Chapter 4
1 Malayika eyali ayogera nange n'akomawo, n'anzuukusa ng'omuntu bw'azuukusibwa mu tulo twe.
2 N'aŋŋamba nti Olabye ki Ne njogera nti Ntunudde, era, laba, ekikondo eky'ettabaaza ekya zaabu kyonna n'ekibya kyakyo nga kiri waggulu ku kyo n'ettabaaza zaakyo omusanvu; ettabaza eziri waggulu waakyo, buli ttabaaza ng'eriko emimiro musanvu:
3 n'emizeyituui ebiri ku mabbali eruuyi n'eruuyi ogumu ku mukono ogwa ddyo ogw'ekibya, ogumu ku mukono gwakyo ogwa kkono.
4 Ne nziramu ne ŋŋamba malayika eyali ayogera nange ne njogera nti Ebyo biki mukama wange?
5 Malayika eyali ayogera nange n'addamu n'aŋŋamba nti Tomanyi ebyo bwe biri? Ne njogera nti Nedda, mukama wange.
6 N'addamu n'aŋŋamba nti Kino kye kigambo kya Mukama eri Zerubbaberi nga kyogera nti Si lwa maanyi so si lwa buyinza naye lwa mwoyo gwange, bw'ayogera Mukama w'eggye.
7 Olusozi olunene ggwe, weeyita ki? mu maaso ga Zerubbaberi olibeera lusenyi era alireeta ejjinja erya waggulu ne balirangirira nti Liweebwe ekisa, liweebwe ekisa.
8 Nate ekigambo kya Mukama ne kijja gye ndi nga kyogera nti
9 Emikono gya Zerubbaberi girasizza ennyumba eyo; era n'emikono gye girigimala; era olitegeera nti Mukama w'eggye ye yantuma gye muli.
10 Kubanga ye ani anyoomye olunaku olw'ebitono? Kubanga balisanyuka era baliraba ejjinja erigera mu ngalo za Zerubbaberi, bano omusanvu, ge maaso ga Mukama; gaddukanaddukana mu nsi zonna.
11 Ne nziramu ne mmugamba nti Emizeyituuni gino ebiri kye ki ku mukono ogwa ddyo ogw'ekikondo eky'ettabaaza ne ku mukono gwakyo ogwa kkono?
12 Ne nziramu omulundi ogw'okubiri ne mmugamba nti Amatabi gano abiri maki ag'emizeyituuni agali ku mabbali g'emimwa ebiri egya zaabu ageemalamu gokka amafuta aga zaabu?
13 N'anziramu n'ayogera nti Tomanyi ago bwe gali? Ne njogera nti Nedda, mukama wange.
14 Awo n'ayogera nti Ago be baana babiri ab'amafuta abayimirira awali Mukama w'ensi zonna.