Omubuulizi

Essuula: 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12


Chapter 4

1 Awo ne nzirayo ne ndaba okujooga kwonna kwe bajooga wansi w'enjuba: era, laba, amaziga g'abo abajoogebwa, so nga tebalina abasanyusa; n'obuyinza nga buli ku luuyi lw'abajoozi baabwe, naye no nga tebalina abasanyusa.
2 Kyennava ntendereza abafu abaamala okufa okusinga abalamu abakyalaba;
3 weewaawo, ne ndowooza okusinga bombi oyo atannabaawo, atalabanga mulimu mubi ogukolebwa wansi w'enjuba.
4 Awo ne ndyoka ndaba okutegana kwonna na buli mulimu ogw'amagezi, ng'olwekyo omuntu kyava amukwatirwa munne obuggya. Era n'ekyo butaliimu na kugoberera mpewo.
5 Omusirusiru afunya emikono gye, n'alya omubiri gwe ye.
6 Olubatu lumu wamu n'okutereera lusinga embatu bbiri wamu n'okutegana n'okugoberera empewo.
7 Awo ne nzirayo ne ndaba obutaliimu wansi w'enjuba.
8 Wabaawo ali omu, nga talina wa kubiri; weewaawo, talina mwana newakubadde ow'oluganda: naye okutegana kwe kwonna tekuliiko we kukoma, so n'amaaso ge tegakkuta bugagga. Kale nteganira ani, bw'ayogera, ne nnyima emmeeme yange ebirungi? Era n'ekyo butaliimu, weewaawo, kweraliikirira kungi.
9 Babiri basinga omu; kubanga baba n'empeera ennungi olw'okutegana kwabwe.
10 Kubanga bwe bagwa omu aliyimusa munne: naye zimusanze oyo ali yekka bw'agwa, so nga talina munne amuyimusa.
11 Nate babiri bwe bagalamirira awamu, lwe babuguma: naye omu ayinza atya okubuguma bw'aba yekka?
12 Era omuntu bw'asinga oyo ali yekka, ababiri be balimusobola; n'omugwa ogw'emiyondo esatu tegutera kukutuka.
13 Omulenzi omwavu omugezigezi asinga kabaka omukadde omusirusiru atakyamanyi kubuulirirwa.
14 Kubanga mu kkomera mwe yava okuba kabaka; weewaawo, ne mu bwakabaka bwe yazaalibwa nga mwavu.
15 Nalaba abalamu bonna abatambulira wansi w'enjuba, nga baali wamu n'omulenzi, ow'okubiri, eyayimirira mu kifo kye.
16 Abantu bonna tebaaliko gye bakoma, abo bonna be yakulira: naye abo abalibaawo oluvannyuma lwe tebalimusanyukira. Mazima era n'ekyo butaliimu na kugoberera mpewo.