Chapter 6
1 Awo mu kiro ekyo kabaka n'atayinza kwebaka; n'alagira okuleeta ekitabo ekijjukiza eky'ebigambo ebya buli lunaku, ne babisomera mu maaso ga kabaka.
2 Awo ne basanga nga kiwandiikiddwa nga Moluddekaayi yabuulira ebigambo bya Bigusani ne Teresi, babiri ku balaawe ba kabaka ku abo abaakuumanga oluggi, abaagezaako okukwata kabaka Akaswero.
3 Awo kabaka n'ayogera nti Kitiibwa ki na bukulu ki Moluddekaayi bye yaweebwa olw'ekyo? Awo abaddu ba kabaka abaamuweerezanga ne boogera nti Tewali kintu kyaweereddwa.
4 Awo kabaka n'ayogera nti Ani ali mu luggya? Kale Kamani yali atuuse mu luggya olw'ebweru olw'oku nnyumba ya labaka, okwogera ne kabaka okuwanika Moluddekaayi ku kitindiro kye yali amusimbidde.
5 Awo abaddu ba kabaka ne bamugamba nti Laba, Kamani ayimiridde mu luggya. Kabaka n’ayogera nti Ayingire.
6 Awo Kamani n'ayingira Kabaka n'amugamba nti Omusajja kabaka gw'asanyukira okumussaamu ekitiibwa anaakolebwa ki? Awo Kamani n'ayogera mu mutima gwe nti Ani kabaka gwe yandisanyukidde okumussaamu ekitiibwa okukira nze?
7 Awo Kamani n'agamba kabaka nti Omusajja kabaka gw'asanyukira okumussaamu ekitiibwa,
8 baleete ebyambalo bya kabaka, kabaka by'ayambala, n'embalaasi kabaka gye yeebagala eri etikkirwako ku mutwe engule ey'obwakabaka;
9 bawe ebyambalo n'embalaasi mu mukono gw'omu ku bakungu ba kabaka abasinga ekitiibwa, bambaze n'ebyo omusajja kabaka gw'asanyukira okumussaamu ekitiibwa, era bamwebagaze embalaasi okuyita mu luguudo olw'ekibuga, era balangirire mu maaso ge nti Bw'atyo bw'anaakolebwa omusajja kabaka gw'asanyukira okumussaamu ekitiibwa.
10 Awo kabaka n'agamba Kamani nti Yanguwa oddire ebyambalo n'embalaasi nga bw'oyogedde, okolere ddala bw'otyo Moluddekaayi Omuyudaaya atuula ku mulyango gwa kabaka: waleme okubulako n'ekimu ku ebyo byonna by'oyogedde.
11 Awo Kamani n'addira ebyambalo n'embalaasi, n'ayambaza Moluddekaayi, n'amwambaza okuyita mu luguudo olw'ekibuga, n'alangirira mu maaso ge nti Bw'atyo bw'anaakolebwa omusajja kabaka gw'asanyukira okumussaamu ekitiibwa.
12 Awo Moluddekaayi n'akomawo eri omulyango gwa kabaka. Naye Kamani n'ayanguwa n’agenda ewuwe, ng'anakuwadde era ng'abisse ku mutwe gwe.
13 Awo Kamani n'abuulira Zeresi mukazi we ne mikwano gye bonna byonna ebyamubaddeko. Awo abasajja be abagezi ne Zeresi mukazi we ne bamugamba nti Moluddekaayi gw'otanulidde okugwa mu maaso ge, oba nga wa ku zzadde lya Bayudaaya, tojja kumusinga, naye tolirema kugwa mu maaso ge.
14 Awo bwe baali nga bakyayogera naye, abalaawe ba kabaka ne bajja, ne banguwa okuleeta Kamani eri embaga Eseza gye yali afumbye.