Essuula 2
1 Kale ggwe, mwana wange, beeranga wa maanyi mu kisa ekiri mu Kristo Yesu.
2 Era bye wawuliranga gye ndi mu bajulirwa abangi, ebyo biteresenga abantu abeesigwa, era abalisaanira okuyigiriza n'abalala.
3 Bonaboneranga wamu nange ng'omulwanyi omulungi owa Kristo Yesu.
4 Siwali mulwanyi bw'atabaala eyeeyingiza mu mitawaana egy'obulamu buno, alyoke asiimibwe eyamuwandiika okuba omulwanyi.
5 Naye era omuntu bw'awakana, taweebwa ngule bw'atawakana nga bwe kiragirwa.
6 Omulimi akola emirimu kimugwanira okusooka okutwala ku bibala.
7 Lowooza kye njogedde; kubanga Mukama waffe anaakuwanga okutegeera mu bigambo byonna.
8 Jjukira Yesu Kristo, nga yazuukira mu bafu, ow'omu zzadde lya Dawudi, ng'enjiri yange bw'eyogera:
9 gye mbonaboneramu okutuusa ku kusibibwa, ng'akola obubi; naye ekigambo kya Katonda tekisibibwa.
10 Kyenva ngumiikiriza byonna olw'abalonde, era nabo balyoke bafune obulokovu obuli mu Kristo Yesu, wamu n'ekitiibwa ekitaggwaawo.
11 Ekigambo kino kyesigwa nti Kuba oba nga twafa naye, era tulibeera balamu naye
12 oba nga tugumiikiriza, era tulifuga naye: oba nga tulimwegaana era naye alitwegaana ffe:
13 oba nga tetukkiriza, ye abeera mwesigwa kubanga tayinza kwerimba.
14 Ebyo obibajjukizanga, ng'obakuutirira mu maaso ga Mukama waffe, obutalwananga na bigambo ebitagasa, ebikyamya abawulira.
15 Fubanga okweraga ng'osiimibwa Katonda, omukozi atakwatibwa nsonyi, ayisa wakati ekigambo eky'amazima.
16 Naye ebigambo ebitaliimu ebitali bya ddiini obyewalanga: kubanga baliyitirira mu butatya Katonda,
17 n'ekigambo kyabwe kirirya nga kookolo: ku abo ye Kumenayo ne Fireeto;
18 kubanga baakyama mu mazima, nga boogera ng'okuzuukira kwamala okubeerawo, era waliwo abantu be baavuunikirira okukkiriza kwabwe.
19 Naye omusingi gwa Katonda omugumu gubeerawo, nga gulina akabonero kano nti Mukama waffe amanyi ababe: era nti Yeewalenga obutali butuukirivu buli ayatula erinnya lya Mukama waffe.
20 Naye mu nnyumba ennene temubaamu bintu bya zaabu na bya ffeeza byokka, naye era n'eby'emiti n'eby'ebbumba; n'ebirala eby'ekitiibwa, n'ebirala ebitali bya kitiibwa
21 Kale omuntu bwe yeerongoosaako ebyo, anaabeeranga ekintu eky'ekitiibwa, ekyatukuzibwa, ekisaanira omwami okuweerezanga ekyalongooserezebwa buli mulimu omulungi.
22 Naye okwegomba okw'omu buvubuka okwewalanga naye ogobereranga obutuukirivu, okukkiriza, okwagala, emirembe awamu n'abo abamusaba Mukama waffe mu mwoyo omulongoofu.
23 Naye empaka ez'obusirusiru era ez'obutayigirizibwa ozirekanga, ng'omanyi nga zizaala okulwana.
24 Naye omuddu wa Mukama waffe tekimugwanira kulwananga, wabula okubeeranga omukkakkamu eri bonna, omuyigiriza, omugumiikiriza,
25 abuulirira n'obuwombeefu abawakanyi, mpozzi oba nga Katonda alibawa okwenenya olw'okutegeerera ddala amazima,
26 era balitamiirukuka okuva mu mutego gwa Setaani, oyo ng'amaze okubakwasa okukolanga okwagala kw'oli.