Eseza

Essuula: 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10


Chapter 4

1 Awo Moluddekaayi bwe yategeera byonna ebyakolebwa, Moluddekaayi n'ayuza ebyambalo bye n'ayambala ebibukutu n'evvu, n'afuluma n'agenda mu kibuga wakati, n'akaaba n'eddoboozi ddene ery'ennaku nnyingi:
2 n'ajja mu maaso g'omulyango gwa kabaka: kubanga tewali eyayinza okuyingira mu mulyango gwa kabaka ng'ayambadde ebibukutu.
3 Awo mu buli ssaza ekiragiro kya kabaka n'etteeka lye buli gye byatuukanga ne waba okuwuubaala kungi mu Bayudaaya n'okusiiba n'okukaaba amaziga n'okukuba ebiwoobe; kale bangi abaagalamira nga bambadde ebibukutu n'evvu.
4 Awo abawala ba Eseza n'abalaawe be ne bajja ne bamubuulira; kaddulubaale n'anakuwala nnyo: n'aweereza ebyambalo Moluddekaayi by'aba ayambala, n'okumuggyako ebibukutu bye: naye n'atabikkiriza.
5 Awo Eseza n'ayita Kasaki omu ku balaawe ba kabaka, gwe yali ataddewo okumuweereza, n'amukuutira okugenda eri Moluddekaayi okumanya ekigambo ekyo bwe kyali n'ensonga yaakyo.
6 Awo Kasaki n'afuluma n'agenda eri Moluddekaayi awali ekifo ekigazi eky'ekibuga ekyayolekera omulyango gwa kabaka.
7 Awo Moluddekaayi n'amubuulira byonna ebyamubaako, n'ebintu bwe byenkanira ddala Kamani bye yasuubiza okusasula mu mawanika ga kabaka olw'Abayudaaya, okubazikiriza.
8 Era n'amuwa n'ebyaggibwa mu kiwandiike eky'etteeka eryalaalikibwa mu Susani okubazikiriza okulyolesa Eseza n'okulimubuulira; n'okumukuutira ayingire eri kabaka amwegayirire era asabire abantu be mu maaso ge.
9 Awo Kasaki n'ajja n'abuulira Eseza ebigambo bya Moluddekaayi.
10 Awo Eseza n'agamba Kasaki n'amuwa ebigambo eby'okutwalira Moluddekaayi, nti
11 Abaddu ba kabaka bonna n'abantu ab'omu masaza ga kabaka bamanyi nga buli muntu, oba musajja oba mukazi, anaayingiranga eri kabaka mu luggya olw'omunda atayitiddwa, waliwo etteeka limu eri ye, attibwenga, wabula abo kabaka b'agololera omuggo ogwa zaabu abeere omulamu: naye nze siyitibwanga okuyingira eri kabaka, ennaku ziri amakumi asatu.
12 Awo ne babuulira Moluddekaayi ebigambo bya Eseza.
13 Awo Moluddekaayi n'abalagira okuddiza Eseza ebigambo nti Tolowoozanga mu mwoyo gwo nga ggwe ogenda okuwona mu nnyumba ya kabaka okusinga Abayudaaya bonna.
14 Kubanga bw'onoosirikira ddala mu biro bino, kale okulokoka n'okuwona kuliva awalala eri Abayudaaya, naye ggwe n'ennyumba ya kitaawo balizikirira: era ani amanyi oba nga ozze mu bwakaddulubaale olw'ebiro ebifaanana bwe bityo?
15 Awo Eseza n'abalagira okuddiza Moluddekaayi ebigambo nti
16 Genda okuŋŋaanye Abayudaaya bonna abaliwo mu Susani, munsiibire, so temulya newakubadde okunywa ennaku ssatu emisana n'ekiro; era nange n'abawala bange tunaasiiba bwe tutyo: bwe ntyo bwe ndiyingira eri kabaka, ekitali kya mu mateeka: era bwe ndizikirira, ndizikirira.
17 Awo Moluddekaayi n'addayo n'akola nga byonna bwe byali Eseza by'amulagidde.