Chapter 6
1 Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti
2 Singa okweraliikirira kwange kupimiddwa, N'ennaku zange singa ziteekeddwa mu minzaani wamu!
3 Kubanga kaakano zandisinze obuzito omusenyu ogw'ennyanja: Ebigambo byange kye bivudde bibeera eby'okwanguyiriza.
4 Kubanga obusaale bw'Omuyinza w'ebintu byonna buli munda yange, N'obusagwa bwabwo omwoyo gwange gubunywa: Eby'entiisa ebya Katonda bisimba ennyiriri okulwana nange.
5 Entulege ekaaba bw'eba n'omuddo? Oba ente eŋooŋa awali emmere yaayo?
6 Ekitaliimu nsa kiriika awatali munnyo? Oba olububi lw'eggi luliko bwe luwooma?
7 Emmeeme yange egaana okubikomako; Biriŋŋanga ebyokulya eby'omuzizo gye ndi.
8 Singa nnyinza okuweebwa kye nsaba; Katonda singa ampadde kye nneegomba !
9 Katonda singa asiimye okumbetenta; Singa ayanjuluzza engalo ze n'ammalawo!
10 Kale bwe nnandibadde n'okusanyusibwa nga mmaze Weewaawo, nandijaguzizza olw'okulumwa awatali kusaasirwa: Kubanga sigaananga bigambo bya Mutukuvu.
11 Amaanyi gange kye ki, nnindirire? N'enkomerero yange kye ki, ngumiikirize?
12 Amaanyi gange maanyi ga mayinja? Oba omubiri gwange gwa kikomo?
13 Si kubanga sirina kinnyamba mu nze? N'okukola okw'amaanyi kugobeddwa ddala gye ndi?
14 Ayagala okuzirika agwana mukwano gwe okumukola eby'ekisa; Era n'oyo aleka okutya Omuyinza w'ebintu byonna.
15 Baganda bange balimbyerimbye ng'akagga, Ng'olusalosalo lw'obugga oluggwaawo:
16 Obuddugala olw'amazzi agakutte, Era omuzira mwe gwekweka:
17 Buli lwe bubuguma, ne bubula: Ebbugumu bwe libaawo, bumalibwawo okuva mu kifo kyabwo.
18 Essafaali ezitambula ku mabbali gaabwo ne zikyama; Bambuka mu ddungu ne bazikirira.
19 Essafaali z'e Tema zaatunula, Ebibiina eby'e Seeba byabulindirira.
20 Baakwatibwa ensonyi kubanga baasuubira; Bajja eyo ne baswazibwa.
21 Kubanga kaakano temuliiko kye muli; Mulaba ekitiisa ne mutya.
22 Nali mbagambye nti Mpa? Oba nti Muweeyo ku bintu byammwe ekirabo ku lwange?
23 Oba nti Mumponye mu mukono gw'omulabe? Oba nti Munnunule mu mukono gw'abajoozi?
24 Munjigirize nange naasirika: Era muntegeeze bwe kiri kye nnasobya.
25 Ebigambo eby'obugolokofu nga bya maanyi! Naye okuwakana kwammwe kunenya ki?
26 Mulowooza okunenya ebigambo? Kubanga okwogera kw'oyo atalina ssuubi biriŋŋanga empewo.
27 Weewaawo, mwandikubidde obululu atalina kitaawe, Ne mukwano gwammwe mwandimuviisizzaamu amagoba.
28 Kale nno mukkirize okuntunuulira; Kubanga mazima sijja kulimba mu maaso gammwe.
29 Muddeeyo, mbeegayiridde, waleme okubaawo ebitali bya nsonga; Weewaawo, muddeeyo nate, ensonga yange nnungi.
30 Ku lulimi lwange kuliko ebitali bya nsonga? Amatama gange tegayinza kwawula bigambo ebireeta akabi?