Essuula 1
1 Pawulo, omutume wa Kristo Yesu olw'okwagala kwa Katonda eri abatukuvu abali mu Efeso n'abakkiriza mu Kristo Yesu:
2 ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo.
3 Yeebazibwe Katonda Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, eyatuwa buli mukisa gwonna ogw'Omwoyo mu bifo eby'omu ggulu mu Kristo:
4 nga bwe yatulondera mu ye ng'ensi tennaba kutondebwa, ffe okubeera abatukuvu abatalina kabi mu maaso ge mu kwagala:
5 bwe yatwawula edda okumufuukira abaana ku bwa Yesu Kristo, nga bwe yasiima olw'okwagala kwe,
6 ekitiibwa ky'ekisa kye kiryoke kitenderezebwenga, kye yatuwa obuwa mu oyo omwagalwa:
7 eyatuweesa akununulibwa kwaffe olw'omusaayi gwe, okusonyiyibwa ebyonoono byaffe, ng'obugagga obw'ekisa kye bwe buli,
8 kye yasukkiriza gye tuli mu magezi gonna n'okutegeera kwonna,
9 bwe yatutegeeza ekyama eky'okwagala kwe, nga bwe yasiima yekka, nga bwe yamalirira edda mu ye,
10 olw'obuwanika obw'omu biro ebituukirivu, okugattira awamu byonna mu Kristo, ebiri mu ggulu n'ebiri ku nsi;
11 mu oyo naffe mwe twafuukira obusika bwe twayawulibwa edda mu kumalirira kw'oyo akoza byonna nga bw'ayagala mu kuteesa kwe;
12 ffe tulyoke tubeere ettendo ly'ekitiibwa kye, ffe abaasooka okusuubira mu Kristo:
13 era nammwe mu ye, bwe mwawulira ekigambo eky'amazima, enjiri ey'obulokozi bwammwe, mu oyo, n'okukkiriza bwe mwakkiriza, ne muteekebwako akabonero n'Omwoyo Omutukuvu eyasuubizibwa,
14 gwe musingo gw'obusika bwaffe, okutuusa envuma ya Katonda lw'erinunulibwa, ekitiibwa kye kitenderezebwe.
15 Bwe nnawulira okukkiriza Mukama waffe Yesu okuli mu mmwe, era kwe mulaga eri abatukuvu bonna,
16 kyenva sirekangayo kwebaza, nga mboogerako mu kusaba kwange;
17 Katonda wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe ow'ekitiibwa, abawe omwoyo ogw'amagezi n'ogw'okubikkulirwa mu kumutegeera ye;
18 nga mumulisibwanga amaaso ag'omutima gwammwe, mmwe okumanya essuubi ery'okuyita kwe bwe liri, obugagga obw'ekitiibwa eky'obusika bwe mu batukuvu bwe buli,
19 era obukulu obusinga ennyo obw'amaanyi ge eri ffe abakkiriza bwe buli, ng'obuyinza bw'amaanyi ge bwe bukola,
20 ge yakoza mu Kristo, bwe yamuzuukiza mu bafu, n'amutuuza ku mukono gwe ogwa ddyo mu bifo eby'omu ggulu,
21 waggulu nnyo okusinga okufuga kwonna n'obuyinza n'amaanyi n'obwami na buli linnya eryatulwa si mu mirembe gino gyokka naye ne mu egyo egigenda okujja:
22 n'ateeka byonna wansi w'ebigere bye, n'amuteekawo okuba omutwe ku byonna eri ekkanisa,
23 gwe mubiri gwe, okutuukirira ku oyo atuukiriza byonna mu byonna.