Chapter 9
1 Kubanga ebyo byonna nabiteeka ku mutima gwange, okuketta ebyo byonna; ng'abatuukirivu n'abagezigezi n'emirimu gyabwe bali mu mukono gwa Katonda: oba nga kwagala oba nga kukyawa omuntu takumanyi: byonna biri mu mberi yaabwe.
2 Byonna byenkana okujjira bonna: waliwo ekigambo ekimu eri omutuukirivu n'omubi; eri omulungi n'eri omulongoofu n'eri atali mulongoofu; eri oyo asala ssaddaaka n'eri oyo atasala ssaddaaka: ng'omulungi bw'ali, alina ebibi bw'ali bw'atyo; n'oyo alayira ali ng'oyo atya ekirayiro.
3 Ekyo kibi mu byonna ebikolebwa wansi w'enjuba, ng'ekigambo ekimu ekibajjira bonna: weewaawo, era omutima gw'abaana b'abantu gujjudde obubi, era eddalu liri mu mutima gwabwe nga bakyali balamu, awo oluvannyuma, lw'ekyo ne badda mu bafu.
4 Kubanga eri oyo agattibwa n'abalamu bonna waliwo essuubi: kubanga embwa ennamu ekira empologoma enfu obulungi.
5 Kubanga abalamu bamanyi nga balifa: naye abafu tebaliiko kye bamanyi, so nga tebakyalina mpeera; kubanga ekijjukizo kyabwe kyerabirwa.
6 Okwagala kwabwe kwenkana n'okukyawa n'obuggya bwabwe okuzikirira kaakano: so nga tebakyalina mugabo ennaku zonna mu byonna ebikolebwa wansi w'enjuba.
7 Weegenderenga, olyenga emmere yo ng'osanyuka, onywenga omwenge gwo n'omutima ogujaguza; kubanga Katonda amaze okukkiriza emirimu gyo.
8 Ebyambalo byo bitukulenga enaaku zonna; so n'omutwe gwo tegubulwanga mafuta.
9 Beeranga n'omukazi gw'oyagala n'essanyu ennaku zonna ez'obulamu bwo obutaliimu bw'akuwadde wansi w'enjuba, ennaku zo zonna ezitaliimu: kubanga ogwo gwe mugabo gwo mu bulamu, ne mu kutegana kwo kw'otegana wansi w'enjuba.
10 Buli kintu omukono gwo kye gulaba okukola, okikolanga n'amaanyi go; kubanga tewali mulimu newakubadde okuteesa newakubadde okumanya newakubadde amagezi mu magombe gy'ogenda.
11 Awo ne nzirayo ne ndaba wansi w'enjuba ng'ab'embiro si be basinga empaka ez'embiro, so n'ab'amaanyi si be basinga okulwana, so n'abagezigezi si be bafuna emmere, so n'abantu abategeevu si be bafuna obugagga, so n'abakabakaba si be baganja; naye bonna bibagwira bugwizi ebiseera n'ebigambo.
12 Kubanga n'omuntu tamanyi kiseera kye: ng'ebyennyanja ebikwatibwa mu mugonjo omubi, era ng'ennyonyi ezikwatibwa mu kakunizo, era bwe batyo abaana b'abantu bateegebwa mu kiseera ekibi, bwe kibagwira nga tebamanyiridde.
13 Era nalaba amagezi wansi w'enjuba bwe ntyo; ne gafaanana mangi gye ndi:
14 waaliwo ekibuga ekitono n'abasajja abaali omwo si bangi; kabaka omukulu n'akitabaala, n'akizingiza, n'akizimbako amakomera amanene:
15 awo ne walabika omwo omusajja omwavu omugezigezi, oyo n'awonya ekibuga olw'amagezi ge; era naye ne wataba muntu ajjukira omusajja oyo omwavu.
16 Kale ne njogera nti Amagezi gasinga amaanyi obulungi: era naye amagezi g'omwavu ganyoomebwa, ebigambo bye ne batabiwulira.
17 Ebigambo eby'abagezigezi ebyogerwa akasirise babiwulira okusinga okuleekaana kw'oyo afugira mu basirusiru.
18 Amagezi gasinga ebyokulwanyisa: naye omu alina ebibi azikiriza ebirungi bingi.