1 Abasessaloniika

Essuula : 1 2 3 4 5


Essuula 3

1 Kyetwava tusiima okulekebwa ennyuma fekka mu Asene, bwe tutaayinza kugumiikiriza nate;
2 ne tutuma Timoseewo muganda waffe era omuweereza wa Katonda mu njiri ya Kristo, okubanyweza n'okubasanyusa olw'okukkiriza kwammwe;
3 omuntu yenna aleme okusagaasagana mu kubonaabona kuno; kubanga mwekka mumanyi ng'ekyo kye twateekerwawo.
4 Kubanga mazima, bwe twali gye muli, twababuulira olubereberye nga tugenda okubonaabona; era bwe kyali bwe kityo era nga bwe mumanyi.
5 Nange kyennava ntuma, bwe ssaayinza kugumiikiriza nate, ndyoke mmanye okukkiriza kwammwe; oba nga mpozzi omukemi oyo yabakema okufuba kwaffe ne kuba okw'obwereere.
6 Naye Timoseewo kaakano bwe yajja gye tuli ng'ava gye muli, n'atuleetera ebigambo ebirungi eby'okukkiriza n'okwagala kwammwe, era nga mutujjukira bulungi ennaku zonna, nga mutulumirwa okutulaba, era nga ffe bwe tubalumirwa mmwe;
7 kyetwava tusanyusibwa, ab'oluganda, ku lwammwe mu kulaba ennaku n'okubonaabona kwaffe kwonna olw'okukkiriza kwammwe:
8 kubanga kaakano tuli balamu, mmwe bwe muyimirira mu Mukama waffe.
9 Kubanga kwebaza ki kwe tuyinza okusasula Katonda ku lwammwe, olw'essanyu lyonna lye tusanyuka ku lwammwe mu maaso ga Katonda waffe;
10 emisana n'ekiro nga tusaba nnyo nnyini okulaba ku maaso gammwe, n'okutuukiriza ebitatuuka mu kukkiriza kwammwe?
11 Naye Katonda yennyini era Kitaffe, ne Mukama waffe Yesu agolole ekkubo lyaffe okujja gye muli:
12 nammwe Mukama waffe abongerengako abasukkirizenga okwagalananga mwekka na mwekka n'eri bonna, era nga naffe eri mmwe;
13 alyoke anywezenga emitima gyammwe nga tegiriiko kunenyezebwa mu butukuvu, mu maaso ga Katonda waffe era Kitaffe, mu kujja kwa Mukama waffe Yesu wamu n'abatukuvu be bonna.