Essuula 2
1 Kale okusooka byonna mbabuulirira okwegayiriranga n'okusabanga n'okutakabananga n'okwebazanga bikolebwenga ku lw'abantu bonna;
2 ku lwa bakabaka n'abakulu bonna; tulyoke tubeerenga n'obulamu obutereevu obw'emirembe mu kutya Katonda kwonna ne mu kwegendereza.
3 Ekyo kye kirungi, ekikkirizibwa mu maaso g'Omulokozi waffe Katonda,
4 ayagala abantu bonna okulokoka, era okutuuka mu kutegeerera ddala amazima.
5 Kubanga waliwo Katonda omu, era omutabaganya wa Katonda n'abantu omu, omuntu Kristo Yesu,
6 eyeewaayo abe omutango olwa bonna; okutegeeza kulibaawo mu ntuuko zaakwo:
7 nze kwe nnateekerwa omubuulizi era omutume (njogera mazima, ssirimba), omuyigiriza w'amawanga olw'okukkiriza n'amazima.
8 Kyenva njagala abasajja basabenga mu buli kifo, nga bayimusa emikono emitukuvu, awatali busungu na mpaka.
9 Bwe batyo n'abakazi beeyonjenga mu byambalo ebisaana, n'okukwatibwa ensonyi n'okwegendereza; si mu kulanganga enviiri, ne zaabu oba luulu oba engoye ez'omuwendo omungi;
10 naye (nga bwe kisaanira abakazi abeeyita abatya Katonda) n'ebikolwa ebirungi.
11 Omukazi ayigenga mu bukkakkamu mu kugonda kwonna.
12 Naye omukazi mmugaanyi okuyigirizanga, newakubadde okufuganga omusajja, naye okubeeranga mu bukkakkamu.
13 Kubanga Adamu ye yasooka okutondebwa, oluvannyuma Kaawa;
14 era Adamu si ye yalimbibwa, naye omukazi oli ye yalimbibwa n'aba mu kwonoona:
15 naye anaalokokanga mu kuzaala, bwe banaanyiikiranga mu kukkiriza n'okwagala n'obutukuvu awamu n'okwegendereza.