Abaefeeso

Essuula : 1 2 3 4 5 6


Essuula 4

1 Kyenva mbeegayirira nze omusibe mu Mukama waffe okutambulanga nga bwe kusaanira okuyitibwa kwe mwayitibwa,
2 n'obukkakkamu bwonna n'obuwombeefu, n'okugumiikiriza, nga muzibiikirizagananga mu kwagalana,
3 nga munyiikiranga okwekuuma obumu bw'Omwoyo mu kusibibwa n'emirembe.
4 Omubiri guli gumu, n'Omwoyo omu, era nga nammwe bwe mwayitibwa mu kusuubira okumu okw'okuyitibwa kwammwe;
5 Mukama waffe omu, okukkiriza kumu, okubatiza kumu,
6 Katonda omu, Kitaawe wa bonna, afuga byonna, ayita mu byonna, era ali mu byonna.
7 Naye buli muntu mu ffe yaweebwa ekisa ng'ekigera ky'ekirabo kya Kristo bwe kiri.
8 Kyava ayogera nti Bwe yalinnya waggulu, n'anyaga okunyaga, N'awa abantu ebirabo.
9 (Naye ekigambo ekyo nti Yalinnya, kigamba ki wabula okugamba nti era yakka mu njuyi eza wansi ez'ensi?
10 Eyakka era ye wuuyo eyalinnya waggulu ennyo okusinga eggulu lyonna, alyoke atuukirize byonna.)
11 Era oyo n'awa abalala okubeera abatume, n'abalala bannabbi, n'abalala ababuulizi, n'abalala abalunda n'abayigiriza;
12 olw'okutuukiriza abatukuvu, olw'omulimu ogw'okuweereza, olw'okuzimba omubiri gwa Kristo:
13 okutuusa lwe tulituuka fenna mu bumu obw'okukkiriza, n'obw'okutegeera Omwana wa Katonda, lwe tulituuka okuba omuntu omukulu okutuuka mu kigera eky'obukulu obw'okutuukirira kwa Kristo:
14 tulemenga okubeera nate abaana abato, nga tuyuugana nga tutwalibwanga buli mpewo ey'okuyigiriza, mu bukuusa bw'abantu, mu nkwe, olw'okugoberera okuteesa okw'obulimba;
15 naye, bwe twogeranga amazima mu kwagalana, tulyoke tukule okutuuka mu ye mu byonna, gwe mutwe, Kristo;
16 mu oyo omubiri gwonna bwe gugattibwa obulungi ne gunywezebwa awamu buli nnyingo ng'ereeta ebyayo, ng'okukola mu kigera okwa buli kitundu bwe kuli, omubiri gweyongera okukula olw'okwezimba mu kwagalana.
17 Kyenva njogera kino ne ntegeeza mu Mukama waffe, mmwe mulemenga okutambula nate, era ng'ab'amawanga bwe batambula mu birowoozo byabwe ebitaliimu,
18 nga bazikizibwa amagezi gaabwe, nga baawulibwa ku bulamu bwa Katonda olw'obutategeera obuli mu bo, olw'okukakanyala okw'omutima gwabwe;
19 kubanga beerabira okulumwa, ne beewaayo mu bwenzi, okukolanga eby'obugwagwa bwonna mu kwegomba.
20 Naye mmwe temwayiga bwe mutyo Kristo;
21 oba nga mwamuwulira, ne muyigirizibwa mu ye ng'amazima bwe gali mu Yesu:
22 mu bigambo by'empisa ez'olubereberye, mmwe okwambula omuntu ow'edda, avunda olw'okwegomba okw'obulimba;
23 era okufuuka abaggya mu mwoyo ogw'ebirowoozo byammwe,
24 okwambala omuntu omuggya, eyatondebwa mu kifaananyi kya Katonda mu butuukirivu ne mu butukuvu obw'amazima.
25 Kale mwambule obulimba, mwogerenga amazima buli muntu ne munne: kubanga tuli bitundu bya bannaffe fekka na fekka.
26 Musunguwalenga so temwonoonanga: enjuba eremenga okugwa ku busungu bwammwe:
27 so temuwanga bbanga Setaani.
28 Eyabbanga alemenga okubba nate: naye waakiri afubenga, ng'akola ebirungi n'emikono gye, alyoke abeerenga n'eky'okumuwa eyeetaaga.
29 Buli kigambo ekivundu kireme okuvanga mu kamwa kammwe, naye ekirungi bwe kinaabangawo olw'okuzimba nga omuntu bwe yeetaaga, abawulira kibawenga ekisa.
30 So temunakuwazanga Mwoyo Mutukuvu owa Katonda, eyabateesaako akabonero okutuusa olunaku olw'okununulibwa.
31 Okukaawa kwonna n'obusungu n'obukambwe n'okukaayana n'okuvuma bibavengako, awamu n'ettima lyonna:
32 era mubeerenga n'obulungi mwekka na mwekka, abakwatibwa ekisa, nga musonyiwagananga, era nga Katonda bwe yabasonyiwa mu Kristo.