Essuula 1
1 Pawulo omutume wa Kristo Yesu olw'okwagala kwa Katonda, ne Timoseewo ow'oluganda,
2 era abatukuvu, ab'oluganda abeesigwa mu Kristo ab'omu Kkolosaayi: ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe.
3 Twebaza Katonda Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, nga tubasabira ennaku zonna,
4 bwe twawulira okukkiriza kwammwe mu Kristo Yesu, n'okwagala kwe mulina eri abatukuvu bonna,
5 olw'essuubi eryaterekerwa mu ggulu, lye mwawulira edda mu kigambo eky'amazima ag'enjiri,
6 eyajja gye muli; era nga bw'eri mu nsi zonna, ng'ebala ebibala era ng'ekula, era nga ne mu mmwe, okuva ku lunaku bwe mwawulira ne mutegeera ekisa kya
7 Katonda mu mazima; nga bwe mwayigirizibwa Epafula muddu mu nnaffe omwagalwa, ye muweereza omwesigwa owa Kristo ku lwaffe,
8 era eyatubuulira okwagala kwammwe mu Mwoyo.
9 Naffe kyetuva tetulekaayo, okuva ku lunaku bwe twawulira, okubasabira n'okubeegayirira mulyoke mujjuzibwe okutegeeranga by'ayagala mu magezi gonna n'okutegeera eby'Omwoyo,
10 okutambulanga nga bwe kisaanira Mukama waffe olw'okusiimibwa kwonna, nga mubalanga ebibala mu buli kikolwa ekirungi, era nga mukuliranga mu kutegeera Katonda;
11 nga muyinzisibwanga n'obuyinza bwonna, ng'amaanyi ag'ekitiibwa kye bwe gali, olw'okugumiikiriza kwonna n'okuzibiikiriza awamu n'okusanyuka;
12 nga mwebaza Kitaffe, eyatusaanyiza ffe omugabo ogw'obusika obw'abatukuvu mu musana,
13 eyatulokola mu buyinza obw'ekizikiza, n'atutwala mu bwakabaka obw'Omwana we omwagalwa;
14 mwe tubeerera n'okununulwa, kwe kusonyiyibwa kw'ebibi byaffe:
15 oyo kye kifaananyi kya Katonda atalabika, omubereberye ow'ebitonde byonna;
16 kubanga mu oyo ebintu byonna mwe byatonderwa, mu ggulu ne ku nsi, ebirabika n'ebitalabika, oba nga ntebe za bwakabaka, oba bwami, oba kufuga, oba masaza; ebintu byonna byatondebwa ye, era ne ku lulwe;
17 naye ye w'olubereberye mu byonna, era ebintu byonna bibeerawo mu ye.
18 Era oyo gwe mutwe gw'omubiri, ye kkanisa: oyo lwe lubereberye, emubereberye ow'omu bafu; ye alyoke abeerenga ow'olubereberye mu byonna.
19 Kubanga Kitaffe yasiima okutuukirira kwonna okubeeranga mu ye;
20 n'okutabaganyisa ebintu byonna eri ye yennyini mu ye, bwe yamala okuleeta emirembe olw'omusaayi gw'omusalaba gwe; mu ye okutabaganyisa oba eby'oku nsi oba eby'omu ggulu.
21 Nammwe, bwe mwali edda bannaggwanga era abalabe mu kulowooza kwammwe mu bikolwa ebibi, naye kaakano yabatabaganyisa
22 mu mubiri ogw'ennyama ye olw'okufa, okubanjula abatukuvu, abataliiko mabala abatanenyezebwa mu maaso ge:
23 bwe mubeera obubeezi mu kukkiriza, nga munywedde, nga temusagaasagana, so nga temuvudde mu ssuubi ly'enjiri gye mwawulira, eyabuulirwa mu bitonde byonna ebiri wansi w'eggulu; nze Pawulo gye nnafuukira omuweereza waayo.
24 Kaakano nsanyuse mu bibonoobono byange ku lwammwe, era ntuukiriza ebibulako mu kulaba ennaku kwa Kristo mu mubiri gwange olw'omubiri gwe, ye kkanisa;
25 nze gye nnafuukira omuweereza waayo, ng'obuwanika bwa Katonda bwe buli bwe nnaweebwa gye muli, okutuukiriza ekigambo kya Katonda,
26 ekyama ekyakwekebwa okuva edda n'edda n'emirembe n'emirembe: naye kaakano kyolesebbwa eri abatukuvu be,
27 Katonda be yayagala okutegeeza obugagga obw'ekitiibwa eky'ekyama kino bwe buli mu b'amawanga, ekyo ye Kristo mu mmwe, essuubi ery'ekitiibwa:
28 gwe tubuulira ffe, nga tulabula buli muntu, era nga tuyigiriza buli muntu mu magezi gonna, tulyoke twanjule buli muntu ng'atuukiridde mu Kristo;
29 n'okufuba kye nfubira era, nga mpakana ng'okukola kwe bwe kuli, okukolera mu nze n'amaanyi.