Abaggalatiya

Essuula : 1 2 3 4 5 6


Essuula 2

1 Awo oluvannyuma, emyaka bwe gyayitawo kkumi n'ena, nalinnya e Yerusaalemi wamu ne Balunabba ne ntwala ne Tito.
2 Nalinnyayo lwa kubikkulirwa; ne mbanjulira enjiri, gye mbuulira mu b'amawanga, naye mu kyama eri abo abaatenderezebwa, mpozzi nneme okugenderanga obwereere oba nga ŋŋenze.
3 Naye newakubadde Tito eyali awamu nange, eyali Omuyonaani, teyawalirizibwa kukomolebwa:
4 naye olw'ab'oluganda ab'obulimba abaayingizibwa mu kyama, abaayingira mu kyama okuketta eddembe lyaffe lye tulina mu Kristo Yesu, okututeeka mu buddu:
5 abo tetwabagonderako ssaawa n'emu okufugibwa bo; amazima g'enjiri ganywerenga gye muli.
6 Naye abaatenderezebwa okuba abakulu (nga bwe bali kye kimu gye ndi; Katonda tasosola mu bantu) abaatenderezebwa aze tebannyongerako kintu:
7 naye mu ngeri endala, bwe baalaba nga nnateresebwa enjiri y'abo abatali bakomole, nga Peetero ey'abakomole
8 (kubanga eyakolera Peetero olw'obutume bw'abakomole ye yakolera nange olw'ab'amawanga);
9 era bwe baategeera ekisa kye nnaweebwa, Yakobo ne Keefa ne Yokaana, abaatenderezebwa okuba empagi, ne batuwa omukono ogwa ddyo ogw'okussa ekimu nze ne Balunabba, ffe tugende eri ab'amawanga, bo bagende eri abakomole;
10 kyokka, tujjukirenga abaavu; ekyo n'okunyiikira kye nnanyiikirira ennyo okukikolanga.
11 Naye Keefa bwe yajja e Antiyokiya, nnamuwakanya nga tulabagana amaaso n'amaaso, kubanga yali mukyamu ddala.
12 Kubanga olubereberye abantu nga tebannaba kujja kuva wa Yakobo, yalyanga n'ab'amawanga: naye bwe bajja, ne yeeyawula n'abaawukanako, ng'atya abakomole.
13 Era n'Abayudaaya abalala bonna ne bakuusakuusa wamu naye; ne Balunabba n'okuwalulwa n'awalulwa obukuusa bwabwe.
14 Naye bwe nnalaba nga tebaakwata kkubo ggolokofu mu mazima g'enjiri, ne ŋŋambira Keefa mu maaso gaabwe bonna nti Obanga ggwe bw'oli Omuyudaaya ogoberera empisa z'ab'amawanga ezitali za Kiyudaaya, owaliriza otya ab'amawanga okugobereranga empisa z'Ekiyudaaya?
15 Ffe Abayudaaya ab'obuzaaliranwa abatali ba mu b'amawanga abalina ebibi,
16 naye bwe tumanyi ng'omuntu taweebwa butuukirivu lwa bikolwa bya mateeka wabula olw'okukkiriza Yesu Kristo, era naffe twakkiriza Kristo Yesu, tulyoke tuweebwe obutuukirivu olw'okukkiriza Kristo, naye si lwa bikolwa bya mateeka: kubanga olw'ebikolwa eby'amateeka tewali alina omubiri aliweebwa obutuukirivu.
17 Naye bwe twayagala okuweebwa obutuukirivu mu Kristo, oba nga twalabibwa naffe okuba n'ebibi, kale Kristo muweereza wa kibi? Kitalo.
18 Kubanga bwe nzimba nate bye nnasuula, nneeraga nzekka okuba omwonoonyi.
19 Kubanga olw'amateeka nnafa ku mateeka, ndyoke mbe omulamu eri Katonda.
20 Nnakomererwa wamu ne Kristo; naye ndi mulamu; si ku bwange nate, naye Kristo ye mulamu mu nze: era obulamu bwe nnina kaakano mu mubiri, mbulina lwa kukkiriza Omwana wa Katonda eyanjagala ne yeewaayo ku lwange.
21 Ssidibya kisa kya Katonda: kubanga obutuukirivu bwe buba mu mateeka, nga Kristo yafiira bwereere.