Essuula 4
1 Nkukuutirira mu maaso ga Katonda ne Kristo Yesu, alisalira omusango abalamu n'abafu, era n'olw'okulabika kwe n'obwakabaka bwe;
2 buuliranga ekigambo; kubiririzanga mu bbanga erisaaniramu n’eritasaaniramu; weranga, nenyanga, buuliriranga n'okugumiikiriza kwonna n'okuyigiriza.
3 Kubanga ebiro birijja lwe batalikkiriza kuwulira kuyigiriza kwa bulamu; naye, amatu nga gabasiiwa, balikuŋŋaanya abayigiriza ng'okwegomba kwabwe bo bwe kuli;
4 baliziba amatu okulekanga amazima, balikyama okugobereranga enfumo obufumo.
5 Naye ggwe tamiirukukanga mu byonna, bonaabonanga, kolanga omulimu ogw'omubuulizi w'enjiri, tuukirizanga okuweereza kwo.
6 Kubanga nze kaakano nfukibwa, n'ebiro eby'okuteebwa kwange bituuse.
7 Nnwanye okulwana okulungi, olugendo ndutuusizza, okukkiriza nkukuumye:
8 ekisigaddeyo, enterekeddwa engule ey'obutuukirivu Mukama waffe gy'alimpeera ku lunaku luli, asala emisango egy'ensonga: so si nze nzekka naye era ne bonna abaagala okulabika kwe.
9 Fuba okujja gye ndi mangu:
10 kubanga Dema yandekawo, ng'ayagala emirembe egya kaakano, n'agenda e Ssessaloniika; Kulesuke e Ggalatiya, Tito e Dalumatiya.
11 Lukka ye ali awamu nange yekka. Twala Makko, omuleete wamu naawe; kubanga angasa olw'okuweereza.
12 Naye Tukiko nnamutuma mu Efeso.
13 Ekyambalo kye nnaleka mu Tulowa ewa Kappo, bw'oliba ng'ojja, kireete, n'ebitabo, naye, okusinga, biri eby'amaliba.
14 Alegezanda omuweesi w'ebikomo yankola obubi bungi: Mukama waffe alimusasula ng'ebikolwa bye bwe byali:
15 oyo naawe omwekuumanga; kubanga yaziyiza nnyo ebigambo byaffe.
16 Mu kuwoza kwange okw'olubereberye siwali eyannyamba, naye bonna banjabulira: nsaba baleme okukibalirwa.
17 Naye Mukama waffe yayimirira kumpi nange, n’ampa amaanyi; nze ndyoke ntuukirize kye mbuulira, era ab'amawanga bonna balyoke bawulire: ne ndokoka mu kamwa k'empologoma.
18 Mukama waffe anandokolanga mu buli kikolwa ekibi, era anankuumanga okutuusa ku bwakabaka bwe obw'omu ggulu: aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina.
19 Lamusa Pulisika ne Akula, n'ennyumba ya Onesifolo.
20 Erasuto yabeera mu Kkolinso: naye Tulofiimo nnamuleka mu Mireeto ng'alwadde.
21 Fuba okujja ebiro by'empewo nga tebinnatuuka. Ewubulo akulamusizza, ne Pudente, ne Lino, ne Kulawudiya, n'ab'oluganda bonna.
22 Mukama waffe abeerenga n'omwoyo gwo. Ekisa kibeerenga nammwe.