Abakkolosaayi

Essuula : 1 2 3 4


Essuula 4

1 Bakama baabwe, mugabirenga abaddu bammwe eby'obutuukirivu n'okwenkanyankanyanga; nga mumanyi nga era nammwe mulina Mukama wammwe mu ggulu.
2 Munyiikirirenga mu kusaba, nga mutunulanga mu kusaba mu kwebaza;
3 nate nga mutusabira naffe, Katonda okutuggulirawo oluggi olw'ekigambo, okwogera ekyama kya Kristo, n'okusibibwa kye nnasibirwa;
4 ndyoke nkyolesenga, nga bwe kiŋŋwanidde okwogera.
5 Mutambulirenga mu magezi eri abo ab'ebweru, nga mweguliranga ebbanga.
6 Ebigambo byammwe bibeerenga n'ekisa ennaku zonna, nga binoga omunnyo, mulyoke mumanye bwe kibagwanidde okwanukulanga buli muntu yenna.
7 Tukiko, ow'oluganda omwagalwa era omuweereza omwesigwa era muddu munnaffe mu Mukama waffe, alibategeeza ebifa gye ndi byonna:
8 gwe ntuma gye muli olw'ensonga eno, mulyoke mutegeere ebifa gye tuli era asanyuse emyoyo gyammwe;
9 wamu ne Onnessimo, ow'oluganda omwesigwa omwagalwa, ow'ewammwe. Balibategeeza ebifa wano byonna.
10 Alisutaluuko, musibe munnange, abalamusizza, ne Makko, mujjwa wa Balunabba, (gwe mwalagirwa; bw'alijja gye muli, mumwanirizanga),
11 ne Yesu ayitibwa Yusito, ab'omu bakomole: abo bokka be bakozi bannange olw'obwakabaka bwa Katonda, abansanyusanga.
12 Epafula, ow'ewammwe, omuddu wa Kristo Yesu, abalamusizza, afuba ennaku zonna ku lwammwe mu kusaba kwe, mulyoke muyimirirenga nga muli batuukirivu era nga mutegeerera ddala mu byonna Katonda by'ayagala.
13 Kubanga ndi mujulirwa we ng'alina emirimu mingi ku lwammwe, n'ab'omu Lawodikiya, n'ab'omu Kiyerapoli.
14 Lukka, omusawo omwagalwa, ne Dema babalamusizza.
15 Mulamuse ab'oluganda ab'omu Lawodikiya, ne Nunfa, n'ekkanisa ey'omu nnyumba yaabwe.
16 Era ebbaluwa eno bw'emalanga okusomerwa mu mmwe, era mugisomere ne mu kkanisa ey'Abalawodikiya; era nammwe musome eriva mu Lawodikiya.
17 Era mugambe Alukipo nti Weekuumenga okuweereza kwe waweebwa mu Mukama waffe, okukutuukiriza.
18 Kuno kwe kulamusa kwange n'omukono gwange nze Pawulo. Mujjukirenga okusibibwa kwange. Ekisa kibeerenga nammwe.