Chapter 3
1 Awo oluvannyuma lw'ebyo kabaka Akaswero n'akuza Kamani mutabani wa Kammedasa Omwagaagi n’amusukkiriza, n'agulumiza entebe ye okusinga abakungu bonna abali naye.
2 Awo abaddu bonna aba kabaka abaali mu mulyango gwa kabaka ne bakutamira Kamani ne bamuvuunamira: kubanga kabaka bwe yali alagidde bw'atyo ebigambo bye. Naye Moluddekaayi teyamukutamira so teyamuvuunamira.
3 Awo abaddu ba kabaka abaali mu mulyango gwa kabaka ne bagamba Moluddekaayi nti Kiki ekikusobesa ekiragiro kya kabaka?
4 Awo olwatuuka bwe baayogeranga naye buli lunaku naye n'atabawulira, ne babuulira Kamani okulaba ebigambo bya Moluddekaayi oba nga binaanywera: kubanga yali ababuulidde nga Muyudaaya.
5 Awo Kamani bwe yalaba nga Moluddekaayi teyakutama so teyamuvuunamira, kale Kamani n’ajjula obusungu.
6 Naye n'alaba nga tekugasa okukwata Moluddekaayi yekka; kubanga baali bamutegeezezza abantu ba Moluddekaayi bwe baali: Kamani kyeyava asala amagezi okuzikiriza Abayudaaya bonna abaali mu bwakabaka bwonna obwa Akaswero, abantu ba Moluddekaayi.
7 Awo mu mwezi ogw'olubereberye, gwe mwezi Nisani, mu mwaka ogw'ekkumi n’ebiri ogwa kabaka Akaswero, ne bakuba Puli, bwe bululu, mu maaso ga Kamani buli lunaku era buli mwezi okutuusa ku mwezi ogw'ekkumi n'ebiri, gwe mwezi Adali.
8 Awo Kamani n'agamba kabaka Akaswero nti Waliwo abantu abasaasaanye abataataaganye mu mawanga mu masaza gonna ag'obwakabaka bwo; n'amateeka gaabwe tegafaanana mateeka ga ggwanga lyonna; so tebakwata mateeka ga kabaka; kyekiva kirema okugasa kabaka okubaganya.
9 Kabaka bw'anaasiima, kiwandiikibwe bazikirizibwe: nange ndisasula ettalanta eza ffeeza kakumi mu mikono gy'abo abateresebbwa okukuuma omulimu (gwa kabaka), okuzireeta mu mawanika ga kabaka.
10 Awo kabaka n'aggya empeta ye ku mukono gwe n'agiwa Kamani mutabani wa Kammedasa Omwagaagi omulabe w'Abayudaaya.
11 Awo kabaka n'agamba Kamani nti Effeeza eweereddwa gy'oli era n'abantu okubakola nga bw'osiima.
12 Awo ne bayita abawandiisi ba kabaka mu mwezi ogw'olubereberye ku lunaku lwagwo olw'ekkumi n'essatu, ne bawandiika nga byonna bwe byali Kamani bye yali alagidde abaamasaza ba kabaka, n'abaami abaafuganga buli ssaza n'abakulu ba buli ggwanga; eri buli ssaza ng'empandiika yaalyo bwe yali, n'eri buli ggwanga ng'olulimi lwabwe bwe lwali: mu linnya lya kabaka Akaswero mwe byawandiikirwa, era byateekebwako akabonero n'empeta ya kabaka.
13 Ne baweereza ebbaluwa ne zitwalibwa ababaka mu masaza gonna aga kabaka, okuzikiriza n'okutta n'okumalawo Abayudaaya bonna, abato n'abakadde, abaana abato n'abakazi, ku lunaku lumu, ku lunaku olw'ekkumi n'essatu olw'omwezi ogw’ekkumi n'ebbiri, gwe mwezi Adali, n'okutwala omunyago gwabwe okuba omuyiggo.
14 Ebyaggibwa mu kiwandiike ne biraalikibwa eri amawanga gonna, ekiragiro kirangirirwe mu buli ssaza, balyoke beeteekereteekere olunaku olwo.
15 Awo ababaka ne banguwa ne bagenda olw'ekiragiro kya kabaka, etteeka ne libuulirwa mu lubiri lw’e Susani: awo kabaka ne Kamani ne batuula okunywa; naye ekibuga kya Susani ne kibulwa amagezi.