Chapter 2
1 Nze ndi kimyula kya Saloni, Eddanga ery'omu biwonvu.
2 Ng'eddanga mu maggwa, Gwe njagala bw'ali bw'atyo mu bawala.
3 Ng'omucungwa mu miti egy'omu kibira, Muganzi wange bw'ali bw'atyo mu balenzi. Natuula wansi w'ekisiikirize kye n'essanyu lingi, Ebibala bye ne biwoomera amatama gange.
4 Yannyingiza mu nju ey'okuliiramu embaga, Ne bendera ye eyali ku nze kwagala:
5 Munkwatirire n'ezabbibu enkalu, munsanyuse n'amacungwa; Kubanga okwagala kundwazizza.
6 Omukono gwe ogwa kkono guli wansi w'omutwe gwange, N'omukono gwe ogwa ddyo gunkutte.
7 Mbalayiza, mmwe abawala ba Yerusaalemi, Olw'empeewo n'enjaza ez'omu ttale, Muleme okugolokosa newakubadde okuzuukusa okwagala, Okutuusa we kunaayagalira.
8 Eddoboozi lya muganzi wange! laba, ajja, Ng'abuukirabuukira ku nsozi, ng'azinira ku busozi.
9 Muganzi wange ali ng'empeewo oba ennangaazi ento: Laba ayimirira ennyuma w'olukomera lwaffe, Alingiza mu ddirisa, Yeeraga ng'alabikira mu mulimo ogulukibwa ogw'omu kituli.
10 Muganzi wange yayogera n'aŋŋamba Nti Golokoka, gwe njagala, omulungi gye ndi, tugende tuveewo.
11 Kubanga, laba, ttoggo aweddeko Enkuba eyise egenze;
12 Ebimuli birabise ku ttaka; Ebiro bituuse ennyonyi mwe ziyimbira, N'eddoboozi lya kaamukuukulu liwulirwa mu nsi yaffe;
13 Omutiini gwengeza ettiini zaagwo embisi, N'emizabbibu gimulisizza, Giwunya akaloosa kaagyo. Golokoka, gwe njagala, omulungi gye ndi, tugende tuveewo.
14 Ai ejjiba lyange, abeera mu njatika ez'omu jjinja, mu bwekwekero obw'ebbanga, Ndabe amaaso go, mpulire eddoboozi lyo; Kubanga eddoboozi lyo ddungi n'amaaso go ga kusanyusa.
15 Mutukwatire ebibe, ebibe ebito ebyonoona ensuku ez'emizabbibu; Kubanga ensuku zaffe ez'emizabbibu zimulisizza.
16 Muganzi wange wange, nange ndi wuwe: Aliisizza ekisibo kye mu malanga.
17 Okutuusa obudde nga bukedde ebisiikirize ne biddukira ddala, Kyuka, muganzi wange, obe ng'empeewo oba ennangaazi ento Ku nsozi eza Beseri.