Abafiripi

Essuula : 1 2 3 4


Essuula 4

1 Kale, baganda bange abaagalwa be nnumirwa omwoyo, essanyu lyange era engule yange, muyimirirenga bwe mutyo okunywerera mu Mukama waffe, abaagalwa.
2 Mbuulirira Ewodiya, era mbuulirira Suntuke, balowoozenga bumu mu Mukama waffe.
3 Nate era naawe, muddu munnange ddala ddala, nkwegayiridde obeerenga abakazi abo, kubanga baakolanga emirimu wamu nange mu njiri, era ne Kulementi, n’abalala bakozi bannange, amannya gaabwe gali mu kitabo ky'obulamu.
4 Musanyukirenga Mukama waffe ennaku zonna: nate njogera nti Musanyukenga.
5 Okuzibiikiriza kwammwe kumanyibwenga abantu bonna. Mukama waffe ali kumpi.
6 Temweraliikiriranga kigambo kyonna kyonna; naye mu kigambo kyonna mu kusabanga n'okwegayiriranga awamu n'okwebazanga bye mwagala bitegeezebwenga eri Katonda.
7 N'emirembe gya Katonda, egisinga okutegeerwa kwonna, ginaabakuumanga emitima gyammwe n'ebirowoozo byammwe mu Kristo Yesu.
8 Ebisigaddeyo, ab'oluganda, eby'amazima byonna, ebisaanira ekitiibwa byonna, eby'obutuukirivu byonna, ebirongoofu byonna, ebyagalibwa byonna, ebisiimibwa byonna; oba nga waliwo obulungi, era oba nga waliwo ettendo, ebyo mubirowoozenga.
9 Bye mwayiga era ne muweebwa ne muwulira ne mulaba gye ndi, ebyo mubikolenga: ne Katonda ow'emirembe anaabeeranga nammwe.
10 Naye nsanyukidde nnyo Mukama waffe kubanga kaakano kye mujje musibuke okulowooza ebyange; naye ekyo okulowooza mwakirowoozanga, naye temwalina bbanga.
11 Si kubanga njogera olw'okwetaaga: kubanga nnayiga, embeera gye mbaamu yonna, obutabaako kye nneetaaga.
12 Mmanyi okwetoowaza, era mmanyi bwe kiba okuba n'ebintu ebingi: mu buli kigambo ne mu bigambo byonna nnayiga ekyama ekiri mu kukkuta ne mu kulumwa enjala, okuba n'ebingi era n'okuba mu bwetaavu.
13 Nnyinzizza byonna mu oyo ampa amaanyi.
14 Naye mwakola bulungi okussa ekimu n'ebibonoobono byange.
15 Era mmwe, Abafiripi, mumanyi nga mu kusooka kw'enjiri, bwe nnava mu Makedoni, nga siwali kkanisa eyassa ekimu nange mu kigambo eky'okugaba n'okuweebwa, wabula mmwe mwekka;
16 kubanga era ne mu Ssessaloniika mwaweereza omulundi gumu, era n'ogw'okubiri, olw'okwetaaga kwange.
17 Si kubanga nnoonya kirabo; naye nnoonya bibala ebyeyongera ku muwendo gwammwe.
18 Naye nnina ebintu byonna, ne nsukkirira: nzikuse, bwe nnamala okuweebwa Epafulodito ebyava gye muli, evvumbe eriwunya obulungi, ssaddaaka ekkirizibwa, esiimibwa Katonda.
19 Era Katonda wange anaatuukirizanga buli kye mwetaaga, ng'obugagga bwe bwe buli mu kitiibwa mu Kristo Yesu.
20 Era Katonda era Kitaffe aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina.
21 Mulamuse buli mutukuvu mu Kristo Yesu. Ab'oluganda abali nange babalamusizza.
22 Abatukuvu bonna babalamusizza, naye okusinga ab'omu nnyumba ya Kayisaali.
23 Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga n'omwoyo gwammwe.