1 Peetero

Essuula : 1 2 3 4 5


Essuula 5

1 Kale mbuulirira abakadde abali mu mmwe nze mukadde munnammwe era omutegeeza w'ebibonoobono bya Kristo, era agabanira awamu ekitiibwa ekigenda okubikkulibwa:
2 mulundenga ekisibo kya Katonda ekiri mu mmwe, nga mukirabirira si lwa maanyi naye lwa kwagala, nga Katonda bw'ayagala so si lwa kwegombanga amagoba mu bukuusa, naye lwa mwoyo;
3 so si ng'abeefuula abaami b'ebyo bye mwateresebwa, naye nga mubeeranga byakulabirako eri ekisibo:
4 Era Omusumba omukulu bw'alirabisibwa, muliweebwa engule ey'ekitiibwa etewotoka.
5 Bwe mutyo, abavubuka, mugonderenga abakadde. Era mwenna mwesibenga obuwombeefu, okuweerezagananga mwekka na mwekka: kubanga Katonda aziyiza ab'amalala, naye abawombeefu abawa ekisa.
6 Kale mwewombeekenga wansi w'omukono ogw'amaanyi ogwa Katonda, alyoke abagulumize ng'obudde buuuse;
7 nga mumusindiikiririzanga ye okweraliikirira kwammwe kwonna, kubanga ye ateeka ku mwoyo ebigambo byammwe.
8 Kale mbuulirira abakadde abali mu mmwe nze mukadde munnammwe era omutegeeza w'ebibonoobono bya Kristo, era agabanira awamu ekitiibwa ekigenda okubikkulibwa:
9 oyo mumuziyizenga nga muli banywevu mu kukkiriza kwammwe, nga mumanyi ng'ebibonoobono ebyo bituukirira eri baganda bammwe abali mu nsi.
10 Era Katonda ow'ekisa kyonna, eyabayitira ekitiibwa kye ekitaggwaawo mu Kristo, bwe mulimala okubonyaabonyezebwako akaseera akatono, ye yennyini alibatuukiriza, alibanyweza, alibawa amaanyi.
11 Oyo aweebwenga obuyinza emirembe n'emirembe. Amiina.
12 Mbaweerezza ebbaluwa mu mikono gya Sirwano ow'oluganda omwesigwa, nga bwe ndowooza, ey'ebigambo ebitono, nga mbabuulirira, ne mbategeeza ng'ekyo kye kisa eky'amazima ekya Katonda; mukinywererengamu.
13 Omukyala ali mu Babbulooni mulonde munnammwe abalamusizza; ne Makko mwana wange.
14 Mulamusagane n'okunywegera okw'okwagala. Emirembe gibeerenga nammwe mwenna abali mu Kristo.