Oluyimba lwa Sulemaani

Essuula: 1 2 3 4 5 6 7 8


Chapter 1

1 Oluyimba olusinga ennyimba, lwe lwa Sulemaani
2 Annywegere n'okunywegera kw'akamwa ke: Kubanga okwagala kwo kusinga omwenge obulungi.
3 Amafuta go gawunya akaloosa; Erinnya lyo liringanga amafuta agafukibwa; Abawala abatamanyi musajja kyebava bakwagala.
4 Mpalula tunaakugoberera mbiro: Kabaka annyingizizza mu bisenge bye: Tunaakusanyukira ne tujaguza, Okwagala kwo tunaakwogerako okusinga omwenge: Bakwagala lwa nsonga.
5 Ndi muddugavu, naye mulungi, Mmwe abawala ba Yerusaalemi, Ng'eweema ez'e Kedali. Ng'amagigi ga Sulemaani.
6 Temuntunuulira kubanga ndi muddugavu. Kubanga omusana gunjokezza. Abaana ba mmange bansuguwalira, Banfuula omukuumi w'ensuku ez'emizabbibu; Naye olusuku lwange nze saalukuuma.
7 Mbuulira, ggwe emmeeme yange gw'eyagala, Gy'oliisiza ekisibo kyo, gy'okigalamiriza mu ttuntu; Kubanga nandibeeredde ki ng'ayambadde ekibikka ku maaso Awali ebisibo bya banno?
8 Oba nga tomanyi, ggwe asinga abakazi bonna obulungi, Fuluma okwate ekkubo ogoberere ebigere by'endiga zo, Oliisize abaana b'embuzi zo awali eweema ez'abasumba.
9 Nkufaananyizza, ai muganzi wange, Embalaasi eri ku magaali ga Falaawo.
10 Amatama go malungi n'emivumbo emirange, Ensingo yo nnungi n'embu ez'eby'obuyonjo.
11 Tunaakukolera emivumbo egya zaabu N'amapeesa aga ffeeza.
12 Kabaka bwe yali ng'atudde ku mmeeza ye, Amafuta gange ag'omugavu ne gawunya akaloosa kaago.
13 Muganzi wange ali gye ndi ng'omuvumbo gwa mooli, Oguteekebwa wakati w'amabeere gange.
14 Muganzi wange ali gye ndi ng'ekisaaganda ky'ebimuli ebya kofera Mu nsuku ez'emizabbibu ez'e Engedi.
15 Laba, oli mulungi, gwe njagala; laba, oli mulungi; Amaaso go mayiba.
16 Laba, oli mulungi, muganzi wange, weewaawo, wa kusanyusa: Era ekitanda kyaffe kya malagala mato.
17 Emikiikiro gy'ennyumba yaffe mivule, N'enzooba zaffe nkanaga: