Kaabakuuku

Essuula: 1 2 3


Chapter 1

1 Omugugu Kaabakuuku nnabbi gwe yalaba.
2 Ai Mukama, ndituusa wa okukaaba, naawe nga tokkiriza kuwulira? Nkukaabirira olw'eby'ekyejo so tokkiriza kulokola.
3 Onjoleseza ki obutali butuukirivu n'otunuulira obukyamu? kubanga okunyaga n'ekyejo biri mu maaso gange: era waliwo empaka, n'okuyomba kubaawo.
4 Amateeka kye gavudde gaddirira, so n'omusango tegufulumanga n'akatono; kubanga omubi azingizza omutuukirivu omusango kyeguva gufuluma nga gunyooleddwa.
5 Mulabe mu mawanga, musseeyo omwoyo, mwewuunye nnyo nnyini: kubanga nkolera omulimu mu nnaku zammwe, gwe mutalikkiriza newakubadde nga mugubuuliddwa.
6 Kubanga, laba, ngolokosa Abakaludaaya, eggwanga eryo ekkakali eryanguyiriza; abasimba ennyiriri okutambula okubunya ensi bwe yenkana obugazi, okulya ennyumba ezitali zaabwe.
7 Ba ntiisa, ba kitiibwa: omusango gwabwe n'obukulu bwabwe biva eri bo bennyini.
8 Era embalaasi zaabwe zikira engo embiro, era nkambwe okusinga emisege egy'ekiro; n'abasajja baabwe abeebagala embalaasi bagoma: weewaawo, abasajja baabwe abeebagala embalaasi bava wala; babuuka ng'empungu eyanguwa okulya.
9 Bajja lwa kyejo bonna; bavulumula amaaso gaabwe ng'embuyaga ez'ebuvanjuba; era bakuŋŋaanya abasibe ng'omusenyu.
10 Weewaawo, asekerera bakabaka, n'abakungu baba ba kuduulirwa gy'ali: aduulira buli kigo; kubanga atuuma enfuufu n'akimenya.
11 Awo aliyita ng'awulukuka ng'embuyaga, era alisukkirira n'azza omusango: ye amaanyi ge gabeera katonda we.
12 Ggwe toli wa mirembe n'emirembe, ai Mukama Katonda wange, Omutukuvu wange? tetulifa. Ai Mukama, wamuteekerawo musango; naawe, ai Olwazi, wamunywereza kubuulirira.
13 Ggwe alina amaaso agayinze obulongoofu obutatunuulira bubi, so toyinza kulaba bukyamu, lwaki ggwe okutunuulira abo abakuusakuusa, n'osirika omubi bw'aliira ddala omuntu amusinga obutuukirivu;
14 n'ofuula abantu ng'ebyennyanja era ng'ebintu ebyewalula ebitaliiko abifuga?
15 Abakwata bonna n'eddobo, abatega mu muya gwe, era abakuŋŋaanyiza mu kiragala kye: kyava asanyuka n'ajaguza.
16 Kyava awaayo ssaddaaka eri omuya gwe, n'ayotereza ekiragala kye obubaane; kubanga olw'ebyo omugabo gwe kyeguva guba ogwa ssava, emmere ye n'eba nnyingi.
17 Kale kyaliva afuka omuya gwe, n'atalekaayo kutta amawanga olutata?