Zekkaliya

Essuula: 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14


Chapter 11

1 Ggulawo enzigi zo, ggwe Lebanooni, omuliro gwokye emivule gyo.
2 Kuba ebiwoobe, ggwe omuberoosi, kubanga omuvule gugudde, kubanga emiti emirungi ennyo gyonoonese: mukube ebiwoobe, mmwe emyera gya Basani, kubanga ekibira ekitatuukikako kigudde.
3 Eddoboozi ery'ebiwoobe eby'abasumba! kubanga obulungi bwabwe bwonoonese: eddoboozi ery'okuwuluguma kw'empologoma ento kubanga amalala ga Yoludaani goonoonese.
4 Bw'ati bwe yayogera Mukama Katonda wange nti Liisa ekisibo eky'okuttibwa;
5 bannyini zo be bazitta ne beeyita abatazzizza musango; n'abo abazitunda bagamba nti Atenderezebwe Mukama, kubanga ngaggawadde: so abasumba baazo zennyini tebazisaasira.
6 Kubanga sirisaasira nate abo ababeera mu nsi, bw'ayogera Mukama: naye, laba, ndiwaayo abantu buli muntu mu mukono gwa munne ne mu mukono gwa kabaka we: nabo balibonyaabonya ensi, so siribalokola mu mukono gwabwe.
7 Awo ne ndiisa ekisibo eky'okuttibwa, weewaawo, ennafu ez'omu kisibo. Ne nneetwalira emiggo ebiri; ogumu ne ngutuuma nti Ekisanyukirwa; omulala ne ngutuuma nti Ebisiba; ne ndiisa ekisibo.
8 Ne nziyawo abasumba abasatu mu mwezi ogumu; kubanga emmeeme yange baali bagikooyezza, n'emmeeme yaabwe nayo n'entamwa nze.
9 Awo ne njogera nti Siribaliisa; ekifa kife bufi; ekigenda okuggibwawo, kiggibwewo; ebisigalawo biryaŋŋane ekimu omubiri gwa kinnaakyo.
10 Ne ntwala omuggo gwange Ekisanyukirwa ne ngusala wakati ndyoke ndibye endagaano yange gye nnalagaana n'amawanga gonna.
11 Ne gumenyeka ku lunaku olwo: bwe kityo abanaku ab'omu kisibo abaali bampulira ne bategeera nga kino kye kigambo kya Mukama.
12 Ne mbagamba nti Oba kirungi mu maaso gammwe, mumpe empeera yange; naye oba si kirungi, mulekeeyo. Awo ne bagera okuba empeera yange ebitundu asatu eby'effeeza.
13 Mukama n'aŋŋamba nti Bisuulire omubumbi, omuwendo ogutuukidde ddala gwe bannamula. Ne ntwala ebitundu asatu ebya ffeeza ne mbisuulira omubumbi mu nnyumba ya Mukama.
14 Awo ne nsala wakati omuggo gwange ogw'okubiri Ebisiba, ndibye oluganda eri Yuda ne Isiraeri.
15 Awo Mukama n'aŋŋamba nti Weetwalire nate ebintu eby'omusumba omusirusiru.
16 Kubanga, laba, nze ndiyimusa omusumba mu nsi, atalizifaako ziri ezibuze, so talinoonya ziri ezisaasaanye, so taliwonya ziri ezimenyese, so taliriisa ziri eziyimirira, naye ennyama y'ezo eza ssava aligirya, era alityemulatyemula ebinuulo byazo.
17 Zimusanze omusumba ataliiko ky'agasa aleka ekisibo ekitala kiriba ku mukono gwe ne ku liiso lye erya ddyo; omukono gwe gulikalira, n'eriiso lye erya ddyo lirizibira ddala.