera, ggwe omuntu ataliimu, ng'okukkiriza awatali bikolwa tekuliiko kye kugasa?
21 Ibulayimu jjajjaffe teyaweebwa butuukirivu lwa bikolwa, kubanga yawaayo Isaaka omwana we ku kyoto?
22 Olaba ng'okukkiriza kwakolera wamu n'ebikolwa bye, era okukkiriza kwe kwatuukirizibwa olw’ebikolwa bye:
23 ekyawandiikibwa ne kituukirira ekyogera nti Ibulayimu n'akkiriza Katonda, ne kumubalirwa okuba obutuukirivu; n'ayitibwa mukwano gwa Katonda.
24 Mulaba ng'omuntu aweebwa butuukirivu lwa bikolwa, so si lwa kukkiriza kwokka.
25 Era ne Lakabu omwenzi bw'atyo teyaweebwa butuukirivu lwa bikolwa, kubanga yasembeza ababaka, n'abayisa mu kubo eddala?
26 Kuba ng'omubiri awatali mwoyo bwe guba nga gufude, era n'okukkiriza bwe kutyo awatali bikolwa nga kufudde.