Essuula 3
1 Abaagalwa, kaakano eno ye bbaluwa ey'okubiri gye mbawandiikira; mu ezo zombi mbakubiriza amagezi gammwe agataliimu bukuusa nga mbajjukiza;
2 okujjukiranga ebigambo ebyayogerwa edda bannabbi abatukuvu, n'ekiragiro ky'abatume bammwe ekya Mukama waffe era Omulokozi:
3 nga mumaze okusooka okutegeera kino, nga mu nnaku ez'oluvannyuma abasekerezi balijja n'okusekerera, nga batambula okugobereranga okwegomba kwabwe bo
4 ne boogera nti Okusuubiza kw'okujja kwe kuli luuyi wa? Kubanga, bajjajjaffe kasookedde beebaka, byonna bibeera bwe bityo nga bwe byabanga okuva ku kutondebwa.
5 Kubanga beerabira kino nga balaba, ng'edda waaliwo eggulu, n'ensi eyava mu mazzi era yali wakati mu mazzi, olw'ekigambo kya Katonda,
6 ensi ey'edda amazzi kyegaava gagisaanyaawo n'ezikirira:
7 naye eggulu erya kaakano n'ensi olw'ekigambo ekyo biterekeddwa omuliro, nga bikuumibwa okutuusa ku lunaku olw'omusango n'okuzikirira kw'abantu abatatya Katonda.
8 Naye kino kimu temukyerabiranga, abaagalwa, nga eri Mukama waffe olunaku olumu luli ng'emyaka olukumi, n'emyaka olukumi giri ng'olunaku olumu.
9 Mukama waffe talwisa kye yasuubiza, ng'abalala bwe balowooza okulwa; naye agumiikiriza gye muli, nga tayagala muntu yenna kubula, naye bonna batuuke okwenenya.
10 Naye olunaku lwa Mukama waffe lulijja nga mubbi; eggulu lwe lirivaawo n'okuwuuma okunene n'ebintu eby'obuwangwa birisaanuuka olw'okwokebwa okungi, n'ensi n'ebikolwa ebigirimu birisirikka.
11 Ebyo byonna bwe bigenda okusaanuuka bwe bityo, mugwanidde kubeeranga mutya mu mpisa entukuvu n'okutyanga Katonda,
12 nga musuubira nga mwegomba nnyo olunaku lwa Katonda okutuuka, olulisaanuusisa eggulu nga lyokebwa, n'ebintu eby'obuwangwa ne biseebengerera olw'ebbugumu eringi?
13 Naye nga bwe yasuubiza tusuubira eggulu eriggya n'ensi empya, obutuukirivu mwe butuula.
14 Kale, abaagalwa, kubanga musuubira ebyo, mufubenga okusangibwa mu mirembe nga temulina bbala newakubadde omusango mu maaso ge.
15 Era mulowoozenga ng'okugumiikiriza kwa Mukama waffe bwe bulokozi, era nga muganda waffe omwagalwa Pawulo mu magezi ge yaweebwa bwe yabawandiikira;
16 era nga mu bbaluwa ze zonna, ng'ayogera ku ebyo mu zo; omuli ebimu ebizibu okutegeera, abatamanyi n'abatali banywevu bye banyoola, era nga n'ebyawandiikibwa ebirala, olw'okuzikirira kwabwe bo.
17 Kale, abaagalwa, kubanga musoose okutegeera, mwekuumanga muleme okugwa okuva mu bunywevu bwammwe mmwe nga mutwalibwa obukyamu bw'ababi.
18 Naye mukulire mu kisa ne mu kutegeera Mukama waffe era Omulokozi Yesu Kristo. Oyo aweebwenga ekitiibwa kaakano era n'okutuusa ku lunaku olw'emirembe n'emirembe. Amiina.