Chapter 3
1 Awo Yobu n'alyoka ayasama akamwa n'akolimira olunaku lwe:
2 Yobu n'addamu n'ayogera nti
3 Olunaku lukolimirwe kwe nnazaalirwa, N'ekiro ekyayogera nti Omwana ow'obulenzi ali mu lubuto.
4 Olunaku olwo lube ekizikiza; Katonda aleme okulutunuulira ng'ayima waggulu, So n'omusana guleme okulwakira.
5 Ekizikiza n'ekisiikirize eky'okufa biruyite olw'abyo; Ekire kirutuuleko: Byonna ebiddugaza obudde birutiise.
6 Ekiro ekyo ekizikiza ekikutte kikinyage: So luleme okusanyukira mu nnaku ez'omu mwaka; Luleme okutuuka mu muwendo gw'emyezi.
7 Laba, ekiro ekyo kibe kigumba; Luleme okujjirwa eddoboozi ery'essanyu.
8 Abo balukolimire abakolimira obudde, Abeeteeseteese okusaggula goonya.
9 Emmunyeenye ez'ekiro kyalwo zibeeko ekizikiza: Lunoonye omusana, naye lugubulwe; So terutunuulira bikowe bya nkya:
10 Kubanga terwaggala nzigi za lubuto lwa mmange. So terwakisa maaso gange obuyinike.
11 Kiki ekyandobera okufa okuva mu lubuto? Kiki ekyandobera okuta obulamu bwe nnava mu byenda?
12 Amaviivi ganzikiririza ki? Oba amabeere, okugayonka?
13 Kubanga kaakano nandigalamidde ne nsirika; Nandyebase; bwe ntyo bwe nnandiwummudde:
14 Wamu ne bassekabaka n'abakungu b'ensi, Abeezimbira mu matongo;
15 Oba wamu n'abalangira abaalina ezaabu, Abajjuzanga ennyumba zaabwe effeeza:
16 Oba ng'omwana omusowole akwekebwa sandibaddewo; Ng'abaana abawere abatalabanga ku musana n'akatono.
17 Eyo ababi bakoma okuteganya; Era eyo abakoowu gye bawummulira.
18 Eyo abasibe gye bessiza awamu; Tebawulira ddoboozi lya mukoza.
19 Omuto n'omukulu bali eyo; N'omuddu aba wa ddembe eri mukama we.
20 Alaba obuyinike aweerwa ki omusana? N'obulamu abuweerwa ki oyo alumiddwa omwoyo;
21 Abeegomba okufa, naye ne kutajja; Ne bakusima okusinga obugagga obukwekeddwa;
22 Abasanyuka ennyo nnyini, Ne bajaguza, bwe bayinza okulaba entaana?
23 Omuntu akwekeddwa ekkubo lye aweerwa ki omusana, Era Katonda gw'akomedde olukomera?
24 Kubanga okusinda kwange kujja nga sinnalya, N'okuwuluguma kwange kufukibwa ng'amazzi.
25 Kubanga kye ntidde kinjijako, N'ekyo kye nkankanira kijja gye ndi.
26 Sessa so sitereera so siwummula; Naye ennaku zijja.