Essuula 6
1 Abaana abato, muwulirenga abazadde bammwe mu Mukama waffe: kubanga kino kye kirungi.
2 Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko (lye tteeka ery'olubereberye eririmu okusuubiza),
3 olyoke obeerenga bulungi, era owangaalenga ennaku nnyingi ku nsi.
4 Nammwe, bakitaabwe, temusunguwazanga baana bammwe: naye mubalerenga mu kukangavvulanga ne mu kubuuliriranga kwa Mukama waffe.
5 Abaddu, muwulirenga bakama bammwe ab'omubiri nga mulina okutya n'okukankana, omutima gwammwe nga teguliimu bukuusa, nga Kristo;
6 si nga mu kuweereza okw'okungulu, ng'abaagala okusiimibwanga abantu; naye ng'abaddu ba Kristo, nga mukolanga n'omwoyo, Katonda by'ayagala,
7 nga muweerezanga n'okwagala nga Mukama waffe so si bantu:
8 nga mumanyil nti buli muntu ekirungi ky'akola, ky'aliweebwa nate eri Mukama waffe, oba muddu oba wa ddembe.
9 Nammwe, bakama baabwe, mubakolenga bwe mutyo, nga mulekanga okutiisa: nga mumanyi nga Mukama waabwe era owammwe ali mu ggulu, so tewali kusosola mu bantu gy'ali.
10 Eky'enkomerero, mubenga n'amaanyi mu Mukama waffe ne mu buyinza obw'amaanyi ge.
11 Mwambalenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke muyinzenga okuyimirira eri enkwe za Setaani.
12 Kubanga tetumeggana na musaayi na mubiri, wabula n'abaamasaza, n'ab'obuyinza, n'abafuga ensi ab'omu kizikiza kino, n'emyoyo egy'obubi mu bifo ebya waggulu.
13 Kale mutwalenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke muyinzenga okuguma ku lunaku olubi, era bwe mulimala okukola byonna, musobole okuyimirira.
14 Kale muyimirirenga, nga mwesibye mu kiwato kyammwe amazima, era nga mwambadde eky'omu kifuba obutuukirivu,
15 era nga munaanise mu bigere okweteekateeka okw'enjiri ey'emirembe;
16 era ku ebyo byonna nga mukwatiddeko engabo ey'okukkiriza, eneebayinzisanga okuzikiza obusaale bwonna obw'omuliro obw'omubi.
17 Muweebwe ne sseppewo ey'obulokovu, n'ekitala eky'Omwoyo, kye kigambo kya Katonda:
18 nga musabanga buli kiseera mu Mwoyo n'okusaba n’okwegayiriranga kwonna mu kunyiikiranga kwonna n’okwegayiririranga abatukuvu bonna,
19 era nange ndyoke mpeebwe okwogeranga okwasamyanga akamwa kange, okutegeezanga n'obuvumu ekyama eky'enjiri,
20 gye mbeerera omubaka waayo mu lujegere; njogerenga n'obuvumu mu yo, nga bwe kiŋŋwanira okwogeranga.
21 Naye nammwe mulyoke mutegeere ebifa gye ndi bwe biri, Tukiko, ow'oluganda omwagalwa era omuweereza omwesigwa mu Mukama waffe alibategeeza byonna:
22 gwe mbatumidde olw'ensonga eno, mulyoke mutegeere ebifa gye tuli, era abasanyuse emitima gyammwe.
23 Emirembe gibenga eri ab'oluganda, n'okwagala awamu n'okukkiriza ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo.
24 Ekisa kibeerenga n'abo bonna abaagala Mukama waffe Yesu Kristo mu butamala.