Zekkaliya

Essuula: 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14


Chapter 13

1 Ku lunaku luli oluzzi luliggulirwa ennyumba ya Dawudi n'abo abali mu Yerusaalemi olw'ebibi n'olw'empitambi.
2 Awo olulituuka ku lunaku luli, bw’ayogera Mukama w'eggye, ndiggyamu amannya ag'ebifaananyi mu nsi, so tegalijjukirwa nate: era ate ndiviisa mu nsi bannabbi n'omwoyo ogutali mulongoofu.
3 Awo olulituula omuntu ng'akyagenda okulagula kale kitaawe ne nnyina abaamuzaala balimugamba nti Tolibeera mulamu; kubanga oyogerera obulimba mu linnya lya Mukama: awo kitaawe ne nnyina abaamuzaala balimufumita bw'alagula.
4 Awo olulituuka ku lunaku luli bannabbi balikwatirwa ensonyi buli muntu okwolesebwa kwe ng'alagula; so tebalyambala kyambalo eky'ebyoya balyoke balimbe:
5 naye alyogera nti Siri nnabbi nze, ndi mulimi wa ttaka nze; kubanga bantunda okuva mu buto bwange.
6 N'omu alimugamba nti Ebiwundu ebiri wakati w'emikono gyo biki? Awo aliddamu nti Bye nnafumitirwa mu nnyumba ya mikwano gyange.
7 Golokoka, ggwe ekitala, okulwana n'omusumba wange, n'omuntu, ye munnange, bw'ayogera Mukama w'eggye: tema omusumba n'endiga zirisaasaana; nange ndissaako omukono gwange ku bato.
8 Awo olulituuka mu nsi yonna bw'ayogera Mukama, ebitundu byayo bibiri birizikirira birifa; naye eky'okusatu kirirekebwa omwo.
9 N'ekitundu eky'okusatu ndikiyisa mu muliro, era ndibalongoosa ng'effeeza bw'erongoosebwa, era ndibakema nga zaabu bw'ekemebwa: balikaabirira erinnya lyange, nange ndibawulira: ndyogera nti Be bantu bange; nabo balyogera nti Mukama ye Katonda wange.