Chapter 33
1 Naye, Yobu, nkwegayiridde, wulira okwogera kwange, Era tega okutu kwo eri ebigambo byange byonna.
2 Laba nno, njasamye akamwa kange, Olulimi lwange lwogedde mu kamwa kange.
3 Ebigambo byange binaayatula obugolokofu bw'omutima gwange; N'emimwa gyange bye gimanyi bye ginaayogera awatali bukuusa.
4 Omwoyo gwa Katonda gwe gwankola, N'omukka gw'Omuyinza w'ebintu byonna gwe gumpa obulamu.
5 Oba, oyinza, nziraamu: Liraanya ebigambo byo mu maaso gange, oyimirire wakati.
6 Laba, ndi awali Katonda era nga ggwe bw'oli: Era nange nabumbibwa okuva mu ttaka.
7 Laba, entiisa yange teekukange, So n'okunyigiriza kwange tekuukuzitoowerere.
8 Mazima oyogedde nze nga mpulira, Nange mpulidde eddoboozi ly'ebigambo byo ng'oyogera nti
9 Ndi mulongoofu nga ssiriiko kusobya; Ssiriiko musango, so mu nze temuli butali butuukirivu:
10 Laba, anziyako ensonga, Ampita mulabe we;
11 Ateeka ebigere byange mu nvuba, Alabirira amakubo gange gonna.
12 Laba, naakuddamu, mu ekyo tolina nsonga; Kubanga Katonda asinga omuntu obukulu.
13 Kiki ekikuwakanya naye? Kubanga tabalirira muwendo gwa bigambo bye byonna.
14 Kubanga Katonda ayogera omulundi gumu, Weewaawo, emirundi ebiri, abantu newakubadde nga tebassaayo mwoyo.
15 Mu kirooto, mu kwolesebwa okw'omu kiro, Otulo otungi bwe tukwata abantu, Nga babongoota ku kitanda;
16 Awo n'alyoka aggula amatu g'abantu, N'ateeka akabonero ku kuyigirizibwa kwabwe,
17 Aggye abantu mu kuteesa kwabwe, Era akweke abantu amalala;
18 Aziyiza emmeeme ye okukka mu bunnya, N'obulamu bwe buleme okufa n'ekitala.
19 N'okulumwa kumukangavvula ku kitanda kye, N'okulwana okutamala mu magumba ge:
20 Obulamu bwe n'okutamwa ne butamwa emmere, N'emmeeme ye ekyokulya ekiyonjo.
21 Omubiri gwe gumalibwawo n'okuyinzika ne gutayinzika kulabibwa; N'amagumba ge agaali gatalabika ne gakukunala.
22 Weewaawo, emmeeme ye esemberera obunnya, N'obulamu bwe busemberera abazikiriza.
23 Oba waliwo wamu naye malayika, Omutegeeza, omu mu lukumi, Okwolesa abantu ebibagwanira;
24 Awo n'amukwatirwa ekisa n'ayogera nti Muwonye aleme okukka mu bunnya, Ndabye ekinunulo.
25 Omubiri gwe guliba muggya okusinga ogw'omwana omuto; Adda mu nnaku z'obuto bwe:
26 Asaba Katonda, era amukwatirwa ekisa; N'okulaba alaba amaaso ge n'essanyu: Era awa nate omuntu obutuukirivu bwe.
27 Ayimbira mu maaso g'abantu n'ayogera nti Nnyonoonye ne nnyoola ekyo ekyali ekirungi, So ssiriiko kye nnagasibwa:
28 Anunudde emmeeme yange obutakka mu bunnya. N'obulamu bwange bunaatunuuliranga omusana.
29 Laba, ebyo byonna Katonda abikola, Emirundi ebiri, weewaawo, n'esatu eri omuntu,
30 Okukomyawo emmeeme ye mu bunnya, Ayakirwe omusana ogw'abalamu.
31 Weetegereze nnyo, ai Yobu, ompulire: Sirika, nange naayogera.
32 Oba nga olina eky'okwogera nziraamu: Yogera, kubanga njagala okukufuula omutuukirivu.
33 Oba nga si weewaawo, mpulira: Sirika, nange naakuyigiriza amagezi.