Essuula 1
1 Simooni Peetero, omuddu era omutume wa Yesu Kristo, eri abo abaafuna okukkiriza okw'omuwendo omungi nga ffe bwe twafuna mu butuukirivu bwa Katonda waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo;
2 ekisa n'emirembe byeyongerenga gye muli mu kutegeerera ddala Katonda ne Yesu Mukama waffe;
3 kubanga obuyinza bw'obwakatonda bwe bwatuwa byonna eby'obulamu n'eby'okutya Katonda, olw'okutegeerera ddala oyo eyatuyita olw'ekitiibwa n'obulungi bwe ye;
4 ebyatuweesa ebisuubizibwa eby'omuwendo omungi ebinene ennyo; olw'ebyo mulyoke mugabanire awamu obuzaaliranwa bwa Katonda, bwe mwawona okuva mu kuzikirira okuli mu nsi olw'okwegomba.
5 Naye era olw'ekyo kyennyini bwe muleeta ku lwammwe okufuba kwonna, ku kukkiriza kwammwe mwongerengako obulungi, era ne ku bulungi bwammwe okutegeera;
6 era ne ku kutegeera kwammwe okwegendereza; era ne ku kwegendereza kwammwe okugumiikiriza; era ne ku kugumiikiriza kwammwe okutya Katonda;
7 era ne ku kutya Katonda kwammwe okwagala ab'oluganda; era ne ku kwagala ab'oluganda kwammwe okwagala.
8 Kubanga bwe muba n'ebyo ne biba ebingi, bibafuula abatali bagayaavu n'ababala ebibala olw'okutegeerera ddala Mukama waffe Yesu Kristo.
9 Kubanga ataba n'ebyo ye muzibe w'amaaso awunawuna, bwe yeerabira okunaazibwako ebibi bye eby'edda.
10 Kale, ab'oluganda, kyemunaavanga mweyongera obweyongezi okufubanga okunyweza okuyitibwa kwammwe n'okulondebwa: kubanga ebyo bwe munaabikolanga, temulyesittala n'akatono:
11 kubanga bwe kityo tewalibulawo bugagga mu kuyingira kwammwe mu bwakabaka obutaggwaawo obwa Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo.
12 Kyennaavanga njagala ennaku zonna okubajjukiza ebyo newakubadde nga mubimanyi ne munywerera mu mazima ge mulina.
13 Era ndowooza nga kya nsonga, nga nkyali mu nsiisira eno, okubakubirizanga nga mbajjukiza;
14 nga mmanyi nga nditera , okwambula amangu ensiisira yange, era nga Mukama waffe Yesu Kristo bwe yantegeeza.
15 Naye era nnaafubanga okubayinzisa buli kaseera nga mmaze okufa okujjukiranga ebyo.
16 Kubanga tetwagoberera ngero ezaagunjibwa n'amagezi bwe twabategeeza obuyinza n'okujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo, naye twalaba n'amaaso gaffe obukulu bwe.
17 Kubanga yaweebwa Katonda Kitaffe ettendo n'ekitiibwa, eddoboozi bwe lyava mu kitiibwa ekimasamasa ne lijja gy'ali bwe liti nti Ono ye Mwana wange omwagalwa, gwe nsanyukira ennyo:
18 n'eddoboozi eryo ffe ne tuliwulira nga liva mu ggulu, bwe twali awamu naye ku lusozi olutukuvu.
19 Era ekisinga obunywevu tulina ekigambo kya bannabbi; mukola bulungi okukiraba ekyo, ng'ettabaaza eyakira mu kifo eky'ekizikiza, okutuusa obudde bwe bulikya emmunyeenye ekeesa obudde n'eyaka mu mitima gyammwe:
20 nga mumaze okutegeera kino, nti buli kigambo ekya bannabbi ekyawandiikibwa tekitegeeza kukoma kw'oyo yekka.
21 Kubanga siwali kigambo kya bannabbi ekyali kireeteddwa mu kwagala kw'abantu: naye abantu baayogeranga ebyava eri Katonda, nga bakwatiddwa Omwoyo Omutukuvu.