Essuula 2
1 Kubanga njagala mmwe okumanya okufuba bwe kuli okunene kwe nnina ku lwammwe n'abo ab'omu Lawodikiya, ne bonna abatalabanga maaso gange mu mubiri;
2 emitima gyabwe giryoke gisanyusibwe, nga bagattibwa wamu mu kwagalana, n'okutuuka ku bugagga bwonna obw'okumanyira ddala okw'amagezi, bategeerenga ekyama kya Katonda, ye Kristo,
3 omuli obugagga bwonna obw'amagezi n'obw'okutegeera nga bukwekeddwa.
4 Ekyo kye njogera nti omuntu yenna alemenga okubalimbalimba mu bigambo eby'okusendasenda.
5 Kubanga newakubadde nga ssiriiyo mu mubiri, naye mu mwoyo ndi nammwe, nga nsanyuka era nga ndaba empisa zammwe ennungi, n'obunywevu obw'okukkiriza kwammwe mu Kristo.
6 Kale nga bwe mwaweebwa Kristo Yesu Mukama waffe, mutambulirenga bwe mutyo mu ye,
7 nga mulina emmizi, era nga muzimbibwa mu ye, era nga munywezebwa okukkiriza kwammwe, nga bwe mwayigirizibwa, nga musukkirira okwebaza.
8 Mwekuume tewabeerangawo muntu abanyaga mu bufirosoofo n'eby'obulimba ebitaliimu, okugobereranga ebyayigirizibwa abantu okugobereranga eby'olubereberye eby'ensi, okutali kugoberera Kristo
9 kubanga mu oyo mwe mutuula okutuukirira kwonna okw'obwakatonda ng'omubiri bwe guli,
10 era mwatuukiririra mu ye, gwe mutwe ogw'okufuga n'obuyinza bwonna
11 era mwakomolerwa mu oyo obukomole obutakomolebwa na mikono, mu kwambula omubiri ogw'ennyama, mu kukomolebwa kwa Kristo;
12 bwe mwaziikirwa awamu naye mu kubatizibwa, era kwe mwazuukiriramu olw'okukkiriza okukola kwa Katonda, eyamuzuukiza mu bafu.
13 Nammwe bwe mwali nga mufudde olw'ebyonoono byammwe n'obutakomolebwa mubiri gwammwe, yabafuula balamu wamu naye, bwe yamala okutusonyiwa ebyonoono byaffe byonna;
14 n'okusangula endagaano eyawandiikibwa mu mateeka, eyatwolekera, eyali omulabe waffe: nayo n’agiggyamu wakati mu kkubo, bwe yagikomerera ku musalaba:
15 bwe yayambulira ddala obwami n’amasaza, n'abiwemuukiriza mu lwatu, bwe yabiwangulira ku gwo.
16 Kale omuntu yenna tabanenyanga mu by'okulya oba mu by'okunywa, oba olw'embaga oba olw'omwezi oguboneka oba olwa ssabbiiti:
17 ebyo kye kisiikirize ky'ebyo ebigenda okujja; naye omubiri gwe gwa Kristo.
18 Omuntu yenna tabanyagangako mpeera yammwe mu kwewombeeka kw'ayagala yekka n'okusinzanga bamalayika, ng'anywerera mu ebyo bye yalaba, nga yeegulumiririza bwereere mu magezi ag'omubiri gwe,
19 so nga teyeekwase Mutwe, omuva omubiri gwonna, ennyingo n'ebinyweza nga biguleetera era nga bigugatta wamu, nga gukula n'okukuza kwa Katonda.
20 Oba nga mwafiira wamu ne Kristo okuleka eby'olubereberye eby'ensi, kiki ekibeeteesa wansi w'amateeka, ng'abakyali abalamu mu nsi nti
21 Tokwatangako, so tolegangako, so tokomangako
22 (ebyo byonna biggweerawo mu kukolebwa) okugobereranga ebiragiro n'okuyigiriza eby'abantu?
23 Ebyo birina ddala ekifaananyi eky'amagezi mu kusinza Katonda abantu kwe bagunja bokka, ne mu kwewombeeka ne mu kubonyaabonya omubiri; naye tebiriiko kye bigasa n'akatono olw'okwegomba kw'omubiri.