Essuula 5
1 Naye eby'entuuko n'ebiro, ab'oluganda, temwetaaga kubiwandiikirwa.
2 Kubanga mwekka mumanyidde ddala ng'olunaku lwa Mukama waffe lujja ng'omubbi ekiro, bwe lutyo.
3 Bwe baliba nga boogera nti Mirembe, siwali kabi, okuzikiriza okw'amangu ne kulyoka kubajjira, ng'okulumwa bwe kujjira omukazi ali olubuto; so tebaliwona n'akatono.
4 Naye mmwe, ab'oluganda, temuli mu kizikiza, olunaku luli okubasisinkaniriza ng'omubbi:
5 kubanga mmwe mwenna muli baana ba kutangaala, era muli baana ba musana: tetuli ba kiro newakubadde ab'ekizikiza;
6 kale nno tulemenga okwebaka ng'abalala, naye tutunulenga tulemenga okutamiira.
7 Kubanga abeebaka beebaka kiro; n'abatamiira batamiira kiro.
8 Naye ffe, kubanga tuli ba musana, tulemenga okutamiira, nga twambadde eky'omu kifuba eky'okukkiriza n'okwagala, n'enkuufiira, essuubi ly'obulokozi.
9 Kubanga ffe Katonda teyatuteekerawo busungu, wabula okuweebwa obulokozi ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo,
10 eyatufiirira ffe, bwe tutunula oba bwe twebaka tulyoke tubeere abalamu wamu naye.
11 Kale musanyusaganenga, era muzimbaganenga buli muntu munne, era nga bwe mukola.
12 Naye tubeegayirira, ab'oluganda, okumanyanga abafuba okukola emirimu mu mmwe, ababafuga mu Mukama waffe, abababuulirira;
13 n'okubassaagamu ekitiibwa ennyo nnyini mu kwagala olw'omulimu gwabwe. Mubeerenga n'emirembe mu mmwe.
14 Era tubabuulirira, ab'oluganda, munenyenga abatatambula bulungi, mugumyenga abalina omwoyo omunafu, muyambenga abatalina maanyi, mugumiikirizenga eri bonna.
15 Mulabe omuntu yenna alemenga okuwalana ekibi olw'ekibi; naye ennaku zonna mugobererenga ekirungi mwekka na mwekka n'eri bonna.
16 Musanyukenga ennaku zonna;
17 musabenga obutayosa;
18 mwebazenga mu kigambo kyonna kyonna: kubanga ekyo Katonda ky'abaagaliza mu Kristo Yesu gye muli.
19 Temuzikizanga Mwoyo;
20 temunyoomanga bunnabbi;
21 mugezengako ku bigambo byonna; munywerezenga ddala ekirungi;
22 mwewalenga buli ngeri ya bubi.
23 Era Katonda ow'emirembe yennyini abatukulize ddala; era omwoyo gwammwe n'obulamu n'omubiri byonna awamu bikuumibwenga awatali kunenyezebwa mu kujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo.
24 Abayita mwesigwa, n'okukola ye alikola.
25 Ab'oluganda, mutusabirenga.
26 Mulamuse ab'oluganda bonna n'okunywegera okutukuvu.
27 Mbalayiza Mukama waffe okusomera ebbaluwa eno ab'oluganda bonna.
28 Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga wamu nammwe.