Chapter 23
1 Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti
2 Ne leero okwemulugunya kwange Okukubibwa kwange kusinga okusinda kwange obuzito.
3 Singa mmanyi gye nnyinza okumulabira, Singa nnyinza okutuuka n'awali entebe ye!
4 Nandiriraanyizza ensonga yange mu maaso ge, Ne njijuza akamwa kange ensonga.
5 Nandimanye ebigambo bye yandinzizeemu, Ne ntegeera bye yandiŋŋambye.
6 Yandinnyombesezza olw'obukulu bw'obuyinza bwe? Nedda, naye yandinzisizzaako omwoyo.
7 Eyo ab'amazima bandiyinzizza okuwoza naye; Bwe nnandiwonyezebbwa bwe ntyo ennaku zonna eri omulamuzi wange.
8 Laba, ntambula mu maaso, naye ye nga taliiyo; Ne ntambula ennyuma, naye ne ssiyinza kumulaba:
9 Ku mukono ogwa kkono, bw'akola omulimu, naye ne ssiyinza kumulaba: Yeekweka ku mukono ogwa ddyo n'okulaba ne ssiyinza kumulaba:
10 Naye amanyi ekkubo lye nkwata; Bw'alimala okunkema, ndivaamu nga zaabu.
11 Okugulu kwange kwasimbira ddala mu bigere bye; Ekkubo lye nalikwata ne ssikyama.
12 Siddanga nnyuma okuva mu kiragiro eky'emimwa gye; Natereka ebigambo eby'akamwa ke okusinga emmere yange eŋŋwanira.
13 Naye ye alowooza bumu, era ani ayinza okumukyusa? Era emmeeme ye kye yeegomba ekyo ky'akola.
14 Kubanga atuukiriza ekyo ekyanteekerwawo: N'ebingi ebiri bwe bityo biri naye.
15 Kyenva neeraliikirira ye okubaawo; Bwe ndowooza mmutya.
16 Kubanga Katonda azirisiza omutima gwange. Era Omuyinza w'ebintu byonna anteganyizza:
17 Kubanga saazikirizibwa okusooka ekizikiza, So teyabikka ku kizikiza ekikutte eri amaaso gange.