1 Peetero

Essuula : 1 2 3 4 5


Essuula 1

1 Peetero, omutume wa Yesu Kristo, eri abalonde abaasaasaana abatambuze ab'omu Ponto, Ggalatiya, Kapadokiya, Asiya ne Bisuniya,
2 nga bwe yasooka okutegeera Katonda Kitaffe, mu kutukuza kw'Omwoyo, olw'okugonda n'okumansirwako omusaayi gwa Yesu Kristo: ekisa n'emirembe byeyongerenga gye muli.
3 Yeebazibwe Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, eyatuzaala omulundi ogw'okubiri, ng'okusaasira kwe okungi bwe kuli, tubeerenga n'essuubi eddamu, olw'okuzuukira kwa Yesu Kristo mu bafu,
4 tuyingire mu busika obutaggwaawo, obutalina kko, obutawotoka, obwabaterekerwa mmwe mu ggulu,
5 amaanyi ga Katonda be gakuuma olw'okukkiriza okufuna obulokozi obweteeseteese okubikkulibwa mu biro eby'enkomerero.
6 Obwo bwe mujagulizaamu, newakubadde nga mwanakuwazibwa mu kukemebwa okutali kumu akaseera akatono kaakano, oba nga kibagwanira,
7 okugezebwa kw'okukkiriza kwammwe okusinga omuwendo ezaabu eggwaawo, newakubadde ng'egezebwa mu muliro, kulyoke kulabike okuleeta ettendo n'ekitiibwa n'okugulumizibwa Yesu Kristo bw'alibikkulibwa:
8 gwe mwagala nga temunnaba kumulaba: gwe mutalaba kaakano naye mumukkiriza, ne mujaguza essanyu eritayogerekeka, eririna ekitiibwa:
9 nga muweebwa ekyabakkirizisa, bwe bulokozi bw'obulamu.
10 Eby'obulokozi obwo bannabbi abaalagulanga eby'ekisa ekyali kigenda okujja gye muli baanoonyanga nnyo ne bakenneenyanga:
11 nga banoonya ebiro bwe biri oba bwe bifaanana Omwoyo wa Kristo eyali mu bo bye yalaga, ng'asooka okutegeeza ebibonoobono bya Kristo, n'ekitiibwa ekibigoberera.
12 Nabo babikkulirwa nga si ku lwabwe bokka wabula ku lwammwe baaweereza ebyo bye mwakajja mubuulirwe kaakano abo abaababuulira enjiri mu Mwoyo Omutukuvu eyatumibwa okuva mu ggulu; bamalayika bye beegomba okulingiza.
13 Kale musibenga ebimyu by'amagezi gammwe, mutamiirukukenga, musuubirirenga ddala ekisa ekiribaleeterwa Yesu Kristo bw'alibikkulibwa;
14 ng'abaana abagonda, nga temwefaananya okwegomba okw'edda okw'omu butamanya bwammwe:
15 naye ng'oyo eyabayita bw'ali omutukuvu era nammwe mubeerenga batukuvu mu mpisa zonna;
16 kubanga kyawandiikibwa nti Munaabanga batukuvu; kubanga nze ndi mutukuvu.
17 Era bwe mumuyitanga Kitammwe, asala omusango awatali kusaliriza ng'omulimu gwa buli muntu bwe guli, mutambulenga n'entiisa mu biro byammwe eby'okuba abayise:
18 nga mumanyi nga temwanunulibwa na bintu ebiggwaawo, ffeeza oba zaabu, mu mpisa zammwe ezitaliimu ze mwaweebwa bajjajjammwe;
19 wabula n'omusaayi ogw'omuwendo omungi, ng'ogw'omwana gw'endiga ogutaliiko bulema newakubadde ebbala, ye Kristo:
20 eyategeerebwa edda ensi nga tezinnatondebwa, naye n'alabisibwa ku nkomerero y'ebiro ku lwammwe,
21 abakkiriza ku bubwe Katonda eyamuzuukiza mu bafu n'amuwa ekitiibwa; okukkiriza kwammwe n'okusuubira biryoke bibeerenga mu Katonda.
22 Kubanga mumaze okwetukuza obulamu bwammwe mu kugondera amazima olw'okwagalanga ab'oluganda okutaliimu bunnanfuusi, mwagalanenga mu mutima n'okufuba okungi:
23 bwe mwazaalibwa omulundi ogw'okubiri, si na nsigo eggwaawo, wabula eteggwaawo, n'ekigambo kya Katonda ekiramu eky'olubeerera.
24 Kubanga Omubiri gwonna guli ng'omuddo, N'ekitiibwa kyagwo kyonna kiri ng'ekimuli ky'omuddo. Omuddo guwotoka ekimuli ne kigwa:
25 Naye ekigambo kya Mukama kibeerera emirembe n'emirembe. Era ekyo kye kigambo eky'enjiri eky'abajulirwa.