Omubuulizi

Essuula: 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12


Chapter 1

1 Ebigambo eby'Omubuulizi, mutabani wa Dawudi, kabaka mu Yerusaalemi.
2 Obutaliimu obusinga obutaliimu bwonna, bw'ayogera Omubuulizi; obutaliimu obusinga obutaliimu bwonna, byonna butaliimu.
3 Magoba ki omuntu gaggya mu mulimu gwe gwonna gw'akola wansi w'enjuba?
4 Emirembe emirala gigenda, n'emirembe emirala gijja; ensi n'ebeerera awo ennaku zonna.
5 Era n'enjuba evaayo, enjuba n'egwa, n'eyanguwa okugenda mu kifo kyayo gy'eva.
6 Empewo egenda eri obukiika obwa ddyo, n'ekyukira obukiika obwa kkono; ekyukakyuka buli kaseera mu kutambula kwayo, empewo n'edda nate mu kwetooloola kwayo.
7 Emigga gyonna gigenda mu nnyanja, naye ennyanja tejjula; mu kifo emigga gye gigenda eyo gye gigenda nate.
8 Ebintu byonna bijjudde obukoowu; omuntu tayinza kubwogera: eriiso terikkuta kulaba, so n'okutu tekukkuta okuwulira.
9 Ekyaliwo kye kinaabangawo; n'ekyo ekyakolebwanga kye kinaakolebwanga: so tewali kintu kiggya wansi w'enjuba.
10 Waliwo ekintu abantu kye boogerako nti Laba, kino kiggya? kyamala okubaawo mu mirembe egyatusooka.
11 Tewali kujjukira mirembe egy'edda; so tewaliba kujjukira mirembe gya luvaanyuma egigenda okujja mu abo abaliddawo.
12 Nze Omubuulizi nali kabaka wa Isiraeri mu Yerusaalemi.
13 Awo ne nzisaayo omutima gwange okunoonya n'okukenneenya o1w'amagezi byonna ebikolebwa wansi w'eggulu: bwe bubalagaze obungi Katonda bwe yawa abaana b'a bantu okubaluma.
14 Nalaba emirimu gyonna egikolebwa wansi w'enjuba; era, laba, byonna butaliimu na kugoberera mpewo.
15 Ekikyamye tekiyinzika kuluŋŋamizibwa: n'ekyo ekitatuuka tekibalika.
16 Nateesa n'omutima gwange nze nga njogera nti Laba, neefunidde amagezi mangi okukira bonna abansooka mu Yerusaalemi: weewaawo, omutima gwange gwalaba nnyo amagezi n'okumanya.
17 Ne nzisaayo omutima gwange okumanya amagezi n'okumanya eddalu n'obusirusiru: nalaba nga n'ekyo kwe kugoberera empewo.
18 Kubanga mu magezi amangi mulimu obuyinike bungi: n'oyo ayongera okumanya ayongera okulaba ennaku.