1 Timoseewo

Essuula : 1 2 3 4 5 6


Essuula 5

1 Tonenyanga mukadde, naye omubuuliriranga nga kitaawo abavubuka ng'ab'oluganda:
2 abakazi abakadde nga nnyoko; abato nga bannyoko mu bulongoofu bwonna.
3 Obawenga ekitiibwa bannamwandu ababa bannamwandu ddala.
4 Naye nnamwandu yenna bw'aba n'abaana oba bazzukulu basookenga okuyiga okwegendereza eri ab'omu nnyumba zaabwe, n'okusasula bakadde baabwe: kubanga ekyo kye kikkirizibwa mu maaso ga Katonda.
5 Naye abeera nnamwandu ddala n'alekebwa yekka, asuubira Katonda, n'anyiikiranga okusaba n'okwegayiriranga emisana n'ekiro.
6 Naye oyo awoomerwa ebinyumu ng'afudde newakubadde ng'akyali mulamu.
7 Era n'ebyo obalagire, balemenga okubaako eky'okunenyezebwa.
8 Naye omuntu yenna bw'atajjanjaba babe n'okusinga ab'omu nnyumba ye nga yeegaanyi okukkiriza, era nga ye mubi okusinga atakkiriza.
9 Nnamwandu yenna tawandiikibwanga nga tannatuusa myaka nkaaga, eyafumbirwa omusajja omu
10 asiimibwa mu bikolwa ebirungi oba nga yaleranga abaana, oba nga yayanirizanga abagenyi, oba nga yanaazanga abatukuvu ebigere, oba nga yabeeranga ababonaabona, oba nga yagobereranga nnyo buli kikolwa ekirungi.
11 Naye bannamwandu abakyali abato obagaanenga: kubanga bwe balikabawala eri Kristo, nga baagala okufumbirwa;
12 nga bazza omusango kuba basuula okukkiriza kwabwe okw’olubereberye.
13 Era ate bayiga okubeeranga abagayaavu, nga batambulatambula okubuna amayumba naye tebagayaala bugayaazi, naye balina olugambo n'akajanja nga boogera ebitasaana.
14 Kyenva njagala abakyali abato bafumbirwenga, bazaalenga abaana, bafugenga ennyumba, balemenga okuwa omulabe ebbanga w'ayima okuvuma:
15 kubanga waliwo kaakano abaakyuka okugoberera Setaani.
16 Omukazi yenna akkiriza bw’abanga ne bannamwandu, abayambenga, era ekkanisa eremenga okuzitoowererwa, eryoke eyambenga bannamwandu ddala ddala.
17 Abakadde abafuga obulungi basaanyizibwe okuweebwanga ekitiibwa emirundi ebiri, okusinga abafuba mu kigambo n'okuyigiriza.
18 Kubanga ekyawandiikibwa kyogera nti Tosibanga mumwa gwa nte ewuula eŋŋaano. Era nti Akola emirimu asaanira empeera ye.
19 Tokkirizanga kiroope ku mukadde awatali bajulirwa babiri oba basatu.
20 Aboonoona obanenyezanga mu maaso g'abantu bonna, era n'abalala balyoke batyenga.
21 Nkukuutirira mu maaso ga Katonda, ne Kristo Yesu, ne bamalayika abalonde, weekuumenga ebyo awatali kusaliriza, nga tokola kigambo olw'obuganzi.
22 Toyanguyirizanga kussaako mikono ku muntu yenna, so tossanga kimu na bibi by'abantu abalala: weekuume obeerenga mulongoofu.
23 Tonywanga mazzi gokka, naye onywanga ne ku mwenge katono olw'olubuto lwo n'olw'okulwalalwala.
24 Waliwo abantu ebibi byabwe biba mu lwatu; nga bibakulembera okugenda mu musango; era n'abalala bibavaako nnyuma.
25 Era bwe kityo n'ebikolwa ebirungi biba mu lwatu; ne bwe kitaba bwe kityo tebirirema kwolesebwa.