Chapter 8
1 Singa obadde nga muganda wange, Eyayonka amabeere ga mmange Bwe nnandikulabye ebweru, nandikunywegedde; Weewaawo, so tewandibaddewo eyandinnyoomye.
2 Nandikulese ne nkuyingiza mu nnyumba ya mmange, Eyandinjigirizza; Nandikunywesezza omwenge ogutabuddwamu eby'akaloosa, Ku mazzi g'ekkomamawanga lyange.
3 Omukono gwe ogwa kkono gwandibadde wansi w'omutwe gw'ange, N'omukono gwe ogwa ddyo gwandimpambaatidde.
4 Mbalayiza, mmwe abawala ba Yerusaalemi, Muleme okugolokosa newakubadde okuzuukusa okwagala, Okutuusa we kunaayagalira.
5 Mukazi ki ono ajja ng'alinnya okuva mu ddungu, Nga yeesigama ku muganzi we? Nakuzukusa wansi w'omucungwa: Eyo nnyoko gye yalumirwa okukuzaala, Eyo gye yalumirwa oyo eyakuzaala.
6 Nteeka ku mutima gwo ng'akabonero, ku mukono gwo ng'akabonero: Kubanga okwagala kwenkana okufa amaanyi; Obuggya bwenkana amagombe obukambwe: Okumyansa kwabwo kumyansa kwa muliro, Okwokya kwennyini okwa Mukama.
7 Amazzi amangi tegayinza kuzikiza kwagala, So n'ebitaba tebiyinza kukutta: Omuntu bw'akkiriza okuwaayo ebintu byonna eby'omu nnyumba ye olw'okwagala, Yandinyoomereddwa ddala.
8 Tulina mwannyinaffe omuto, Era tannaba na mabeere: Tulimukola tutya mwannyinaffe Ku lunaku lwe balimwogererezaako?
9 Oba nga bbugwe, Tulimuzimbako ekigo kya ffeeza, Era oba nga luggi, Tulimubikkako embaawo ez'emivule.
10 Ndi bbugwe, n'amabeere gange gali ng'ebigo byako: Ne ndyoka mbeera mu maaso ge ng'omuntu alabye emirembe.
11 Sulemaani yalina olusuku lw'emizabbibu e Baalukamooni; Yasigira olusuku abalimi; Olw'ebibala byamu buli muntu yasalirwa ebitundu ebya ffeeza lukumi.
12 Olusuku lwange olw'emizabbibu, olwange, luli mu maaso gange; Ggwe, Sulemaani, onoobanga n'olukumi olwo, N'abo abakuuma ebibala byamu bikumi bibiri.
13 Ggwe abeera mu nnimiro, Banno bawuliriza eddoboozi lyo: Limpulize.
14 Yanguwa, muganzi wange, Obeere ng'empeewo oba ennangaazi ento Ku nsozi ez'eby'akaloosa.