Abafiripi

Essuula : 1 2 3 4


Essuula 1

1 Pawulo ne Timoseewo, abaddu ba Kristo Yesu, eri abatukuvu bonna mu Kristo Yesu abali mu Firipi, wamu n'abalabirizi n'abaweereza:
2 ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo.
3 Nneebaza Katonda wange buli lwe mbajjukira,
4 ennaku zonna buli lwe mbasabira mwenna nsaba n'essanyu,
5 olw'okussa ekimu kwammwe okw'okubunya enjiri okuva ku lunaku olw'olubereberye okutuusa kaakano;
6 nga ntegeeredde ddala kino ng'oyo eyatandika omulimu omulungi mu mmwe aligutuukiriza okutuusa ku lunaku lwa Yesu Kristo:
7 nga bwe kiri ekirungi nze okulowoozanga ekyo gye muli mwenna, kubanga ndi nammwe mu mutima gwange, bwe mussa ekimu mwenna awamu nange mu kisa, mu kusibibwa kwange era ne mu kuwolerezanga enjiri n'okuginywezanga.
8 Kubanga Katonda ye mujulirwa wange, bwe mbalumirwa omwoyo mwenna mu kusaasira kwa Kristo Yesu.
9 Era kino kye nsaba okwagala kwammwe kweyongereyongerenga kusukkirirenga mu kutegeera n'okwawula kwonna:
10 mulyoke musiimenga ebisinga obulungi; mubeerenga abatalina bukuusa era abatalina kabi okutuusa ku lunaku lwa Kristo;
11 nga mujjudde ebibala eby'obutuukirivu, ebiriwo ku bwa Yesu Kristo, Katonda aweebwe ekitiibwa, atenderezebwe.
12 Naye njagala mmwe okutegeera, ab'oluganda, ng'ebyambaako byajja lwa kubunya bubunya enjiri;
13 n'okusibibwa kwange ne kulyoka kulabika mu Kristo eri basserikale bonna aba kabaka, n'abalala bonna;
14 n'ab'oluganda abasinga obungi mu Mukama waffe ne balyoka baguma olw'okusibwa kwange ne beeyongeranga nnyo okwaŋŋanga okubuuliranga ekigambo kya Katonda nga tebatya.
15 Abalala babuulira Kristo lwa buggya n'okuyomba; era n'abalala bamubuulira lwa kisa:
16 bano babuulira lwa kwagala, nga bamanyi nga nnateekebwawo lwa kuwolerezanga enjiri:
17 naye bali babuulira Kristo olw'okuyomba, si mu mazima, nga balowooza okundeetera ennaku mu kusibibwa kwange.
18 Naye n'ekyo nsonga? wabula nga mu ngeri zonna, oba mu bukuusa oba mu mazima, Kristo abuulirwa; n'ekyo nkisanyukidde, weewaawo era ndisanyuka.
19 Kubanga mmanyi ng'ekyo kirinviiramu obulokozi olw'okusaba kwammwe n'okuweebwa Omwoyo wa Yesu Kristo,
20 nga bwe ntunuulira ennyo ne nsuubira nga ssirikwatibwa nsonyi mu kigambo kyonna, wabula nga Kristo, ennaku zonna, era ne kaakano anaagulumizibwanga mu mubiri gwange mu buvumu bwonna, oba mu bulamu oba mu kufa.
21 Kubanga gye ndi okuba omulamu ye Kristo, n'okufa ge magoba.
22 Naye oba ng'okuba omulamu mu mubiri, okwo nga kye kibala eky'omulimu gwange, kale ssimanyi kye nneeroboza.
23 Naye nziyizibwa enjuyi zombiriri, nga nneegomba okugenda okubeera ne Kristo; kubanga kwe kusinga ennyo nnyini:
24 naye okubeera mu mubiri kwe kusinga okwetaagibwa ku lwammwe.
25 Era, kubanga ntegeeredde ddala bwe ntyo, mmanyi nga ndibeera, era ndibeera wamu nammwe mwenna, olw'okuyitirira kwammwe n'okusanyuka olw'okukkiriza:
26 okwenyumiriza kwammwe kulyoke kusukkirire mu Kristo Yesu ku bwange, nze olw'okujja gye muli nate.
27 Naye kyokka okutambula kwammwe kubeerenga nga bwe kigwanira enjiri ya Kristo: bwe ndijja okubalabako oba nga ssiriiwo, ndyoke mpulire ebifa gye muli, nga munywedde mu mwoyo gumu, nga mulwaniriranga okukkiriza okw'enjiri n’emmeeme emu;
28 so nga temukangibwa balabe mu kigambo kyonna: ke kabonero ddala gye bali ak'okuzikirira, naye eri mmwe ka bulokozi, era obuva eri Katonda;
29 kubanga mwaweebwa ku lwa Kristo si kumukkiriza kwokka, era naye n'okubonaabonanga ku lulwe:
30 nga mulina okulwana kuli kwe mwalaba gye ndi, era kwe muwulira kaakano okuli gye ndi.