Essuula 6
1 Ab'oluganda, omuntu bw'alabibwanga ng'ayonoonye; mmwe ab'omwoyo mumulongoosenga ali bw'atyo mu mwoyo gw'obuwombeefu; nga weekuuma wekka naawe olemenga okukemebwa.
2 Mubeeraganenga emigugu mwekka na mwekka, mutuukirizenga bwe mutyo etteeka lya Kristo.
3 Kubanga omuntu bwe yeerowoozanga okuba ekintu, nga si kintu, nga yeerimbalimba.
4 Naye buli muntu akemenga omulimu gwe ku bubwe; alyoke abeere n'okwenyumiriza ku bubwe yekka so si ku bwa mulala.
5 Kubanga buli muntu alyetikka omutwalo gwe ye.
6 Naye ayigirizibwanga ekigambo assenga ekimu n'oyo ayigiriza mu birungi byonna.
7 Temulimbibwanga; Katonda tasekererwa: kubanga omuntu kyonna ky'asiga era ky'alikungula.
8 Kubanga asigira omubiri gwe ye, alikungula mu mubiri okuvunda; naye asigira Omwoyo, alikungula mu Mwoyo obulamu obutaggwaawo.
9 Tuleme okuddiriranga mu kukola obulungi: kubanga ebiro bwe birituuka, tulikungula; nga tetuzirise.
10 Kale, bwe tunaalabanga ebbanga, tubakolenga obulungi bonna, naye okusinga abo abali mu nnyumba ey'okukkiriza.
11 Mulabe bwe mbawandiikidde mu nnukuta ennene n'omukono gwange nze.
12 Bonna abaagala okwewoomereza mu mubiri be babawaliriza okukomolebwanga; kyokka balemenga okuyigganyizibwa olw'omusalaba gwa Kristo.
13 Kubanga era n'abo bennyini abakomolebwa amateeka tebagakwata; naye baagala mmwe okukomolebwanga, balyoke beenyumiririzenga ku mubiri gwammwe.
14 Naye nze ssaagala kwenyumirizanga, wabula ku musalaba gwa Mukama waffe Yesu Kristo; olw'ogwo ensi ekomereddwa gye ndi, nange eri ensi.
15 Kubanga okukomolebwa si kintu, newakubadde obutakomolebwa, wabula ekitonde ekiggya.
16 N'abo bonna abanaatambuliranga mu tteeka eryo, emirembe gibenga ku bo, n'okusaasirwa, ne ku Isiraeri wa Katonda.
17 Okutanula kaakano, omuntu yenna aleme okunteganyanga: kubanga ntwala enkovu za Yesu zisaliddwa ku mubiri gwange.
18 Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga wamu n'omwoyo gwammwe, ab'oluganda. Amiina.