Abafiripi

Essuula : 1 2 3 4


Essuula 3

1 Ebisigaddeyo, baganda bange, musanyukirenga Mukama waffe. Okubawandiikira ebimu tekunkonya nze, naye kuleeta mirembe gye muli.
2 Mwekuumenga embwa, mwekuumenga abakozi ababi, mwekuumenga abeesala:
3 kubanga ffe tuli abeekomola, abasinza ku bw'Omwoyo gwa Katonda, abeenyumiririza mu Kristo Yesu, era abateesiga mubiri:
4 newakubadde nga nze nnyinza n'okwesiga omubiri: omuntu omulala yenna bw'alowooza okwesiga omubiri, nze mmusinga:
5 nze eyakomolerwa ku lunaku olw'omunaana, ow'omu ggwanga lya Isiraeri, ow'omu kika kya Benyamini, Omwebbulaniya wawu; mu mateeka Mufalisaayo;
6 mu kunyiikira, nga njigganya ekkanisa; mu butuukirivu obuli mu mateeka, nnalabikanga nga ssiriiko kya kunenyezebwa.
7 Naye byonna ebyali amagoba gye ndi, ebyo nnabirowooza nga kufiirwa olwa Kristo.
8 Naye era n'ebintu byonna nnabirowooza nga kufiirwa olw'obulungi obungi obw'okutegeera Kristo Yesu Mukama wange: ku bw'oyo nnafiirwa ebintu byonna, era mbirowooza okubeera mpitambi, ndyoke nfune amagoba ye Kristo,
9 era ndyoke ndabikire mu ye, nga ssirina buruukirivu bwange obuva mu mateeka, wabula obutuukirivu obuliwo olw'okukkiriza Kristo, obuva eri Katonda mu kukkiriza:
10 ndyoke mmutegeere ye n'obuyinza obw'okuzuukira kwe n'okussa ekimu okw'ebibonoobono bye, nga mmufaanana ne mu kufa kwe;
11 bwe ndiyinza mu byonna byonna okutuuka ku kuzuukira kwe okuva mu bafu.
12 Si kugamba nti mmaze okuweebwa oba nti mmaze okutuukirizibwa: naye ngoberera era ndyoke nkikwate ekyo kye yankwatira Kristo Yesu.
13 Ab'oluganda, sseerowooza nze nga mmaze okukwata: naye kimu kye nkola, nga nneerabira ebyo ebiri ennyuma, era nga nkununkiriza ebyo ebiri mu maaso,
14 nduubirira okutuuka awawakanirwa awali empeera ey'okuyita kwa Katonda okwa waggulu mu Kristo Yesu.
15 Kale ffe fenna abaatuukirira, tulowoozenga ekyo: era bwe mulowooza ebirala mu kigambo kyonna, era Katonda alibabikkulira n’ekyo:
16 naye kyokka, kye tutuuseeko, tutambulirenga mu ekyo.
17 Ab'oluganda, mukkiriziganye wamu mungobererenga, era mulabirenga ku abo abatambula nga bwe mulina ffe okuba ekyokulabirako.
18 Kubanga bangi abatambula be nnababuulirako emirundi emingi, ne kaakano mbabuulira nga nkaaba amaziga, nga be balabe ab'omusalaba gwa Kristo:
19 enkomerero yaabwe kwe kuzikirira, katonda waabwe lwe lubuto, era ekitiibwa kyabwe kiri mu nsonyi zaabwe, balowooza bya mu nsi.
20 Kubanga ffe ewaffe mu ggulu; era gye tulindiririra Omulokozi okuvaayo, Mukama waffe Yesu Kristo:
21 aliwaanyisa omubiri ogw'okutoowazibwa kwaffe okufaananyizibwa ng'omubiri ogw'ekitiibwa kye, ng'okukola okwo bwe kuli okumuyinzisa n'okussa ebintu byonna wansi we.